Nze ndowooza ba connectors baffe bwetuba tetubalaba kitegeeza nti balina obuzibu. Sirowooza nti bakikola mu bugenderevu okutwewulirirako, oba munzikiriza okukiyita bwentyo. Ate Radio zino ne Web yennyini zirina omulimu muneene ate nga omuntu alina nokukwaata omurimu gwe kubanga simanyidde ddala ezisinga bwezisobola kukola sente. Nolweekyo ndowooza mu butuufu tugumikirize, osanga byebatuyiyiza bya ssaava. Ffe tulinde nga twesunga ebyuuma bwebinaggwa okunyoolanyoola kiki ekinaaba kitukibbwaako.
Ku nsonga ya Karibu, nayo tugirabye. Ate Karibu ssi yesoose, waliwo nendala, nga neyobujajja nayo kweeli. Naye nze sirabawo mutawana gwonna mu kubeerawo kwa Karibu nendala kikumi oba lukumi. E Uganda fm radios ziri mmeka? Yye nno ate bwotebereza eziri mu nsi endala eeh!! Kati ku kino ekya internet, America, China, Sweden, German, Britain etc... zirina internet radios ne forums mmeka? Muleke tukulakulane, tekirina nsonga yonna. Infact kirungi. Uganda egende mu maaso. Ate ebikolwa bwebiti bwebikolebwa abamanyi, so much the better. Naffe ebbeeyi erinnya. Bonna tubasabire beyongere mu byonna byebakola, luliba olwo nga tugamba, nti abo nno bannaffe twaali nabo ku connect. Kati abemboozi mukwazze nga temulina nsisi yonna.
