Ekisulo ky’essomero lya Trinity High e Kazo kiyidde
Bya Sarah Zawedde
ABATUUZE b’e Kazo bazikirizza omuliro ogubadde gu kutte ekisulo ky’essomero eribaliraanye .
Bino byabaddewo ku Lwokutaano ekisulo ky’abawala ku ssomero lya Trinity High e Kazo mu Lugoba, Kawempe bwe kyakutte omuliro.
Abatuuze bano abaakulembeddwaamu Ssentebe wa LCII mu Kazo Angola, Mw. Juma Sserwadda baayasizza endabirwamu z’eddiriisa ne basomba ettaka, amazzi n’omusenyu nga bwe babiyiwa ku mifaliso egyabadde kiggya.
Sserwadda yagambye nti abantu abaliraanye essomero be baalengedde omukka nga gunyonka mu kisulo ky’abayizi kwe kuyita bannannyini lyo era we baatukidde ng’emifaliso ku bitanda bibiri gituntumuka omuliro.
Omu ku bakulira essomero lino, John Kinene yagambye nti kirabika waliwo omuntu ow’ettima eyabadde agezaako okwokya essomero lino.
Published on: Sunday, 11th May, 2008
+++++++++++++
And now for the record...
Uganda as a country is in hell more than ever before, fires everywhere:
> Namukora wagon inferno,
> Kanungu inferno and mass graves in peoples garages in Buziga;
> Kicwamba inferno,
> 2001 Kasese post election inferno,
> Fort Portal inferno (can't remember the name of the school),
> Magamaga Army Primary school inferno,
> Teso TTC inferno,
> Museveni's hut in Kisozi inferno,
> Voice of Teso (Mike Mukula's Radio Station) inferno,
> Budo Junior School inferno,
> Trinity High e Kazo
who is next?
who is behind these fires and infernos?