|
Another Sunday.... another show.... 15/07/2007
Ate neera waliwo omukyaala eyakubye essimu okuva e Boston nga ayogera ku Jose Chameleone eyakoze show e Boston mu USA. Mbu Chameleone yalaze empisa ensiiwuufu eri abawagizzi be abbaabade baagala okumubuuzako. Teyakomye awo nakoleeza taaba mu bantu n'afuuwa ekkika nga teyeefirayo.
Twaabadde tukyaali awo, essimu endala n'eyingirawo okuva e London, era n'omukubi ono naye nga yemulugunya ku muyimbe y'omu Jose Chameleone mbu bwe yalabikako mu London, era yayolesa empisa ensiiwuufu nga amaze okuyimba.
Mbu kw'olwo mwalimu n'okulinya ku mamotoka, okuwogana - kwegamba empissa zonna ezituweesa erinnya ebbi.
Mukwenyonyolako, omu ku ba promota yakubye essimu n'agamba nti yayogeddeko ne Chameleone. Mbu Chameleone baali bamuvuma nga naye alina okwelwaanako.
Ebibuuzo biri bwebiti.
Omuyimbi asobola okubeerawo nga talina bawagizi? Nedda.
Naye lwaaki ate bwafuna abawagizi abeeyisizaako bubi?
Nze ndowooza tekimala kuyimba kwoka naye n'empissa zisaana kubaanga ekitiibwa kyo nga omuyimbi obeera okiweebudde.
Gwe olowooza otya?
|