Re:ABAKUBA ESSIMU KU SHOW BOGERE KYENKANA WA? 1 Year, 2 Months ago
Ssebo omumbejja nze ntesa nti byalisigade nga bwebibade omuntu nakuba esimu neyemala egoga kuba era tewaja kuba njawulo ababade bakuba bebaja okusigala nga bakuba kati tunulira nga Meli amaze emyezi ena agamba kuba simu naye tagezanga nako kuwandika namba ya studio kati gwe olowooza alivayo di akube. Ebintu tubireke aba ayise atumire abantu bbe
Re:ABAKUBA ESSIMU KU SHOW BOGERE KYENKANA WA? 1 Year, 2 Months ago
Meli mukusooka nnali ndowooza nti bajjajja be bakyadde mu studio era nganinda Queenei akoloobye obuyimba obubaniriza. Yetaaga akube obusaasi obwo ngooli yakagamba nti eno conect ngamaze nokwogera amanya ge tumanye nti awo tujja kufuna abantu abasukkamu naye nga akadde kebalina kakweyanjula bweyanjuzi.Luutu ngabwokyagala bwekijja okusigala tofaayo ffe tujja kuba tuteze amatu.
Re:ABAKUBA ESSIMU KU SHOW BOGERE KYENKANA WA? 1 Year, 2 Months ago
Nze banange nteesa nti singa buli akuba yekuba mu kifuba,n'afumiitiriza nti singa y'abadde alindirira mu line nga y'addako,yandyagade amusoose aleme kutumira na bukoko bwa mukwano gwa muliraanwa.
Ensonga namba biri,ako akade ka Queenie,mpozi nga yaleeta kuyita bazeeyi(ba Jajja),naye sebo ezo ensaasi tezisobola kusisimula muntu aba yebakidde ku ssimu.
Enamba esembayo,nsaba Meli ku luno eby'okwekwatakwata abite,akubire Luutu essimu,ffe abawuliriza tugerageranye amaloboozi,tukigobe oba tukigule nti ddala bava mu nju emu.
Re:ABAKUBA ESSIMU KU SHOW BOGERE KYENKANA WA? 1 Year, 2 Months ago
Balamusiza nyo banange mwena mumutima gwa connect,ensonga enno eyokuba essimu ekwata ko nyo kuba ndi omu kwabo abakubbi bessimu,
Naye nzekulwange ddaba kiri eri presenter waffe ,nomulamwa ogubba mu diro ekisera ekyo,kuba atumira edakika sattu(3) tezibba bii, adamu akakunizo edakika nga (4) then waliwo okuwabula nebilala kale preseter yadibade ategeza akubye essimu ekisera kyalina nomutegeza nti oba olyawo ebigabo bibere bitono tono
naye banange mwalabba kumuludi nguli guy yakuba nayogera nga computer kale ne massage sikyiwa nti yatuka nsinga queenei teyamusabba kudamu kukatiliza songa ye