CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA
#6111
fikema (User)
Junior Forum Member
Posts: 95
graphgraph
User Online Now Click here to see the profile of this user
EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 1 Year ago  
Baseruganda neba Naruganda,Nina ensonga ensuza nga nkukunaadde.Bagande bange namwe banyinaze mwena mbade mbansaba ebyambaalo byaffe ebyobuwangwa tubiwe ekitiibwa ekimala.Kino kyantuuka luumu ku kabaga akali kategekeddwa banaUG okumalaako omwaka.Narowooza nti kano ke kakiisa okulaga abamanga amalala nti naffe tulina ebyambalo ebyaffe era ebituwesa ekitibwa.Nagenda nyambadde ekanzu eyomuleera nga nekanyekanye okukira agenda okwanjula.Naye ekyanzigya enviri ku mutwe,olwayingira nti mu hall,buli muntu natandika okunsekerera mbu mbaswaziza nnyo kuba ninga ayambadde MAXI oba ekiteteeyi.Ebigambo ebyayogerwa akawungezi ako olwe kanzu yange byampisa bubi nnyo era wano wenkikinarira mbuze,Kibi ki ekiri ku Kanzu oba Gomesi??????.Nsaba akimanyi anyambe kuba nakinonya kyambula.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#6133
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 951
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 1 Year ago  
Fikema nga walaba munange,oba ekkanzu yali nene nyo okusinga kati nga obulide mu.Kyokka abantu bakikumalako,kale bambi gwe wagenda omanyi oshabudde kyokka laba bwotuka eli nga tebakulabawo,yiyiyi ensi eno.Tekwaliko kooti balyoke bakiyite ekiteteyi? Ye nga balela nyoo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#6137
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 1 Year ago  
Mukulu Fikema nga walaba ennaku n'okusekererwa enseko abantu abatassa bitiibwa mu by'obuwangwa n'ennono zaabwe!

Amazima gali nti bangi ku bantu baffe bagenda ne bava eka nga basiibulidde ddala,nga empisa,ennono n'obuwangwa babisude mu kasasiro ku kisaawe Entebbe!

Ab'ekika ekyo b'osanga nga bazadde n'abaana nebatabakkiriza kwogera nnimi zabwe nzaaliranwa,kuba bajja kuswala singa waliwo emikwano gyabwe egiyinza okukyaala awaka negisanga nga boogera enkwerekwere z'ennimi!

Bano basaana kusaasirwa,n'okuswazibwa kubanga beebo abeyita kyebatali,olw'empapula ze bafuna nezibaziba amaaso,era ne baloota kyebatagenda kubeera emirembe n'emirembe Amiina.

Abo Muzeeyi Zedde aba kubawulira yandisabye Katonda n'abakuba Bbalaayi mu buwompo
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#6142
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 1 Year ago  
Bwomanya gyoova omanya gyogenda. Banno abo mukulu Fikema tobanenya, bali mu butamanya. Nawano wendi nabawulira nga bogerera omukyala omu ebye kisiru kubanga nga yye ayagala nnyo okwambala ekyambalo kyaffe akya gomesi. Munnaffe ono yafa naye abamanyi tukimujjukirako. Kubanga ku buli mukolo nga akubiriza wabewo mu ffe abesiba busuuti nokwambala amakaanzu, ate yali na mutunzi nga atunga busuuti. Abantu abagala eggwanga lyaabwe nobuwangwa bwaabwe babeera bantu ba mukwano era nga baana ba bantu. Eyo yenjawulo gyobeera omanya, baleme kukutabula.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
#6225
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 12 Months ago  
Fikema Zino ezekidera wazisanga wa ? abo bogamba nti nsanga muyise abantu abandibadde bakyewuunya be bastone age naye kati abantu bangi batambula nga bali mu ngoye zaabwe ezobuwangwa ate ekyo ku beeru oba obategeeza nti ekyambalo ekyange kyekinsingira ebyammwe ate olaba nabatwaala abeeru eka okufumbirwa oba okwanjula babambaza ekkanzu nekooti nobalaba ngabanekanekanye omanyi bagamba nti oyinza okujja omuntu mukyaalo naye kizibu omujjamu ekyaalo.

Nze bwensulamu kaboarding kange nentambula nkyuusa nembalagira ddala nti teli egisinga era buli mweeru abaagiwaana. Nali nkyasoma nebatugamba okukola ekyambalo nagamba nti ssagala kukola buli omu kyakoze nentungamu boarding ngolina nokulaga step by step byonna byokoze nokugissa ku form nogyambaza ngomukyaala aterezezza ate ogyambale otereko ne accesories nge nsawo , engatto necklace ne earrings era navaayo ngekirabo kyange kindi muttaano nolweekyo bwogwanga kuboarding mu magazine zabafalansa ngomanya nti Buganda ekikiribbwa.

okujjako bwenaddayo eka nembuuza bajjajja nebamaama nti bwekiba nti byonna ebinyumisa ayambadde boarding obirina kiwato bbere kabina olwo ebikooyi ebingi oba oyagala byaaki era namaliriza ebyo byonna sibitukirizza nze omu nenejjawo
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#6228
Mirembe2007 (User)
Junior Forum Member
Posts: 129
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYAMBAALO BYAFFE TUBISEEMU EKITIIBWA 12 Months ago  
Munnange ngawalaba nabo abalina amasekere kasita wali toyambadde nkunamyo zino eziliwo.Ogwo gwali mukolo munene nnyo okugwambalila gwe kyewayagala kubanga okwekulisa okuyita mumwaka munnange kintu kikulu eri oyo amanyi obulamu kyebutegeeza.Abaseka belabidde nti eyo ekanzu oba gomes kyambalo kyabuli mukolo,gwonna ogubera gukwetagisa okugendako nze nandisabye abaganda bonna okumanya nti eyayiya ekyambalo ekyo yali wamagezi nnyo kubanga kiwesa ekitibwa ate tekikunamya kati silaba lwaki abantu batilatila okulabika mukyambalo ne Ssabasajja Kabaka Bbaffe kyayambala ngakyalidde abamawanga agebweru okubalaga nti naye alina ekyambalokye ekyobuwangwa nganamasuti oba ebyambalo ebilala bingi byalina.kale twelabila mangu netulowooza nti ebyaffe biswaza songa buba butamanya nti kyolina kyekisinga obulungi era bakyegomba bangi gwebotomanyi nebakubuuza engeri jebakitungamu mazima ngomulaba yegomba kuba abazungu tebalina kyambalo kyabuwangwa nenkufila bazijako kumitwejabwe lwakunyomerera ebyaffe tuwe ekitibwa bibewo emirembe nemirembe ngatewali akwatibwa nsonyi wonna woberera kyambalidde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement