Jjajja wa Kabaka aziikwa nkya
nakazaana
Bya Paul Kaddu
JJAJJA wa Kabaka, Edith Nagujja Nakazaana eyafiiridde e Bungereza, aziikibwa enkya ku biggya bya kitaawe Hamu Mukasa e Nassuuti, Mukono.
Omugenzi Nagujja Nakazaana ye yalabirira Kabaka ebbanga erisinga obunene ng’ali mu Bungereza.
Omulambo gwe gujja kusooka kusabirwa mu Lutikko e Namirembe akawungeezi ka leero oluvannyuma gutwalibwe e Nassuu-ti, Mukono gy’anaaziikibwa.
Nagujja Nakazaana yadduka mu Uganda mu 1966 era n’okutuusa kati abadde abeera Bungereza nga yafudde bulwadde bwa aniya. Mwana wa Hamu Mukasa owoomukaaga.
Yasooka kusoma busomesa mu Buloba TTC gye yava n’agenda mu Bungereza n’akuguka mu by’okutunga era nga yasomesa abantu bangi okutunga mu Uganda naddala abakyala.
Yazaala omwana omu mu bba Asanansiyo Kironde gwe yagattibwa naye empeta.
