Re:The Funniest Thing About The Family Show/IN LIFE 1 Year, 3 Months ago
Meli tunamanyilawa,ossanga yegwe agatokosa ewa Luutu kati nga otunonyamyu byaffe,wabewo akugamba nti gwe Meli bwotove ku Luutu,gundi ajja kusanjagga.Kubanga omuwulila nga atumila tumila abantu botekakasa.Hahahaha Meli is busted.
Re:The Funniest Thing About The Family Show/IN LIFE 1 Year, 3 Months ago
Bannange akabaate k'elinnya (Meli ssi Walukagga) kanzalira emiteeru gino. Luutu yagamba nti Kalibattanya ye nze. Ate JJ kati agamba nti ndabika nze ntokosa ewa Luutu. Mbu okujjako nga evuude yo ajja okumpa kiboks lwanamatira nti eehhuuu, kale siyabadde yatokosa yo!! Yiiii Jeena!
Re:The Funniest Thing About The Family Show/IN LIFE 1 Year, 3 Months ago
Kakaati essabbiiti nnamba egenda kuwera nga Luutu26 tetumulabako wano mu paliamenti. Ntandise okulowooza nti ggwe Meli amugamba nti ojja kugenda okumulaba ggwe omwekwesesezza. Anti mbu e London abantu tebekweeka bannabwe beleka balaba. Wano nno akakiiko akekifundikwa, nga kalimu nze ne Phad, Mumbejja ne JeenaJulia, kasazewo nti Meli togenda ewa Luutu26, era tomukubira essimu. Bwonokuba ku Sunday Family show yogerayo bibyo birala byoyagala. Buuza Nakawooya kyeyeddira. Mpozzi kyalira bonna baganda bo eyo obabuuze oba be ba Luutu26. Oba ssi ekyo, wewungule nnyo e Uganda, onyumye nga nnyo ku ConnectUganda Forum, bwalibeera ku kasiki akamu oba olumbe ali kugamba, Eehe, Namu ggwe Meli? Nze Luutu26! Kyonna kyonosalawo, ffe totussa ku bunkenke neezo plan ezitugobera omukiise!!
Re:The Funniest Thing About The Family Show/IN LIFE 1 Year, 3 Months ago
Jeana julia nkwagalanyo kuba togwako bisesa, Kalibattanya mbadde siliwo naye nkomyewo kati mukwanno Meli mumuleke akubbe esimu ku sunday family show kyesimanyi oba anayitamu.