CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
#9526
Mirembe2007 (User)
Junior Forum Member
Posts: 129
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
When they see America burning they think it is funny omanyi baganda bannge tulina ba copy cat njololo abeteeka mubintu byebatamanyi era nga bwebagamba nti amazina amayigilile, abakozi bambiyone bano muli mumitima jabwe mulimu obusungu netima byakitalo kubanga oyinza otya okukwata amafuta oba petuloli nekibiliti nobikoreeza kusomeero lyomanyi nti mulimu abaana mazima bali mutulo bebase enyombo zamwe tebazimanyi oba wayagala musajja wamuno oba mukazi wamunno oba obanja munno sente ezitagula bulamu naye olwokuwolera eggwanga nogula amafuta nobokerera kubanga omanyi nti musomeero elyo alinamu omwanna oba abaana oba wese weka kubanga ekikolwa ekyo kilikutanzibwa mumaso ga Mukama . Abantu baffe bagwaamu ensa mubyokufuna kyekibakozesa ebintu ebyekiive ngabyemulaba kati omulembe bweguliba nga gutuse okusanawo mugenda kulaba omusayi oguyibwa ngababa babalanga bwerere. Amataba , Omulilo, Musisi Endwadde ezitawonyezeka Obulyake Obunnanfusi nebilala byemulaba ebitali byakintu kilamu nga obwenzi obuyitilidde obukutte obakulu nabato kati kuyisinganya buyisinganya ekilo nemisana nga ensonyi tebakyalina kasita abeera nga alinamu kyafunamu ebilala binagweera eyo.Oyo ayokerera banne ogugwe ogwa Jahanamu gusingawo kwogwo gwakozesezza kunsi kuno olwefitina jalina mumutima gwe.Tebibewunyisa nnyo baganda bange bikyajja tebinnagwayo Sitani yamala okubayingiza enkambiye okutagula ensi nebanansibamwo abo abatudde entende era abalina okutya MUKAMA nti ekivve kyebanakola bannabwe sikwekumala ensonga .Bali bagenda mumaso nomumuli gwa sitani nga amaze okubakumamu omulilo ate bwamala neyuna abalala basobole okumukolera emilimu jje ejekivve. Mwekwate Katonda ensi eyaaka.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9527
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
Apparently, this is a procracted hiden war against our people by the TUTSI JUNTA !

By the way why is the JUNTA so quite about these infernos ? !

Time will tell but there is a clear writing on the wall that BALAALO are behind it !!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9531
chamu (User)
Junior Forum Member
Posts: 95
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 7 Months ago  
Abookya amasomero bajja kututamya okusoma - Abaana



Bya ROBINAH ssanyu



ABAYIZI ba Uganda Martrys pulayimale e Katwe mu Masaka bwe baabadde bakuza olunaku lw’abawolereza baabwe Abajulizi, baasabye Mukama akkakkanye emitima gy’abatemu abookya amasomero.



Baasabidde bannaabwe aba Budo Junior abaggyiira mu muliro. Baagambye nti, abookya amasomero bajja kutamya abaana okusoma naddala ab’ebisulo.



Emikolo gino gyakulembeddwa mmisa eyayimbiddwa Vicar General w’Essaza lye Masaka, Munsenyoli Yozefu Kato Ssempungu eyafalaasidde abaana okubeera n’omutima ng'ogw’Abajulizi nga balemera ku nsonga entuufu.

kubeera abagumiikiriza.



nga ne Katonda tebamwerabidde ng'olwo lwe baggya okulya ensi.



Published on: Monday, 9th June, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9538
chamu (User)
Junior Forum Member
Posts: 95
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 6 Months, 4 Weeks ago  
Ekisulo ky’abayizi ekirala kiyidde





Bya Sarah Zawedde



EKISULO ky’abayizi ekirala kikutte omuliro e Namalere ebintu byabwe ebibalirirwa mu bukadde ne bitokomoka.

Ekisulo eky’essomero lya siniya erya Namalere Girls erisangibwa mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso kyayidde ku ssaawa 10.30 mu kiro ekyakeesezza eggulo ku Lwokusatu.



Ebintu by’abayizi 30 aba siniya esooka okutuuka ku yokusatu omuli emifaliso, bulangiti, engoye n’ebitabo byonna byasirikiddemu.



Metulooni w’essomero, Muky. Olive Kyogabirwe yategeezezza nti abayizi baabadde bagenze kusoma bitabo mu bibiina omuliro we gwakwatidde. (HOW CONVENIENT FOR THE ARSONIST. OR WAS IT PLANNED? -Ed.)



Akulira bambega ba poliisi mu Kawempe, Mw. Andrew Ddiba yagambye nti poliisi ezikiriza omuliro we yatuukiddewo ng’ebintu ebisinga biyidde. Yagambye nti banoonyereza ekyavuddeko omuliro.



Published on: Wednesday, 11th June, 2008



Now, who is next?

Who is behind these fires and infernos?
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9550
Jona (User)
Junior Forum Member
Posts: 92
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Fire, Fire, Fire, Infernos. 6 Months, 3 Weeks ago  
AMASOMERO AGASINGA OBUNGI AGAYIDDE OMULIRO GALI MU BUGANDA.



Amasomero 3 gayidde





Ekisulo kya Namalere Girls ekyakutte omuliro.



Bya Henry Ssennyondo ne Sarah Zawedde



AMASOMERO okukwata omuliro kutaamye! Ebi-sulo by’amasomero asatu ag’enjawulo byakutte omuliro ebintu bya bukadde ne bitokomoka.



Ekisulo ky’essomero ly’Abasiraamu erya Buziga Islamic Theological Institute e Makindye kyakutte omuliro, emifaliso, kkeesi, ebitabo, bbulangiti, amasuuka, ebitanda, engoye ne kalonda omulala byonna ne biggya.



Ekisulo ekyayidde, mubadde musulamu abayizi 67 aba P6 ne P7 abawala ng’era temuli kintu na kimu kyataasiddwa okusinziira ku Yusuf Jjemba omu ku bakulira essomero.



Abayizi Abunyo ne Shamim be baasoose okulaba omuliro guno ne bayita abasomesa.



Ate essomero lya Namalere Girls mu ggombolola y’e Nangabo lizzeemu okukwata omuliro, ebintu ebibadde mu kisulo kya Cambridge ne bisaanawo. Omuliro gwakutte ku Ssande olweggulo.



Omuyizi, Joseline Nabiyonga eyabadde yeebase mu kisulo kino agamba nti, ‘nnawulidde ekintu ekibwatuka omulundi gumu ekyazzeeko kulaba nnimi za muliro ne nziruka’.



Wiiki ewedde essomero lino erya kalina lyakwata omuliro, ebisulo bisatu omwali (Nkozi, IUIU ne Havard) ne biggya.



Mu kabuga k’e Kinoni ku luguudo lw’e Mbarara, ekisulo ky’essomero lya Sydney Day & Boarding kyakutte omuliro emisa-na emifaliso n’amakeesi g’abayizi basatu: Marble Nassaazi, Zahara Tendo ne Gift Mulungi ne gaggya okusinziira ku amyuka omukulu w’essomero, George Kateregga.







Published on: Monday, 16th June, 2008



And now, who is next?

Now we know who is behind these fires and infernos.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9570
kasajja (User)
Baby Forum Member
Posts: 35
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 6 Months, 2 Weeks ago  
AND NOW to change (cover up) the subject...



Is this the reason for burning the schools down...?




Sodomy in Boarding Schools



Rodney Muhumuza & Richard Wanambwa



Kampala



In accounts that indict school administrators and illustrate the darker side of life in boarding schools, some parents have spoken out to reveal the depth of sexual abuse in single-sex schools.



At least three parents have told Saturday Monitor that they were forced to move their children to other schools after learning of the risks at the schools they went to.



And another parent, who has suggested that she may soon have to find a new school for her child, has already complained to the Ministry of Education that her teenage son may have been sodomised at the prestigious school he attends....



Read on here:


http://www.monitor.co.ug/artman/publish/news/Sodomy_in_boarding_schools.shtml
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement