CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Fire, Fire, Fire, Infernos. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Fire, Fire, Fire, Infernos.
#9223
kamikatono (User)
Junior Forum Member
Posts: 72
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Fire, Fire, Fire, Infernos. 8 Months ago  




Ekisulo ky’essomero lya Trinity High e Kazo kiyidde



Bya Sarah Zawedde



ABATUUZE b’e Kazo bazikirizza omuliro ogubadde gu kutte ekisulo ky’essomero eribaliraanye .



Bino byabaddewo ku Lwokutaano ekisulo ky’abawala ku ssomero lya Trinity High e Kazo mu Lugoba, Kawempe bwe kyakutte omuliro.



Abatuuze bano abaakulembeddwaamu Ssentebe wa LCII mu Kazo Angola, Mw. Juma Sserwadda baayasizza endabirwamu z’eddiriisa ne basomba ettaka, amazzi n’omusenyu nga bwe babiyiwa ku mifaliso egyabadde kiggya.



Sserwadda yagambye nti abantu abaliraanye essomero be baalengedde omukka nga gunyonka mu kisulo ky’abayizi kwe kuyita bannannyini lyo era we baatukidde ng’emifaliso ku bitanda bibiri gituntumuka omuliro.



Omu ku bakulira essomero lino, John Kinene yagambye nti kirabika waliwo omuntu ow’ettima eyabadde agezaako okwokya essomero lino.







Published on: Sunday, 11th May, 2008



+++++++++++++



And now for the record...



Uganda as a country is in hell more than ever before, fires everywhere:

> Namukora wagon inferno,

> Kanungu inferno and mass graves in peoples garages in Buziga;

> Kicwamba inferno,

> 2001 Kasese post election inferno,

> Fort Portal inferno (can't remember the name of the school),

> Magamaga Army Primary school inferno,

> Teso TTC inferno,

> Museveni's hut in Kisozi inferno,

> Voice of Teso (Mike Mukula's Radio Station) inferno,

> Budo Junior School inferno,

> Trinity High e Kazo



who is next?

who is behind these fires and infernos?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9405
kamikatono (User)
Junior Forum Member
Posts: 72
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months, 2 Weeks ago  




EKISULO KY'ABAYIZI E SEETA KIYIDDE.



Bya Lydia Nakiguli



EKISULO ky'abayizi ku Nsamo Mixed Primary School erisangibwa e Seeta mu Mukono kikutte omuliro ebintu bya bukadde 30 ne bisaanawo.



Ekisulo kino ekisulamu abalenzi 24 ab'ekibiina kya P.4 kyayidde ku Ssande emisana era tewali yalumiziddwa.



Hedimasita w'essomero lino Iddi Bahemuka yagambye nti tekinnategeerekeka kyavuddeko muliro guno wabula metulooni, Geraldine Nakubulwa eyabadde mu kisulo yagenze okubayita nga tebakyalina kye bataasa.



Buhemuka yagambye nti essomero ligenda kuliyirira ebintu by'abaana ebyayidde.



Buli mwana tugenda kumugulira omufaliso, bulangiti, essuuka, yunifoomu n'ebirala nga tusuubira okusaasaanya emitwalo 30 ku buli mwana," Bahemuka bwe yagambye.



Yagambye nti enkuba eyatonnye emisana ye yabayambyeko okuzikiriza omuliro kubanga poliisi yaluddewo okutuuka.



Yagambye nti beetaaga obukadde 20 n’omusobyo okuzzaawo ekizimbe kubanga kyabambuseeko amabaati, ebisenge ne wansi byonna ne byonooneka.





Published on: Monday, 26th May, 2008



who is next?

who is behind these fires and infernos?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9501
kamikatono (User)
Junior Forum Member
Posts: 72
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
Yet another fire... 4 June 2008









Ebisulo by’amasomero amalala 2 biyidde



Bya J. Kabengwa ne D. Kiirya



EBISULO by’amasomero amalala abiri bikutte omuliro, ebintu by’abayizi byonna ne bisirikkiramu.



Mu ssomero lya Nicaragua Day & Boarding P/S e Bulenga ku lw’e Mityana, abayizi baabadde bategeka kugenda mu bibiina okusoma ebitabo ku ssaawa 11:00 ez’oku maliiri eggulo, kwe kuwulira amafuta agawunya n’ekyaddiridde kisulo kukwata muliro. Ekisulo ekyakutte omuliro kisulamu abalenzi 30 kyokka tewali yalumiziddwa.



Atwala Poliisi ya disitulikiti ya Wakiso, Alison Agaba yagambye nti balina omujoozi gw’omuyizi gwe baggye mu kifo awaabadde omuliro nga gusaabaanye amafuta era wano we baatandikidde okunoonyereza kwabwe.



Omukulu w’essomero lino, Annet Natukwasa yagambye nti abayizi ekyabawonyezza kwe kubeera ng’abasinga baabadde bazuukuse. Essomero lyaggaddwa okutuusa ku Mmande wiiki ejja.



Ate e Iganga, ekisulo kya New Grace Nursery & P/S erisangibwa ku kyalo Buliigo kyakutte omuliro ku Lwokubi-ri ku ssaawa 8.00 ez’olweggulo.



Ekisulo kino kisulamu abalenzi 70 abasoma P3, P4 ne P7. Dayirekita w’essomero lino, Peter Isabirye yategeezezza nti wabweru w’ekisulo baasanzeewo akadomola n’ekibiriiti wabula atwala Poliisi y’e Iganga, Joseph Egwedu yagambye nti banoonyereza.







Published on: Wednesday, 4th June, 2008



Who is next?

who is behind these fires and infernos?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9503
ukstylish1 (User)
What We live 4 is Justice in the Eyes of God.
Baby Forum Member
Posts: 34
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male http://www.allvstyle.com fortfive@allvstyle.com Location: London, England Birthdate: 1988-11-04
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
Whoever is behind these unaccidental, perpetrated fires across the country, they really are mischievious. And the government if it finds such peoples still alive should assert severe punsihments on them. A death sentence for each.



The Quran says ''We ordained therein (the world) for them: ''life for life,eye for eye, nose for nose, ear for ear, tooth for tooth, and wounds equal for equal.'' Surah Al Maida 5:45 (Holy Quran)





So from that we learn that when such people are found, as they killed, so shall they be killed.



Although differently if such men rape girls from schools or our women, so shall they receive heavy punishments when caught, rather than the crime they comitted they should be beaten severely as the person they victimised observes justice being implemented. Then after this the culprits should locked up for years.



Thats my idea on usch cases. Death is too easy. Punish them, then lock them away to serve time/ die slowi misery or remorse. Then after sentence them to death. Thats true punishment.



People suffer too much at the hands of nut cases. True Justice should be implemented!



JUSTICE MUST PREVAIL ON EARTH.



blog| http://deening.myminaret.com
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
God is Love
  The administrator has disabled public write access.
#9521
sabuni (User)
Baby Forum Member
Posts: 40
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
Omuliro gwokezza amaduuka e Jinja





Bya Tonny Nsoona



EBINTU bya bukadde bw’ensimbi byattokomokedde mu muliro ogwakutte ekizimbe ky’amaduuka mu kibuga Jinja.



Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwo-kutaano ku Main Street ku kizimbe ekitunudde mu kifo ekisanyukirwamu ekya Babez Night Club amaduuka okuli erya Unifired hardwares n’amalala bwe gaayidde.



Omutuuze Juliet Anviko Aroma, eyabaddewo ng’ekizimbe kyaka yategeezezza nti abantu baabadde bakyanywa mwenge mu bifo ebiriraanyewo ne bagezaako okuguzikiriza ne gubalema.



Published on: Friday, 6th June, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9524
sabuni (User)
Baby Forum Member
Posts: 40
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
NOW THIS IS TOO MUCH...



Ekisulo kya Molly and Paul kiyidde





EKISULO ky'abayizi b'essomero lya Molly & Paul Pulayimale e Kibuye kyakutte omuliro ebintu ebibalirirwa mu bukadde ne bitokomokeramu. Omuliro gwakutte akawungeezi k'Olwokutaano.



Wano akulira akakiiko akagatta abazadde n'abasomesa Mw. Charles Lwanga Bazannyanengo ng'alambula ekisulo kino n'abantu abalala.



Tewali muyizi yalumiziddwa. Poliisi ekyanoonyereza ku kiki ekyavuddeko omuliro guno.



Published on: Saturday, 7th June, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement