CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:BANANGE EGGWANGA KYEKI?
#2624
kayanzi (User)
Junior Forum Member
Posts: 91
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:BANANGE EGGWANGA KYEKI? 1 Year, 3 Months ago  


robster wrote:

QUOTE:
Nga nebuza nti ndi waggwanga ki? ssiyinza kudamu ntui ndi muna uganda!!! ndi muganda era ndifa nga bwendi!!! nga siwalampe MIKE kukibuuzo kyeyatubuzanga nku sunday ekyagamba nga nti olumirirwa eggwanga lyo?. naye nze manyi nti uganda si ggwanga wabulala mawanga magatte kati ani ayinza okulumirirwa ebitali byange wabula ebyaffe? nga bwolowooza abekatuna bayinza okulowooza nga abe nimune oba emaraba oba emutukula kale nze nfiira ku ggwanga lyange buganda so si uganda ate ggwe? lowooza nga alina egwanga so siiiiiiii united states of uganda. mumbulire. awaangalenyo ayiiiiiiiiiiii ssabassajja empologoma ya buganda.




Robster, nnange munnange ebintu bino sibimanyi nnyo naye ngezaako okubiyiga.



Nsizidde ku kitabo 'Enkuluze Y'Ennono Y'Omuganda' e kyawandiikibwa 'Martin Luther Charles Kato Mugambwa' okuwandiika bino wammanga:



  • EGGWANGA


1) Abantu b'ekitundu ekimu eky'Ensi wansi w'Obufuzi obumu mu Gavumenti emu. (NATION)

Oba

2) Ekitundu ekimu eky'Ensi ekiri wansi w'obufuzi obumu mu Gavumenti emu.





  • AKAWANGA


1) Abantu abasangibwa mu Gwanga erimu mu butonde kyokka nga balina enjawulo okuva ku bannaabwe olw'olulimi n'empisa ebyawukana ku basigaddewo mu Gwanga lyonna. (Tribe) Mu bungi OBUWANGA.

Oba

2) Ekitundu ky'Eggwanga ekimu ekisangibwamu abantu mu butonde bwabwe nga balina olulimi n'empisa ebyawufu ku by'abalala mu Gwanga eryo.

Oba

3) Omutwe gw'omuntu oba ogw'ensolo nga yafa n'ennyama nga yaggwa dda ku magumba. (Skull)





  • MUNNAMAWANGA


1) Omuntu ng'asibuka mu Gwanga eddala nga'ali mu gwanga eritali lirye. (FOREIGNER.) Mu bungi: BANNAMAWANGA.

Oba

2)Omuntu ng'asibuka mu kawanga akamu ng'ali mu kawanga akalala wadde nga biri wansi w'Egwanga limu.





  • OBUWANGWA


Obuzaalirwanwa bwa buli kika kya bitonde.

Okugeza:

1) Buli kika kya bitonde kiba n'enneyisa wamu n'ebikolwa byakyo eby'enjawulo ebyawukana n'eby'ebirala. Oba kiyite Obuwangwa bwakyo.

2) Obuwangwa oba obuzaaliranwa bwa buli bitonde eby'ekika ekimu mwe musibuka empisa n'obulombolombo nga ye kalonda ava ku nnono ezikwatagana n'ebika ebyo.





  • ENSI


1) Olukalu okuli Amawanga gonna n'Ennyanja zonna awamu mu butonde. (WORLD, UNIVERSE)

Oba

2) Abantu ab'Amawanga gonna mu butonde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ndi Kayanzi sibuuka na Nzige!
  The administrator has disabled public write access.
#2637
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1413
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:BANANGE EGGWANGA KYEKI? 1 Year, 3 Months ago  
Enkuluze y'omulongo eyagala ayamba!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement