CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Young Ugandan in the diaspora (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Young Ugandan in the diaspora
#4543
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 258
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Young Ugandan in the diaspora 1 Year, 1 Month ago  
Okutegeera ensonga eno obulungi, tulina okumanya engeri Katonda jeyawireringamu omuntu. Wabula sooka otunulire ensolo olabe engeri jezitandikamu obulamu bwaazo. Ensolo endi yomuddo, olugwa kuttaka, ng'etagala enoonya kyakulya. Eba emanyi omuddo gwenerya, era nga egusosola mugwetalya. Ensolo teyetaaga kulagirirwa muddo gwenerya negwetaalya. Mu bulamu bwensolo, teyetaaga kusomesebwa. Ezalibwa byonna ebimanyi (preset), era ng'emanyi nomulabe waayo. Kyekimu n'ebinyonyi. Biba bimanyi enkula y'enju jebinaziimba, era tugambe endegeya, zonna zizimba ekisu kyaazo mungeri yeemu. Tezetaaga training to do so - a type of bonna bagaggawale project.



Omuntu olutonnya kuttaka bwati, from day one, aba yetaaga training. Maama alina okumuyingiza ebbeere mukamwa okumumanyisa okulya. Oba olina okumuyigiriza okutambula, okumuyigiriza awali potty, etc. Obulamu bwomuntu bwonna, buli kyakola yetaaga training. Bible ye user Manual y'obulamu bw'omuntu. Mwemuli training y'omuntu, whether you believe it or not.



Ensolo teyesalirawo, nolweekyo teyetaaga training okusobola okusalawo. Omuntu ateekeddwa okusalawo, okuwereza Katonda oba obutamuwereza (Deutoronomy 30:15-20). Nolwekyo omuntu yetaaga okusomesebwa obulamu bwe bwonna, asobole okusalawo mungeri entuufu mubyonna byakola.



Omwana bwooba tomubulidde nti kino kibi, bwakikola oyinza okumunenya? Omwana ekiyinza okumwanguyira okukola nga tomubulidde, kyekyokukuba banne, olwokuba abantu bonna tuzalibwa n'enneyisa ya Adam ne Eva eya disobedience.



Lwaki omuntu asobola okusomesebwa obulamu bwe bwonna okuva nga yakazalibwa? Olwokuba nti omuntu alina 'hard disk' oba obwongo obutasobola kujjuzibwa. Otuuka kufa bukadde nga obwongo bwo wakakozesaako about 1/10th. Singa omuntu yali wakuwangala obutafa, obwongo bwetulina kati bwandibadde butumala okukozesa ebbanga lyonna, okujjako nga oli mulwadde. Bwandibadde tebwetaaga upgrading. Ssijja kugenda mumitendera obwongo engeri jebukolamu okuyingiza byebusoma ne wwa jebubitereka, era ddi lwebubijjayo nga byetaagibwa. Wabula, ojjukira wewabeeranga nga olina emyaka nga 10? Of course you do. eyo info. wagitereka mu bwongobwo now about 30 years ago.



Kati ndowooza olaba obukulu bwokusomesa omuntu okuva nga mwana omuto. Bwotamusomesa, ajja ye kuyingiza takataka yenna, byonna byalaba munsi muno, era ebyo byagenda okujjukira obulamu bwe bwonna. Katonda yakola abantu nga balina okusomesebwa obulamu bwonna, okumanya ebirungi n'ebibi, olwokuba nti omuntu alina obuvunanyizibwa munsi muno. Buli muntu alina ekyamutondesa. Purpose oba God's will.



Omuntu bwakugamba nti yye talaba mugaso gwakusomesa baana, awo jjukira nti ebinyonyi ebitafanaana tebibuuka wamu. Manya nti naye bwatyo bweyatandika obulamu. Beebo ba gundigundi bosanga nga bakutte emundu nakuyisaamu essassi oba nakuyiira acid nga nokutemya tatemezza. Kuba talina kirala kyamanyi mu situation eyo.



Abaana baffe abali eno ebweru, tubatwaaleko eka buli lwekisoboka, basobole okugaziya obwongo bwaabwe, era bamanye kiki kyebasuubirwa okukola mu mbeera yaffe ey'eka. Embeera y'eka ekyuuka, nolweekyo nabo balina okubeera nga bamanyi ekigenda mumaaso eka.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4544
Mirembe2007 (User)
Junior Forum Member
Posts: 129
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Young Ugandan in the diaspora 1 Year, 1 Month ago  
Mbalamusiza nnyo bannange, oba nguyite mulembe! kubanga bonna abaana abali ebweru wa Uganda sibabi ngabwetumanyi naddala abalina abaana.Mukama atusasile kubanga bwegutuuka kugwempisa,nolaba ejjano.Ekyokusoka abaana babamanyisa nti tebalina kukubwako era bwewabawo ensonga yonna balina eddembe okuyita abasilikale songa omwana atakangavulwa akula kilelya. Katonda bwakukwatilako nabawuliza amatu nagaggula obwongo nebugaziwa wesunako bwemumalako emyaka ejobutiini ngatalese misango.Ekikulu okukoppa kwekuletedde abaana okubekokola ngabakola ekintabuli nawe woli noffako.Nebwotwalako eka ndabanga era kyodduka kyojja okusanga kubanga nekka ebikopedwa njololo.Abazadde ababeera ebweru bakwatibwa emikono nemimwa olwo omwana nayisawo ebivve,kubanga amanyi nti bwanagenda nawabila bazaddebe bajjakumuwa akabega. Era abasinga besanga bafunye obuzibu mumaso eyo.MUtunulile eka okujjako nga omwana omutadde mukisulo namalako omwaka munsiyaboffe awo oyinza okujjamu omuntu naye sikyankalakalila.Abatono abasuleko obusubi.Naye ekyo tekikujisayo suubi olwebyo abaana byebayitamu nti nawe bolina banakutagaza.Temukoowa kubulilila omuyaga ngagujidde gubayugumya.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4567
Sefrex (User)
Junior Forum Member
Posts: 114
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Young Ugandan in the diaspora 1 Year, 1 Month ago  
Emugisha wrote:



Let the kids be left to do what they think is right after all, ezenkana nkana nebisikki, tezaaka... Mumaso bwebaba balabye light, nga badayo ewa bazadde babwe nga betonda...





Banange mbalamusizanyo mwena era mwebalenyo okutesa.Okukuza oba okugunjula omwana nze kulwange ndowoza nti gwe mulimu ogusingirayo dala obuzibu omuzade nomukuza gwebasanga mu bulamu bwo mwana okutukira dala lwafuuka oba lwavamu omuntu omukulu eyeyagaza era awesa bazade be ekitibwa,era awatali Katonda kukukwatilako simanyi nti gusoboka. Musome kuka article kano wamanga maybe abalina endowoza endala banakyusamu oba olya`wo.



Omuzzukulu yantemako emikono lwa ffene’



Nalubira ng’alaga emikono gye baamutemako.



bya Frederick Kiwanuka

Nalubira attottola engeri omwana ow’emyaka 9 gye yamusanjaga ebiso n’asimbayo kitooke



BAGAMBA nti, ‘Ssekabwa ke weeyolera, ke kakuluma enteega’, naye ne Benaaleeta Nalubira, yeevuma kazzukulu ke ak’emyaka omwenda ke yayola kyokka akamutuusizza ku bulema obw’obukulu!



Omwana yamutemako omukono ogumu, omulala baagussaamu kyuma kubanga amagumba gonna yagabetenta era Nalubira emagombe yasimbayo kitooke.



Nalubira mutuuze ku kyalo Katooke mu Disitulikiti y’e Nakaseke.



Mukazi wattu eyali yeerlimira emmere, nga yeetuusaako buli kimu, kati kateeyamba atakyalina ky’asobola kwekolera.



Bino byaliwo mu February w’omwaka guno. Anyumya bwati: Simanyi oba omwana yatabuka lwa firimu ez’obukambwe z’abadde alaba mu bibanda oba ffene gwe nnamunenyaako okusiibirira, wabula nnalabira awo ng’atabuse.



Omwana yali amaze ennaku bbiri nga tasula waka. Bwe yakomawo awaka kwe kumubuuza nti ye ggwe atasula waka osulanga wa, era emmere ogirya wa ?



Omwana yanziramu nti, “Ffene si mmere?” Nnali ndowooza bikomye awo, ne mbaka enkumbi ng’enda nsoggole lumonde. Mba ndi mu nnimiro ng’omwana antuuseeko. Nnamubuuza nti, “Nga toleese kakutiya mwe tunaatwalira emmere?”



Yanziramu mangu nti, Okimanyi nti leero ngenda kukutta?” Nnali mbiyita eby’olubalaato kwe kumukanyugira akambe nga bwe mmugamba nti, ‘kaako nzita!’ Yali azze n’ekiso kye nnali sirabye era ng’akikwese mu ssaati.



Omwana yangwako n’antemaatema mu maaso, ku bibegabega, mu bulago. Bwe nnagezaako okussaayo emikono nneetaase nagyo n’agitemaatema. Nnagezaako okudduka nga buteerere. Taba kubeera muvubuka wa bodaboda eyali ayitawo mu kiseera ekyo osanga singa nze mbuyaga ezikunta!”



Owabodaboda ono omwana obwanga gwe yabwolekeza, ate naye n’aduma lulwe ng’alabye ku kiso ekisaabaanye omusaayi.



Ng’eno Nalubira takyategeera, avaamu omusaayi mungi nnyo, musajjamukulu George Matovu muliranwa we ye yamuyoolayoola n’amussa ku kagaali ka ‘wiirubaalo’ n’amuddusa mu ddwaaliro e Kiwoko.



“Yenna yali ajoobaanye omusaayi nga tolina w’omukwata. Nga tosobola kumanya oba ebiwundu biri ku magulu oba ku mikono, omumwa n’okutu byali bisigaddeko kalebwerebwe ,” Matovu bw’agamba.



E Kiwoko ku kitanda, Nalubira yamala wiiki bbiri nga tamanyi biri ku nsi. Omukono ogumu abasawo baagutemako, omulala ne bagussaamu ekyuma.



Nalubira agamba nti wiiki ebbiri ezaasooka abasawo baasaba akakadde ka ssente era baatunda bute bwe bwe yali alundira awaka, n’endala ne ziva mu bazirakisa.



Olw’okulemererwa ebisale by’eddwaaliro ly’e Kiwoko omu ku bawala be yamuggyayo n’amutwala e Nakaseke mu lya gavumenti. Eno yo Nalubira yamalayo emyezi esatu ng’abasawo bamujjanjaba.



Engeri gy’atakyasobola kwekolera mirimu, Nalubira kati abeera mu maka g’omu ku bawala be eyafumbirwa e Kiziba mu Disitulikiti y’e Nakaseke.



“Siridda wange e Katooke. Ye nkoleyo ki? Sikyasobola kwekolera kantu konna, buli kimu bankolera kikolere,” bw’agamba. Muzzukulu ali mu kkomera ly’abaana e Kampiringisa gye baamusiba okumala emyaka esatu.



Nalubira ajjudde ebiwundu ku maaso, ku bibegabega ne mu mugongo, omukono gwe ogwa ddyo yasigaza kikuggu. Okwa kkono yadde gulimu ekyuma tasobola kugusituza wadde akadomola aka liita essatu.



‘Yii, omwana gwe nnayola okuviira ddala nga wa myaka esatu,n’agenda antuusa ku kino!” Nalubira bwe yeewunya. Omwana oyo kati gw’ayita ‘Kalibutemu’ mutabani w’omugenzi Wasswa eyavuganga takisi ku llw’e Luweero.



Kitaawe ye yasooka okufa ne nnyina n’agoberera, abaana abasatu ne basigala nga tewali akumaakuma, jjajjaabwe kwe kubatwala.



Bakulu ba ‘kalibutemu’ bwe baasusuumukamu ,omuwala ne yeefumbiza, omulenzi owokubiri n’ava awaka olwo ‘Katibutemu’ n’asigala yekka ne jjajjaawe. Abadde asoma Katuumu Islamic P/S e Katikamu mu p.6.



“Emikwano emibi gye gyayonoona omwana wattu,” Nalubira bw’agamba.



Published on: Wednesday, 31st October, 2007
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4576
JBugonzi (User)
Junior Forum Member
Posts: 120
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Young Ugandan in the diaspora 1 Year ago  
OMULAMWA GUNNO GWANDIBADDE ENGUNJULA Y'ABAANA ABAZALIDWA EBWERU WA UGANDA/DIASPORA.

First of all,I WOULD like to thank all of you who have taken trouble to participate in this Discussion.However,some of you like Mr.Eric Mugisha have a different perception about well bringing/up bringing of our children.

On earth,every one needs directions,and no one can be selfsufficient,whereby,our children once they are born,they need proper guidance in whatever sort of thing they are doing.

A CHILD is very intelligent,they putin and store whatever they learn,good or bad,but if you don't tell a child that this is wrong and thats inappropriate.I will give you a scenario whereby,kid are bain washed;

In northern Uganda and Sierra-leon,kids are abducted and given trainnings which only teach them what their commanders only needs.THey are tought how to kill and torture and there's no any other language they know apart from that language.

So,if the mum is a HOOKER,the children will also fall into her footsteps,if the father uses foul language,children will also use foullanguage.FOR EXAMPLE E UGANDA WALIYO OMWAAMI OMU ALI VERY PROMINENT,ONE DAY HE WAS CALLED AT SCHOOL TO PURNISH HIS SON JUST BECAUSE OMWAANA YAWEMULA ABASOMESSA,NAYE MWAAMI MUKALAZZI BWEYATUUKA KU SOMERO NEBAKUBA PARADE OMUZADDE ABONEREZZE OMWAANA,NAYE EKYAJJA BULI OMU ENVIIRI KU MITWE,YE MUZADDE ONNO OKUKUBA MUTABANIWE NGA BWAMUGAMBA NTI "MWAANA gwe,sakugamba nti ejjiiko ogiyita jiiko,emumbwa ogite emumbwa,embo....ogiyite embo..."kalenno omusajja onno yawemulilra ku parade okwaali abaana abatto abali Innocent.

kale mwaami Mugisha sebbo,omwaana bwakulaba nga okuba maama we,gwe omusubira kukolaki nga awasizza?? ATI ERA NGA BWEBAGAMBA NTI,ENYONYI ENKULU YEYIGIRIZA ENTO OKUBUUKA, Gwe ababo baleke ensi ebatwaale gyeyagala osanga MUKAMA ALIZZA BIBYE. BUT MY ONLY ADVICE IS,DO NOT BE SELFISH,GIVE YOUR CHILDREN WHAT THEY DESERVE AND WHEN THEY BECOME RESPOSIBLE CITIZENS,THAT WILL BE YOUR PRIDE AS A PARENT.

ERIC MUGISHA,YOUR FIRST NAME ERIC WAS GIVEN TO YOU BY YOUR FATHER BECAUSE HE WANTED YOU TO BE A GOD FEARING ANIMAL.

GOD BLESS THIS FORUM
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement