This is really too much:
Ekisulo ky’abayizi ekyayidde.
Abayizi ba Makerere High basimattuse omuliro
Bya Margaret Ziribaggwa
ESSOMERO lya Makerere High, Migadde lyokeddwa ekisulo ekibadde kisuza abaana 80 ne kibengeya ne kiggwawo.
Ebintu by’abayizi n’ebyessomero ebibalirirwa mu bukadde bye byatokomokedde mu muliro guno ogwatandise ku ssaawa 4.30 ez’enkya ne gwaka okumala ekiseera kya ssaawa nga nnya nnamba.
Omukulu w’essomero Joseph Kisubika ateebereza nti ekisulo kino kyayokeddwa mu bugenderevu so si masanyalaze kubanga bakuumi bonna baabaddewo ate nga naye yabadde yakavaawo n’omumyuka we omuliro ne gukoleera.
Kyokka ye akulira abayizi mu ssomero lino Stancy Ssempagama agamba nti bateebereza nti omuliro gwandibadde nga gwavudde ku masanyalaze.
“Abayizi abaabadde basoma kompyuta baalabye amasannyalaze nga gavaako ne kompyuta ne zivaako era wayiseewo akaseera katono ne babategeeza ng’omuliro bwe gwabadde gukutte ekisulo ky’abayizi abalenzi,” bwe yategeezezza.
Ate abayizi baawadde omu ku bannamawulire akabaluwa okutaabadde mannya ga muwandiisi nga kalumiriza nti bafugibwa bubi ne bawa ekyokulabirako nti abakulira essomero gye buvuddeko baabagaanyi okulaba fayinolo y’omupiira gwa Bulaaya ogwabadde wakati wa Germany ne Spain.
Kigambibwa nti waliwo abayizi abaagobwa mu ssomero lino omwezi oguwedde kyokka nga tennakakasibwa oba balina kye bamannyi ku muliro guno.
Omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Edward Ochom agambye nti
emmotoka ya poliisi ezikiriza omuliro yayanguye okutuuka ne bataasa ebintu by’abayizi aba siniya esooka ebimu.
“Poliisi yatuuse ku ssaawa nga 5.00 ng’abakola oluguudo okuva e Matugga be baabalwisizza, bwe yategeezezza. N’agamba nti ekyavuddeko omuliro guno tekinnaba kumanyika wabula nga poliisi eri mu kunoonyereza.
Ochom yasabye abakulira amasomero okwongera okubeera abegendereza n’okwekannya buli muntu ayingira n’okufuluma essomero okusobola okulwanyisa okwokya amasomero.
Omuliro gw’essomero lya Migadde gugenze okukwata ng’amasomero 25 ge gaakokebwa okuva mu mwezi gwa April omwaka guno.
Omuyambi wa Pulezidenti, Maj. Kakooza Mutale yagambye nti pulaani y’abookya amasomero ngazi
bwe banaava ku masomero bagenda kutandika kwokya mayumba g’abantu n’okutta.
Wabula ye omutabaganya w’ebitongole by’ebyokwerinda Gen.
Tinyefuza alumiriza nti abayeekera ba ADF be bagookya.
Published on: Thursday, 3rd July, 2008