Bansindikanjake mweyambise kaamulali
ABAKAZI gye bakomye okuyiiya eddagala eribazzaamu amazzi g’emugga abasajja ne batafuna buzibu nga banyumya akaboozi n’abasajja tebatudde.
Nabo bali mu kuyiiya n’okunoonya eddagala eribazzaamu amaanyi g’ekisajja baleme kutuuka ku lubimbi nga tebalina maanyi galima.
Eddagala lino baliteeka mu majaani oba kkaawa ono gwe tunywa.
Ekyama bakizudde mu kaamulali. Bamusekula ne bamuteeka mu majaani oba kkaawa ne bayiwa ku caayi ne beenywera mpozzi nga bw’oyinza okuteeka buddalasiini oba ekisubi ku caayi.
Abasawo b’ekinnansi abakola eddagala lino bagamba nti basinze kuliyiiyiza bagole naddala abagenda mu hanemuunu.
Mbu mu kiseera kino abakyala babeera n’essanyu lingi okutuuka ku kkula lino nga babeesunga okubasanyusa.
Kati omwami bwatuuka e Namboole nnaawoza nti ate afunye maasoppuulu omukazi ayinza okumunyiigira n’amuyombesa.
Wabula engeri abasajja gye batera okukoowa ennyom ku mbaga, abakazi ennaku zino bagula amajaani gano ne bagateeka m u nsawo zaabwe.
Eddagala lino era liyamba nnyo abasajja abalina endwadde nga sukkaali ezimalamu amaanyi g’ekisajja. Wabula ennaku zino abakyala bayomba nnyo nga bagamba nti abasajja baabwe tebakyabamatiza mu mukwano.
Beekwasa ebbula lya ssente, okukoowa n’ebintu ebirala. Mugezeeko okwerwanako munyweeze obufumbo.
NEBWOBA WELONDELAYO NABUNYOGOVU NAYE KAKAMULALI TEKAGYA KUMOLA BUBI...MUWE ANYWEKO