CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Your Remittances do beta than "foreign aid" (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Your Remittances do beta than "foreign aid"
#8016
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months ago  
Kino kyebayita okukuba enduulu bakuddukirire ate abaddukirize nebajja nembukuuli nebakukakkanako nebakuteera enkoni, naye ekyomukisa nebakkuba kumutwe kuba ebigere bitta kati egifikkawo nebagikuba ettaka
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8017
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months ago  
Bya eddie ssejjoba

Pulezidenti Museveni agugumbudde bannaddiini okwogera bye batategeera ku ttaka n’agamba nti kimunyiiza nnyo okulaba nga buli ensonga z’ettaka lwe zijja mu ddiiro bannaddiini be basooka okuzoogerako.



“Lwaki mwogera bye mutamanyi? Nze nga Museveni siyinza kukeera nkya ne ng’enda mu Kkanisa oba mu Klezia ne ntandika okubatiza kubanga ogwo si mulimu gwange”, bwe yategeezezza ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’amagye (Terehe Sita) e Masindi eggulo.



Museveni eyabadde mu byambalo by’amagye yawabudde bannaddiini nti bwe baba baagala okwogera ku nsonga yonna gye batategeera basooke kugyetegereza baleme kwogerera mu butamanya kye yayise ‘ignorance’.



Kino kiddiridde bannaddiini okuvaayo ne bawakanya ebbago ly’etteeka ly’ettaka nga bagamba nti teryetaagisa kubanga waliwo amateeka agamala okukangavvula abagoba abantu ku ttaka kyokka Gavumenti eremeddwa okugakozesa okuvunaana abantu abo.



Bwe yavudde ku bannaddiini n’akyukira abafuzi bensikirano; Njagala mumanye we mutandikira ne we mukoma. Buli omu alina olubimbi lwe. Mukomye okuyingira mu lubimbi olutali lwammwe.



Olw’ensonga eyo kwe kutegeeza: ntegese omusomo mwe ng’enda okuyita bannaddiini, Kabaka n’abakulembeze b’ensikirano abalala gattako be yayise abasamize b’e Luweero ab’emisambwa mbasomese olubimbi lwabwe.



“Njagala mbasomese ebintu bwe bitambula mu mawanga amalala tuleme kwerumaaluma mu bitaliimu”, bwe yagambye. Omusomo yagambye nti gujja kubaawo amangu ddala nga Paasika ewedde.



Yagambye nti ayagala Uganda etambulire ku misinde egya yiriyiri n’alabula nti omuntu yenna anekiika mu kkubo lye ajja kwejjusa. “Tulina obusobozi na buli kintu ekyetaagisa okufufuggaza omulabe.



Nneetamiddwa okutwala mu kitundu enkulaakulana ng’okuzimba ekkolero kyokka ne nzira mu kwegayirira”, bwe yalabudde.



Olwo Omukama wa Bunyoro Solomon Iguru Gafabusa yabadde amaze okuloopera Pulezidenti bwe waliwo bannabyabufuzi abavuganya Gavumenti abakozesa abafuzi abensikirano mu bitundu ebitali bimu okutuukiriza ebigendererwa byabwe.



Bannabyabufuzi bano, yagambye nti bakozesa abafuzi bensikirano okukyayisa Gavumenti olwo bo bannabyabufuzi batuukirize ebigendererwa byabwe.



Kwe kusaba Museveni agende mu maaso n’okukolagana n’abafuzi bensikirano ng’abebuuzaako kyokka nga tabayingiza mu byabufuzi.



Yamusabye akole ku nsonga z’ettaka e Bunyoro ezaava ku bafuzi b’amatwale abaaleeta enkola ya mayiro eyayawula mu bantu abamu ne bafuna ettaka ate abalala ne baviiramu awo. Yasembye ettaka lya mayiro liggyibwewo.



Published on: Wednesday, 6th February, 2008 from bukedde
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8043
rambuka (User)
Diamond Forum Member
Posts: 718
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:lAND ISSUE WILL CAUSE WAR 11 Months ago  
egulire lye gulirere----newspapers----are newspapers---we hear now nti a dialogue----for the land issue is in process-abaganda in parliment-will side with the kingdom--of sabasajjakabakka MUTEBI 11 .36th king of BUGANDA-WANGALA AYI SABAJJAKABAKA WA BUGANDA---OBUWANGUZZI BWUBWO--LET THEM DEBATE.BUGANDA WE DONT USE VIOLENCE WE LOVE DIALOGUE...
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#8147
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 10 Months, 3 Weeks ago  
Etteeka ku ttaka ababaka tebalitegeera



Bya Kakooza Muwanga





EBBAGO ly'etteeka ly'ettaka lyatandise okuteesebwako eggulo kyokka ababaka ne basaba bafunirwe omukugu owenjawulo abayambeko kubanga ababaka abamu tebalitegeera.



Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti ak'ebyettaka n'amayumba akayambibwako ak'ebyamateeka okwekenneenya ebbago lino. Ababaka baabadde batudde okuteesa ku ngeri gye banaafunamu ebirowoozo ku tteeka lino okutandika wiiki ejja. Minisita w’Ebyattaka Omara Atobo y’asooka mu kakiiko.



Obukiiko buno obwegasse, bujja kukung’aanya ebirowoozo by’abantu abenjawulo n'oluvannyuma ebbago litwalibwe mu palamenti liteesebweko esalewo okuliyisa oba okuligaana.



Akakiiko kakubirizibwa Nathan Byanyima [Bukanga]. Dr. Brian Asiimwe [Ntoroko] ne Isa Otto [Oyam South] be baleese ekirowoozo ky'okufuna abakugu okulitaputira ababaka balyoke balinnyonnyole abantu. Baawagiddwa Patrick Amuriat [Kumi] eyagambye nti ng'okulitesaako tekunnagenda maaso baagala kusooka kumanya oba terikontana ne Konsitityusoni.



Konsitityusoni ewa abantu obuyinza okuba n'obwanannyini ku bintu byabwe abamu kye bagamba nti ebbago likontana nakyo kuba liggya ku bannannyini ttaka obuyinza.



Charles Aleny [Usuk] yagambye nti kyetaagisa Mmengo , Kabaka n'abafuzi b'ensikirano abalala batuukirirwe bawe ebirowoozo byabwe.



Baagambye nti kkopi z'ebbago zeetaaga okuweerezebwa mu bitundu by'eggwanga lyonna abantu balisome n’oluvannyuma ababaka bagendeyo bafune ebirowoozo.



Margaret Babadri [balema] yasabye ababaka nabo babe n’omusomo ku bbago lino.Ate Mable Bagaine [Bugangaizi] yagambye nti n'etteeka ly'ettaka lyonna nga bwe lyayisibwa mu 1998 lyetaaga okuddamu okwekenneenyezebwa.







© Copyright The New Vision, 2000-2008. All rights reserved.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#8148
Kasimaggwa (User)
Baby Forum Member
Posts: 30
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 10 Months, 3 Weeks ago  
Balyokwabwe wrote:

QUOTE:
Etteeka ku ttaka ababaka tebalitegeera





....Konsitityusoni ewa abantu obuyinza okuba n'obwanannyini ku bintu byabwe abamu kye bagamba nti ebbago likontana nakyo kuba liggya ku bannannyini ttaka obuyinza. ......





© Copyright The New Vision, 2000-2008. All rights reserved.




Someone with their thinking caps on at long last!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
  The administrator has disabled public write access.
#8157
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1413
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LAND ISSUE WILL CAUSE WAR 10 Months, 3 Weeks ago  
Eeeehe kale babeere, naye bali too slow for our taste. Kati tetukyayagala, essaawa eyokutegera yaggwaako dda. Tetukyayagala kutwegayiriza nakutwereeza binywa myaaka nabisibo, balyooke batandike okwebuuza wwa common sense weeri. Twakoowa kati twagala suula ndala.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement