CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Omukyala eyayimba abakuuzi
#1243
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Omukyala eyayimba abakuuzi 1 Year, 4 Months ago  
Omukyala ono abadde ku family sunday show eya leero nga 19/08. Munsonyiwe erinnya lye sirijjukira. Nsubidde nti mutegedde gwenjogerako. Mu luyimba agamba mbu abakazi bonna babakula, nti era teri atakulibwangako. Njagala kumuwa agafa e Kyaddondo. FFE ABATAKA BAAYO TETUKULWA! Edda ffe twakulanga, naye netukula. A city kid is always a a city kid, from Newyork, to London to Kampala. We connect darn well. Mbu kubanga oli ampadde fish ne chips? That cheap! Mwonoonyennyo akatale!! Nga nange muwa ice-cream, nga twenkanya evvumbe! Yye abange oyo omukyala yye talina musaayi? Yye tasiima? Yye akkukuula ggwe tomukuula? Akukaddiya yye adda buto? Ebya bya kwekwasa, nze nno muwa amagezi, takkiriza kukola kintu kyonna yye kyatayagala. Mu ngeri eyo, mu buli nsonga ne buli kiseera agenda kubeera on top of things. Wabula ekisinga byonna, ageze ku mukwano!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
#1247
saava (User)
Senior Forum Member
Posts: 300
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Omukyala eyayimba abakuuzi 1 Year, 4 Months ago  
Kalibattanya oleese ekifuba ice cream bwomujjamu evvumbe nze kati mpanise, njagagala oli anyinyonyole kyebayita omwaami okukuula, bwajja olwa leelo nga gamba atya? "honey mpaayo emitwaalo 30" nga nenkeela ajja ne story endala . nze wano mba nnenya bakyaala lwaaki osalawo kuganza bampale zilimu ebityuli? kuba bwaaba naye akola awo aba asobola okwemalira ebizibu bye, ndowooza nti omuntu owenkula eno abako abakyaal abalala, nga nabo abakola kyekimu mubimpimpi eno jetuyita malaaya ensajja byo byaaba alenga biba biwooma mpooma ki? gyalowooza okuba nti abalala bebalina okumuyimilizaawo ate natasiima nakiyitamu kukula awo oba olina kkamutema nti amma gundi bwekiba nti ozze kundeka mapengo weyongeleyo ofune abo abalina ezejjenjeero.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#1248
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Omukyala eyayimba abakuuzi 1 Year, 4 Months ago  
Amapengo ogajjukiddewa? Olaba Sendikwanawa Malaya ensajja ensonga zatujjukiza? Naye maama, Kampala kati nga ejjudde abajega? Okukuula nekutuuka n'okufuuka oluyimba!!! Wabula Wamma Saava nze ekkinnumye abakyala bano bonoonye nnyo akatale, kati abasajja balowooza nti byebaliko bya bbeyi nnyo. Sso investiment enkulu eri mu good wife; ya kuza abaana, yasooka okuba omusomesa wabwe, yakola most social work eya family, yayaniriza abagenyi, nga naboludda lwomusajja kwebali, yasinga okuzannya part enneene kukuweesa amaka ekitiibwa, yaleeta omukisa mu nju, ye mujanjabi omukulu mu nju, ye mufumbi omukulu mu nju, ye manager wa maka, ye........bweweyigiriza okukuula omuntu bwatyo tobeera kiyoyo? YYe oyonoonaki ebiseera mum BUBBI, funa munno akwagala mukole mpola mpola!!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
#1279
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1413
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Omukyala eyayimba abakuuzi/oba abakwabuzi? 1 Year, 4 Months ago  
Nze ndowooza abo abaami bayimbako ba petty thieves. Lwaki? Oli aba tayinza kufuna mukazi amwagala gwakola naye mikolo alyoke akwabule abayita? Nanti ki,omukazi nga e Uganda omubbako ssente mmeka? Emitwaalo ekkumi? Negikukoleera ki ekyo ekisinga obuntu bulamu bwofiirwa? Ssogeera ku nkolagana nemunno, awayinza nokutuuka ekiseera nga byonna ggwe omukyala ggwe obikola. Njogera ku munnaffe bwayita obukwabuzi, bu loveless, small time criminals and never do goods. Ssirowooza, oba sagala kulowooza nti bukiikirira population ya banyinaffe nabasajja baffe bonna, ekibutuusa n'okusaana oluyimba olwaabwo. Ebyo byonna nga biwedde okwogerebwa, yye oyo omukyala munakuwaliddeko olwo mukisa omubi mu kulonda abaami!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#1312
kayanzi (User)
Junior Forum Member
Posts: 91
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Omukyala eyayimba abakuuzi 1 Year, 4 Months ago  
Omukyaala ono (Queen Florence) yagamba mbu abatikiriza nti baali babakwabudde batya buti. Mbu teli mukyaala atakwaabulibwangako!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ndi Kayanzi sibuuka na Nzige!
  The administrator has disabled public write access.
#1332
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 995
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Omukyala eyayimba abakuuzi 1 Year, 4 Months ago  
Omukyala ono tuyinza okuba nga twamufuna bubi nze kulwange ndowoza nti yali ategeza abassajja abalozza ku sukali wabanabwe ate nebamala nebadukka nga ye omukyala aba amazze okumusamu obwesigwa ela nga amanyi nti gwe mubezi,so mungeli eyo nasalawo abantu abekika ekyo abayite abakwabuzi,nga mukukwabula okwo mugendelamu ekya wamala (lol)essente,nomukwana (feelings).Bwemba ndi mukyamu muyinza okumpabula mundowoza yange.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement