|
Mukwano ndi bbize’
Eng’ombo y’abaagalana abeekyaye
OMAZE bbanga ki nga munno gw’oyogereza tomuwuliza? Ye bw’omukubira essimu akugamba nti, “mukwano nsonyiwa naye ndi busy (soma bbize)?”
Bw’aba ng’ekyo kye yeekwasa, manya nti omukwano gwe gy’oli gukendedde era bw’oba okyamwetaaga, sala amagezi guleme kuggweerawo ddala.
Oli bw’akugamba nti, “ndi bbize” abeera ategeeza talina budde bwo olw’emirimu emingi egimumalawo.
Naye nga ddala omuntu akusula ku mwoyo ng’olufuba, abulwa atya akadde k’akufissizaawo?
Ebiseera ebisinga abaagalana ekigambo ekyo bakyeyambisa nga kyekwaso naye nga kye baba baagala okutegeeza nti “sikyakwetaaga”.
Naawe akyakwana, munno gw’oyogereza bw’omukubira essimu ng’oyagala musisinkane n’akuddamu bwatyo, manya omutima gy’oli teguliiyo.
Bw’oba tonnaba kumwewa nnyo, kino kye kiseera okumuleka.
Wabula bw’oba olaba nga omutima gwo gukubira kw’oyo, yongera okuwadaawadako, tomanya: anti ogutateganya teguzza nvuma!
Naawe omukazi anoonya omubeezi, singa oganza omusajja n’atandika okuwoza nti ekimubuza era ekimugaana okukulaba lwa kuba ali bbize, kano kaba kabonero akalaga nti takutwala ng’ekikulu.
Omusajja bw’aba asiimye omukazi, era nga mumalirivu okubeera naye mu bufumbo tasobola kumuwoleza nti alina bingi by’akola.
Omuntu yenna bw’ayagala ekintu akifissizaawo obudde n’amaanyi okukifaako.
Era ekintu ekyo kibeera ku mwanjo mu bintu ebikulu mu bulamu.
Bw’oba onoonya omusajja ow’okufumbirwa ow’engeri eno mudduke mangu kuba ne bwe munaatuuka mu bufumbo tabeera na budde bwo.
Be bano b’owulira ng’afuna ddiiru eyinza n’okumutuusa obutadda waka n’atakutegeezaako.
Okanda kumulinda nga tadda. Olwo bw’omukubira essimu n’alyoka awoza nti, “Haa nsonyiwa bambi nneerabidde okukugamba nti ndiko safaali gye ng’enzeeko.
Naye nga gw’oyagala weerabira otya okumutegeeza ku kintu ekikulu nga kino!
Omuntu ayagala ekintu tasobola kuguma butakirabako kumala kiseera kiwanvu, wadde okukiwuliza.
Omutima guba gukubanja era ebimu obyerekereza n’obeera nakyo. Kituufu mulimu abantu abali bbize naye tukkirize tugaane, waliwo bangi abakikozesa okweggya ku bannaabwe.
|