Wano ku mawanga, munno bwaava mu nju notebeereza olutalo lwagendako, zino mpapula, kuno kunoonya mirimu, kukontana na bannansi, bilowoozo byeeka, bipakasi bya kwata kwata etc...
Ekyo kyatuleetera okumanyiira nti bwomuwulizaako mu lunaku nobuuza nti bigenda bitya? Ate bwemudda eka era nemwebuzaaganya olunaku bwelugenze. Kale nawano, jangu otubulire olunaku lwo bwelwaagenze.
Wali obadeko awo newesanga nga obulamu tebweyegala kyokka nga tomanyi nsonga?Toli mulwadde,tolina kikwelalikiliza naye newesanga nga buli kyotunulako kilina engeli gyekitakusanyusa..What do u do in such a situation?It happened to me the other day.I called a few friends and tried chatting them up but things didnt work,till i found out,it must have been one of those days wen u wake up on the wrong side of yo bed.HOW WAS YOUR DAY???
Omuganda agamba nti "kula zikulabe",oyinza okitaputa mungeriyo naye kirina amakulu mangi.
Buli lunaku olukya omuntu agenda asemberera entana ye,kyekitegeza nti tuli mulutalo,tulwanyisa walumbe eyaremerera Nambi ne kayikuzi....
Mpozi eyo nga nvudeyo,ngenda nenzijukira ebisera ebyo nga nkyali muto,nga tewali naku kunsi,lumu empewo yali nyingi kwekugenda enkoto wekyoto nfune kukabugumu,wabula otulo netunkwatirayo ngenda okusisimuka nga sawa musanvu ogwekiro baganda bange banerabirayo..
Ate nenzijukira obude obwo nga ovude ku mupiira nengwa kubuliri nga sinabye ,naye kiboko zezanzigyangayo,emirundi emirala nengwa awo munsiri naye nga siziwulira...enaku zino manyi nokuzukuka mumatumbibude nengenda nabako,yekati sikyasobola kwebaka nga radio kweri.ate oba sisobola kwogera nga omuntu omulala ayogera..nsoka kwesibira mukisenge okwebaka.........................makulu ki agali mumbozi eno..kyekyo kyentegeza nti kula zikulabe.
Amukulu agali mubulamu bwewegendereza enyo oyinza obutagafuna....naye olina okukimanya nti tulu mulugendo,naye ekikulu kwe kugezako okukiriza nti obulamu bwebutyo..waliwo obude obwokusanyuka,obwenaku,obwokukungubaga,era buli kintu kirina obude bwakyo.
Enjawulo eriwo wakati womwana nawe omuntu omukulu nti embeera eno obeera ogisubira..ekitali kumwana muto......Togwangamu manyi guma...manya nti embeera yakiseerabuseera.
bwebulamu mukama bweyatukolera....anti kituyambe nga okuda gyali ........
banange embeera zemuyitamu zireme kubamalamu manyi wabula mugume,mumanye nti waliwo eyatuwa obulamu buno..talitukema kusinga wetusobola..ate mugeko okulabo opportunities eziri mu ku nakuwala..anti ofuna obude okwekebera ...
Mhhhhhh nga bwebagamba nti ensi yaleta ela dala yaleta,ntunulidde ebigambo bya mukise munaffe ono Paul Ezra nebindeka nga entuyo nzisaza kibatu,mbisomye emilundi gyamudilingana naye nga bikyanfukula obwongo..omwami ono alabika bebano abasajja bebayita ba "THE MAN OF ALL SEASONS" olussi omusanga ali mubiwoowe nogamba ate ogubadde,olulala bambi nomusanga nga ali ku bugele bwabane awalampa newubuza nti oba musajja nabaki ono,olukedde nomusanga nga yewombesse ayogelako no mutonzi nolowoza muli nti enkomelero etusse ate olulala nomusanga nga yemuwi wa mageezi kubikwatagana nendwadde,newebaza mukama okubawa omusawo owobwerere ku Connect.Kati leero yagidde mukiti kya kuula zikulabe..nze olussi ngenda nendowoza nti munakatemba awedde emirimu lwabutaba nakibina kyankalakalila.Enough said Connect ewangaale nga nensi bweleta.