|
Bannange leero nkedde kusoma email evudde eri omu kubawuliriza ba Connect Uganda Omw Erias Mugabi. Amawulire ga kunyolwa nnyo. Charles Kawooya aka Kalooli yagenze.
Bannange Charles Kawooya fenna gwe tubadde tumanyi obulungi mu ChatRoom ya Connect Uganda nga Kalooli... era gwe mbadde ntera okuyita Kalooli E Kyanamukaaka yafudde!!!
Ebisingawo nga entegeka y'okuzaayo omulambo n'ebirala tujja kwongera okubibategeeza nga tubifunye.
Charles yafudde olunaku lwe ggulo ku Monday nga 04/05/2009 kumakya.
Essimu eya family y'omugenzi:(UK) 02086463415
Bannange fenna tusirikiriremu tujjukire omwoyo gwa munnaffe ono. Munna Connect ddala.
Charles, ku njogera yo eya 'Kalooli E Kyanamukaaka' nange kwe nagya eyange eya 'Lungujjashire.' Mukama akuwumuze mirembe.
OBULAMU BW'OMUGENZI CHARLES KAWOOYA MU BUFUNZE.
- Omugenzi abadde ayitibwa Charles Kyamufumba Kawooya.
- Yazaalibwa Kumutala Makulubiita, Bulemeezi nga 15/11/1964.
- Yatandika okusoma mu Primary E Jungo Primary School, secondary yagisomera Lubiri SS n'amalira mu university ye South Bank mu Bungereza.
- Yakolerako mu Ministry of works mu Uganda nga tanajja Bulaya. W'afiridde abadde akolera mu Home Office mu kibuga London.
- Abadde aweza emyaka ana mwena egy'obukulu.
- Alese namwandu n'abaana
AMABUGO
Bannange yenna ayagala okuwereza amabugo, kozesa engeri yonna gyosobola okuwereza sente e Uganda, ziwereze mu mannya ga Steven Lubwama. Essimu ya Steven: 0712032592. Bwomala, wereza akanamba oba reference number gye bakuwadde ku email ya Connect. Email yaffe eri studio(at)connectuganda.com. Tekako subject: Amabugo. Tekako amanya go era otekeko amount gy'owereza.
Tugenda kuwerereza wamu e baasa nga Family y'omugenzi Charles Kawooya eya Connect. Muganda waffe tumuwerekere mu kitiibwa.
FUNERAL ARRANGEMENTS
- Church service on 15th May 2009 starting at 18:00hrs. Please aim to be there for 1730hrs.
The memorial service will be held at: St. Jude & St Aidan Church Thornton Road Thornton Heath Surrey CR7 6BA.
- The body will leave the UK for Entebbe on 21st May 2009 and is expected to be in Uganda the next day.
- Charles will be laid to rest on 23rd May 2009 at Njagalabwami--Bulemezi.
Bannange e kyooto ku Connect kikumiddwa. Era bw'oba wandyagadde okuleka obubaka obwokubagizza (signing the condolence book), kozesa form eyo wammanga.
|