Enkenene
Endabika y’enkenene
Abalya ennyama muzijjumbire okuziyiza endwadde
Enkenene wadde zimanyiddwa ng’ebibala ebiwoomera abaana, n’abantu abakulu balina okuzirya olw’emigaso gye zirina.
Ebibala, ebikoola, emirandira n’omuti gwennyini bikola ng’eddwagala ku ndwadde ezitali zimu era biyamba n’okutangira endwadde.
Enkenene zirina ekiriisa kya Vitamin c ekiyamba obutalumbibwa ndwadde ate nga zirimu n’omuzigo omulungi ku mibiri gyaffe.
Omulwadde wa siriimu asaana okulya enkenene zimuyambe obutagwa ku ndiri.
Enkenene ziwonya amabwa g’omu lubuto ziyamba n’omubiri obutabeeramu butwa buva mu bintu bye tulya.
Bw’oba owoomerwa nnyo ennyama obutakukola bubi olina okujjumbira okulya enkenene obutalwala gawutu.
Ebikoola by’enkenene bitta ebiwuka ebireeta endwadde, biyamba okukkakkanya omusujja era biwonya n’ekifuba ekikololwa.
Enkenene nnungi ku balwadde ba sukaali.
Obuti buyamba okukkakkanya obulumi era buyamba abalina kabootongo w’amagumba ne ku mulwadde w’entunnunsi.
Emirandira giwonya abalwadde b’oluyiro n’okulongoosa olususu olufuukuuse. Bw’oba tolina tulo emirandira gino era gijja kukuyamba.
Mu luzungu zetuyita strawberries.Abe Sweden mwe muziyita jordgubbe,dagala lya buwa temuzibusa masso.