CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
#10727
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 995
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya 2 Months, 3 Weeks ago  
Kitalo nyoo nyoo nyooo ekyomuntu ono.Nze kulwange mbadde simumanyi nyoo naye bwensomye kubimwogedwako nentandika okwebuza oba ndi ku pulaneti ki??? Binno byebimu kubizibu byabatuze ba No man´s land,nti tomanya nyoo bifa gyewava ate nga negyolaze olaba nga siwamwe.
EBYOGEDWA KUBAMU ABABADE BAMUTEGERA OBULUNGI:

Kibirige Ssebunnya gwe mmanyi

Bya Lwanga Kamere
Baliranwa boogedde ku minisita abakubirizza okulwanirira ebibanja byabwe
NTANDIKA okumanya obulungi Dr. Kibirige Ssebunnya mu 1996 we yayingirira ebyobufuzi.

Mu kiseera ekyo yeesimbawo mu Kyaddondo North n’avuganya Ssenteza Kajubi, omwana w’omwami Ssekyana Ddungu, Ying. E. Ssempebwa n’abalala basatu.

E Kagoma gye nnamulabira mbaddeyo okuva lwe nnazaalibwa mu 1968 era kwe nkulidde. Mu 1996 nnali mpagira Ying. Ssempeebwa era nga ndi omu ku bakakuyege be.

Kibirige mu kiseera ekyo teyalina nnyumba, ng’asula Kawanda mu nnyumba gye yali yakazaako erya ‘White House’. Yagyewaanirangako nnyo nti efaanana amaka ga Pulezidenti wa Amerika agayitibwa erinnya eryo.

Kale ffe ku kyalo nga tumujerega nti omusajja omukulu omutamiivu, asaba akalulu anaakiikirira atya abantu? Nga tumaze okulonda Pulezidenti mu May wa 1996, awo nga mu June Kibirige kwe kugula amaka ge ago ag’e Kagoma.

Kyamukisa nti yagagula nga galiraanye agange awo kwe kumumanya ennyo. Lwe baamulonda okukiikirira NRM yasooka kutya.

Olukiiko baalukuba wa Kenneth Kiwuuwa, ng’aba NRM balaba musajja waabwe Ibrahim Mukiibi munafu, nga Ssenteza Kajubi aleebya nnyo ate nga yamuwangula bubi nnyo mu CA.

Kibirige yali atidde okwesogga ebyobufuzi, naye oluvannyuma yatugamba nti yeebuuza ku b’omu maka ge ne bamukkiriza olwo kwe kuguma ne yeesimbawo.

Ku mulundi ogwo nnanywerera ku Ying. Ssempebwa era Kibirige n’atuwangula bubi nnyo. Kibirige yavuganya nnyo ne Ssenteza Kajubi.

Kampeyini zaatandikira Buwambo naye okutuuka e Nansana nga Kibirige akitutegeeza lunye nti bw’alya akalulu bagenda kumuwa obwaminisita.

Twalowoozanga nti atusiba kiwaani ng’enjogera bw’eri naye kyatuukirira. Kampeyini z’olwo, Kibirige ng’atutegeeza nti ye yavumbula emmwaanyi za Kolono, kyokka nga Ssenteza olw’okwagala okumufeebya akiwakanya nnyo nti si ye yamuvumbula.

Ssenteza yagambanga nti emmwaanyi za kolono zaavumbulwa dda mu myaka gya 1950, olwo Kibirige n’asimbawo obukadde bubiri Ssenteza bw’alaga essamba y’emmwaanyi zino eyasimbibwa mu myaka egyo gy’ayogerako.

Ssente afudde nazo! Kampeyini ezaasembayo mu kalulu ako zaali Nansana. Kibirige olwamala okwogera n’alaalika abawagizi be nti ayagala kubagulira ku twenge n’abasongera we baba bamusanga.

Olwasituka n’abantu ne basituka, eyali agenda okwogera baamuleka atangadde ng’ekitaabuuke! Lwe yalangirirwa ng’alidde akalulu, yatuyita ffenna mu maka ge e Kawanda n’atukolera embaga.

Bonna n’abataamuwagira yatuliisa n’atunywesa era y’ebadde enkola ye buli lw’awangula akalulu.

Ne lwe baamuwa obwaminisita yatukolera embaga endala makeke e Kawanda. Kyewuunyisa nti teyakyawako oba yadde okuwalana abataamuwagira. Ng’afuuse minisita baamuwa abaserikale bana okumukuuma.

Naye wiiki teyaggwaako n’abavuga n’abazza ku poliisi e Kawempe ng’abalanga kugaana bagenyi be kumukyalira waka! Kizibu mu Uganda omuntu okumuwa ekifo ekisava nga Kibirige ky’abadde nakyo, n’atakyuka ku mbeera.

Awo w’olabira nti omugenzi abadde wa mbala. Ku mikolo egisinga gye babadde bamuyitako ku kyalo, nga Kibirige tatuula mu ntebe, atuula wansi ku ttaka n’alasa emboozi. Nga wabaddewo obuzibu nga Kibirige mwangu nnyo.

Ng’alina kabangali gy’abadde agabira abantu ku kyalo abafiiriddwa batambuze abafu, ate nga bw’oba ogenda kuwasa ng’oyinza okumutuukirira ye n’akuwa ku mmotoka ye eya buyonjo n’ononeramu omugole.

Nzijukira bwe twali twabya olumbe lwa ssentebe wa LC I Maganjo A, Ssaalongo James Kasumba, Kibirige Ssebunnya y’omu ku bagabuzi abaaliwo.

Ng’agenda mu ffumbiro n’asombayo essowaani z’emmere nga bw’azitwalira abali mu kidaala! Omuvubuka Ssaabaganzi eyali abeera e Kagoma- Kannyange bwe yafa, abantu be baagenda ewa Kibirige okumusaba abaazike ku kabangali bamutwale e Kiyindi-Kyaggwe.

Kyokka Kibirige bwe yalaba ng’omulambo teguli mu ssanduuke n’ajuuka nti ‘abange kye mukola kibi! Munnaffe mumutwala mutya bwatyo?’

Kwe kutoola emitwalo 10 ne bagula ssanduuke ate n’awerekera ku bakungubazi era n’aziika! Olowooza baminisita oba yadde bassentebe ba LC III bameka abakola ekintu ng’ekyo? Nga bw’atuuka awantu Kibirige abaleka mu ssanyu.

Nzijukira omwami omu eyafa e Galamba, yava mu lumbe nga bonna abatamiizizza, ne beerabira ku nnaku y’ensi. Mu 2000 abamagye baali batwala yunifoomu zaabwe e Bombo ne zisumulukuka ne ziwandagalira e Maganjo.

Abaagala eby’amangu baazikwata nga balowooza bafunye eby’okufuna, abajaasi baakwatako mukaaga ne babakunguzza yogaayoga Bombo. Eyo singa teyali Kibirige osanga bandimazeeyo ebbanga. Waliwo lwe baamubbako pisito nga tuli e Naggalabi tuziika Lawrence Musoke omutuuze w’e Maganjo.

Poliisi bwe yakwata ddereeva we eyali amuvuga mu kiseera ekyo n’emuggalira, Kibirige yamununula ng’agamba nti ‘obwo bubadde bulagajjavu bwange!’ Pisito oluvannyuma baagikwatira Bweyogerere ng’ababbi bagyeyambisa okubba.

Waliwo n’olulala omutuuze omu e Kawanda lwe yatema embuzi ya Kibirige n’agitta. Yadde yali ya lulyo, ng’agiguze South Afrika, Kibirige omusajja oyo yamusonyiwa, wabula yo Poliisi n’emuggulako omusango n’emusiba emyezi 18 e Kasangati.

Jjuuzi mu December wa 2007 omukazi bwe yali ayagala okugoba abatuuze 500 e Jagala mu ggombolola y’e Gombe, bwe baatuukirira Kibirige yabazzaayo mu bibanja byabwe n’agamba nti, ‘nnannyini ttaka bw’aba ayagala okubagoba asooke antuukirire’ Na kati abatuuze bateredde ntende. Era wano we waava entandikwa y’okutondawo ekibiina kya Jagala Bibanja Association Pulezidenti kye yatongozza era ekitandise okubuna eggwanga.

Ate ku mbaga ya Kasiraamu ow’e Nase mu ggombolola y’e Gombe yaliwo mu kasiki era n’avuga n’abagole! Y’omu ku baakola ekinene okulaba ng’abatuuze b’e Maganjo bafuna amazzi g’emidumu.

Ye yawaayo ensimbi omuzigiti gw’e Kagoma okufuna amazzi. Abadde yeenyigira nnyo mu kusonda ensimbi okuzimba amasinzizo e Busukuma, Namulonge, Gombe.

Abavubuka b’e Nabinaka bo olubaddenga okumulabako ng’embizzi yaakuggwa ku midaala! Kyokka tetwawulirako nti emirimu gya Gavumenti yali tagituukiriza. Kibirige abeere kyakulabirako eri abakulembeze.

WAMMA DALA NYAFFE UGANDA EFILIDWA NYOO OKUTWALIZA AWAMU.OMUGENZI MUKAMA YEBALE OKUMUWA OMUTIMA OMULUNGI NGA GWALAZE NGA MULAMU ELA AMWANILIZE NESSANYU.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10749
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 995
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya 2 Months, 3 Weeks ago  
Omusaala gwa Kibirige Ssebunnya abadde agusiga mu ffe – Abatuuze

Bya Anthony Ssempereza ne lwanga Kamere

ABADDE minisita omubeezi ow’ebyobulimi Dr. Kibirige Ssebunnya ab’e Kawanda ne Maganjo gy’abadde abeera, abalese banakuwavu. Bukedde ku Ssande atuuseeko gy’abadde anywera n’okugatta emboozi ne bamwogerako bwe bati.

Mu kirabo ky’omugenzi Norah Nantume e Manganjo A, nga ono yali ssengawe ng’atunda ttonto, walagi n’ebika ebirala, Dr. Kibirige abadde tavaawo.

Mw. Mwanje Lubowa bwe babadde bagatta endeku agamba, “Wano abadde tayitawo kuba wadde ssenga we yafa ebbaala yasigala ekola.

Buli lw’abadde atuuka wano ng’asaba akakeeka ng’atuulira wansi n’atandika, ‘Really, mulimutya batuwe.’ Nze ndi wa DP naye Ssebunnya mbadde mmuwa akalulu buli kiseera lwa kutwanguyira mu bizibu byaffe, nga bwe tufiirwa atuyamba.”

Dan Sserubugo : “Buli lw’abadde atuuka mu kitundu mwenna ng’abatwala ewa Norah mumiremu. Ng’oggyeeko okutugulira omwenge ssente ze abadde atuwaako ate mmotoka ye ng’etutwala mu ddwaaliro. Oluusi abadde akusanga n’akubuuza nti, “Oyagala mmane? Tolina mmane?’ n’akukwanga ebbiri oteekeko mu nsawo.”

Ssaalongo Sirus Kiggundu owa LC1 Maganjo: “Kibirige musajja aziika n’okusuza abafiiriddwa. Ayabya ennyimbe, nze nafiirwa kitange n’anziikirako era bw’ataba ku kyalo kinnyogoga.”

Samuel Wantante w’e Maganjo, “Abadde tasosola mu bantu eggiraasi omunaku kw’anywa naye kw’anywa. Tanyiiganyiiga ate abadde tasimattula bigambo ate nga mwagazi wa Bwakabaka.”

Ssaalongo Magezi: “Empaawo kw’abadde anywera nga ffenna kwe tunywera. Lw’abadde atuula ku bbaala yaffe ewa Norah ng’asikayo empaawo yaffe nga tumiringusa. Abadde akuba olwali era n’okugenda e Kalangala n’agamba abantu enkima ezibaliira emmere bazirye, yasooka kubyogerera mu bbaala ewa Norah.”

Nagginda Nandawula mutuuze w’e Kawanda, “Kibirige abadde tatuyitako ate mmotoka ye ey’akabangali y’ebadde esomba buli mulambo ku kyalo wano e Kawanda.”

Moses Ssebandeke agambye nti, “Tetukyalina kye twogera Kibirige tabadde na lunkulu wadde muyivu. Buli w’omukonkonera ng’olina ekizibu akuggulirawo, era ekkubo eriyingira ewuwe teri ggeeti buli muntu ku kyalo ayingira nga bw’ayagala. Siri wa NRM naye Ssebunnya namuwa akalulu era akake abadde takabba ng’amanyi okukwana emikwano.”

Nnaalongo Nsubuga, “Ekyalo kyaffe tekikyalina muntu atuyamba nga Ssebunnya taliiwo. Abadde atuyamba nnyo, agulira abateesobola ssukaali era ffe twamukazaako lya ‘kkampuni’ kubanga agatta nnyo abantu bonna. Ensukusa z’ebitooke tuziggya wuwe nga tatukubye ku mukono. Buli muntu agenda ewuwe amuwuliriza n’abo b’asanze mu kirabo omwenge agubagulira ne ssente abawa.

Diriisa Namujulirwa, “Ssebunnya buli w’omubuulirira ekizibu w’akuyambira. Mmotoka ye etwala buli muntu gw’asanze. Mmotoka ye etwala n’abagole bw’ogendayo n’omusaba nti nnina omwana wange agenda kuwasa oba kufumbirwa ng’akuwa mmotoka takusaba mafuta.”


HE WAS INDEED A MAN OF THE PEOPLE,FOR THE PEOPLE AND BY THE PEOPLE.MAY HIS SOUL REST IN PEACE.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement