CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No?
#9186
kasajja (User)
Baby Forum Member
Posts: 35
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? 8 Months ago  
Kikyamu Gavumenti okuwagira obukafiiri

Tuesday, 29th April, 2008



GAVUMENTI etutte ekirowoozo mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku mbeera z’abantu ng’eyagala okuggyawo okusomesa ebyeddiini mu masomero gonna mu ggwanga. Gavumenti eyagala okusomesa eddiini kusigale mu masinzizo n’awaka.



KINO kizze nga minisita wa Gavumenti Ezeebitundu, Kahinda Otafiire yaakamala okuvumirira okukozesa Bayibuli okulayira mu palamenti.



MU masomero agasomesa ebyeddiini basinga kujjumbira bya nzikiriza y’Abakatoliki (mu masomero g’Ekelezia), bya Bapolotesitante (mu masomero g’ekkanisa ya Uganda) oba eby’Abasiraamu. eddiini endala okugeza Abasamize tezifuna mukisa ogwo.



EYO y’ensonga osanga Gavumenti kw’esinzidde okwagala okuwera okusomesa ebyeddiini.



Eddiini yajja wano mu myaka gya 1800 ng’ereetebwa Abazungu. Okuva olwo ekoze kinene okubunyisa enjiri y’okwagalana, okusonyiwa n’okuvumirira ebikolwa ebireetawo obukyayi.



OMUSINGI ogwo ogw’eddiini kwe kwazimbirwa omubala gwa Uganda ogugamba “Ku lwa Katonda n’ensi yange”.



KYENNYAMIZA okuba ng’oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu l00 bukya ddiini ejja wano, nga n’abantu beeyongedde okusoma n’okubanguka mu bintu ebyenjawulo ate yo Gavumenti w’esaliddewo okuwera okusomesa eddiini mu masomero.



KIYINZIKA okuba nga kyetaagisa okuwera eddiini mu masomero kyokka eggwanga lirina ebintu bingi ebinyiga abantu ebyetaaga palamenti okukolako. Eky’eddiini kyandigize kirindako.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9187
kasajja (User)
Baby Forum Member
Posts: 35
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? 8 Months ago  
Amasomo g’eddiini ganaawerwa

Tuesday, 29th April, 2008



GAVUMENTI egenda kuwera amasomo g’ebyeddiini mu masomero ng’egamba nti galina kusomesebwa mu masinzizo n’awaka wokka. Ensonga eno yateeseddwako mu Kabinenti, baminisita ne bakolawo ekiwandiiko.



“Yali nsobi gavumenti okuleka eby’eddiini okusomesebwa mu masomero,” ekiwandiiko ekyasaasaanyiziddwa mu Palamenti bwe kigamba.



(Amangu ago) Baminisita (YES-MEN) baasembye eby’eddiini bisomesebwe mu maka ne mu masinzizo.



Bano ba "pusher" benyinni.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9188
kasajja (User)
Baby Forum Member
Posts: 35
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? 8 Months ago  
‘Gavt. Etangaaze ku byayogerwa Kahinda Otafiire’



OMULABIRIZI w’e Mukono, Eria Paul Luzinda asabye gavumenti eveeyo etangaaze ku byayogeddwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Maj. Gen. Kahinda Otafiire nti Bayibuli egobwe mu palamenti; ababaka baleme kugikozesa okulayira. Otafiire yagamba nti ababaka tebalondebwa kutuukiriza biri mu Bayibuli.



Luzinda yategeezezza omusasi wa Bukedde ng’ali ku ssimu nti bw’owuliriza ebigambo ebyayogeddwa minisita wewuunya kubanga ne motto y’eggwanga egamba nti ‘ Ku lwa Katonda n’ensi yange’.





Published on: Wednesday, 7th May, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9189
Ronny (User)
New Forum Member
Posts: 5
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? 8 Months ago  
Ensi nga bweyimiridde enaku zino, Eddini tesanye kutwalibwa nga ekikulu. Nze ndowoza nti mu naku zino eddini telina mugaso nyo nga bwekyali mubisera ebyedda olwensonga zino wamanaga:



(a) Ensi ya lero ekozesa magezi gakikugu(Technology) eddini ezisinga tezikiriza bagoberezi bazo kubuuza bisinga nokumanya ebisingawo kubiba biyigirizibwa mu makanisa oba mu mizigiti. Eddini ennaku zino kyafuka kyakufuna, si kugunjula mpisa nga bwekyali edda.



(b) Endoliito(conflict) mu nsangi zino ensi nyingi mu Africa abantu bagwangana mu bulago olweddini. Mu Nigeria aba Hausa barwanagana naba Ibo lwansonga za ddini! Okuva ku mabomu agakubwa america mu 2001 eddini abantu bagirabanga nga ekintu umuntu mwayita okutabangula ensi.



(c) Obutamanya . Eddini bweyitirira omuntu takurakulana, kubanga eddini ezimu zigana abantu okulya ebintu ebimu (Halam ne Halal, wamu ne banaffe abatarya byenyanja ebitayina magalagamba). singa otunurira aba Japan abantu abasubirwa okuwangala enyo munsi, ebyenyanja byebintu ebimu ebiyamba omubiri, bwotobirya oba ofirwa kinene.



Lwakuba tetunakola research emala abantu abasokokela ddala okusengula abaganda bali banaddini. Bagoba abantu mubitundu bingi mu nsangi zinno wosanga amakanisa nga Namirembe, Lubaga, namalala. Abaminsani abo tebagulanga ttaka kwebazimba ebintu byabwe.

Africa lwelukalu munsi yonna olweyazika enzikiriza!! tweyazika obuyisiramu, obukuristo, nobulokole obwenakuzino.



Munsi ezimu mu Scandanavia bwosaba ekimu ekyekumi, oyinza okusibwa! kubanga government tezibikiriza.

Mubereyo
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9190
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kulwa Katonda n'ensi yange. Yes or No? 8 Months ago  
Ensonga zokuba nti mu Africa abeeru be balowooza nti eyatonda omuddugavu si yoomu yeyatonda nomweeru kyebava badduka okutuletera eddini . Naye nga mubutuufu twaali tumanyi nti Katonda gyaali eyatonda eggulu nensi lwakuba buli omu yali amuyita bulala okusinziira mu gwanga lyasibukamu . Wewaawo ojja kwesanga nti abo bennyini abaleeta amadiini agenjawulo bwogenda gyebali tebakuyisa kyekimu nga bantu baabwe okanda kwewozaako nti ye nze gwemwetikkira eddini era ngikutte bukusu tebakutunulamu nooba ngosigadde na Katondawo mu mwooyo. Bwomala okutambulako mu nsi za beeru nosanga ngomuddugavu tebagala abegatteko okusaba Katonda yoomu negwebasinza, eyo yennyini eddiini gwebetikka mu Africa okutuletera ekitangaala.

Ekikulu kiri nti bwojja mu nsi za beeru womatira enjawulo eriwo mu nsinza wosangira amakanisa amangi mubitundu byabaddugavu nabaavu nga balinga abagamba nti sitaani mubaavu nabaddugavu mwatandikira,Kati kwekugifuula ekigulira magala eddiba oli natekawo nentebe ezenjawulo awa ekinene yatuula kumwanjo atesobola bulungi yatuula wakati kati , nooyo alina ebituli munsawo yatuula awasembayo, njagala oli antegeeze Katonda wakika ki asinzibwa mu Kkanisa efanana etyo. Eddiini nungi singa zisigala kumusingi gumu kusomesa kigambo kya Katonda awatali kusosola ndabika yamuntu nanfuna ye sijjukira nti Yesu yatambuliranga mu hummer oba nga sula mugoloofa oba ngalondamu nti omweeru yemutukirivu omuddugavu agende aliko sitani. FENNA KATONDA YATUTONDERA MUKIFANANYI KYE Eddiini ezikyasomesa ekigambo kya Katonda ngazigoberera enneyisa eteekwa siraba nsonga lwaaki ziwerebwa .







Nandyagadde okubuuza parliament lwerituula nekola kubintu ebiruma abantu, nga enguudo embi ebikwaata ku byobulamu ne njigiriza nebintu bingi ddala ebisokelwaako omuntu wabulijjo byeyetaaga mubulamu okusinga okunonooza ebintu byebamanyi nti tebijja basabya ssente .Lwaki tebasokera kuggala madiini gazze kwongera kwavuwaza bantu nga gasitukira mu bintu byabantu

Parliament eve mu byokunaanya bazibule amaaso balabe ensi bwebbira nga temuli kyonna kitambula basokere kubuntu butono nga ebikwaata kubulamu bwomuntu wabulijjo ngo kumutusaako amazzi amayonjo, ensi etelina bunyogovu oba ddungu eyinza etya okuba nti tekyasobola kuvaamu mmere kuliisa bantu baayo ?

MUKAMA ALINA KYABAGAMBA
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement