Kano kabuuzo kalungi nnyo era nange ka ndete kyensuubira nti kinayamba okunyonyola abebuuza:
OMUGOYO:
Omugoyo gukolebwa mu lumonde na bijanjalo. Nazzikuno, ba Jajjaffe tebaalina bigotta, oba ebisotta ebikozesebwa leero. Songa okugotta lumonde n'ebijanjalo okusobola okufuna obugonvu obwagufuulanga omugoyo baalinanga okufuna okintu ekisobola okukola omulimu ogwo, mu kumagamaga kwekusangiriza ekikolokomba.
Ekikolokomba tekirina nyongeza yonna ya kalombolombo mu kukola omugoyo, kubanga n'eccupa esobola bulungi okukola omulimu gwe gumu ogwo.
Omugoyo tegutera kuliirwako nva, kubanga bweguba gukoleddwa omuntu ategeera ky'akola, guba mugonvu ekimala okumiringusa.
MUGUNU:
Ono akolebwa mu lumonde na muwogo, mu nkola y'emu n'omugoyo.Enjawulo eriwo eri nti temuteekebwamu bijanjalo. Mugunu aliibwa na nva, era asobola okuliirwa ku nva zonna wabula taliika muluma, olw'okuba aba mugumu obutafaanana na mugoyo.
Oyo agamba mbu asekulirwa mu kinu, kino kikolebwa eri oyo atayagala kubotola ntobo ya ntamu. Mugunu yetaaga amaanyi mangi ko, ekisobola okubotola entamu nu kusekula wabula ssi kya katala nti olina kukozesa kinu.
AKATOGO:
Wabula ko akatogo tekakolebwa bwekatyo n'akamu!
Akatogo kabeera ka Muwogo na Bijanjaalo, Muwogo na Binyeebwa oba Muwogo na Nyama/Byenda.
Akatogo kabeera ka Matooke na Bijanjaalo, Matooke na Binyeebwa oba Matooke na Nyama/Byenda.
Enjawulo wakati w'akatogo ne Mugunu/Mugoyo eri nti akatogo tekagottwa oba okusekulwa, wabula okufumbwa obufumbwa.
Mwongere ebipya ndeete bwiino....................
Peace and One Love