Munnayuganda bamukwatidde Bungereza ng’aduumira babbi
Bya Muwandiisi Waffe
ONO Munnayuganda abadde Kawubooyi wa ddala!!! Abadde apangisa obwana obuto n’abutendeka n’okubwambaza yunifoomu z’ekijaasi oluvannyuma n’abuyigiriza okuvuga mmotoka n’abweyambisa okubba ssente okuva ku bimotoka ebizitwala mu bbanka e Bungereza.
Wabula poliisi y’omu kibuga London yafuludde obukodyo bwa Ali Lwanga ow’emyaka 21 bwe yamukwatidde mu bitundu by’e Enfield mu nkingizzi z’ekibuga London mu Bungereza.
Kino kyaddiridde bambega b’ekitongole kya Flying Squad okumulinnya akagere okumala ekiseera.
Lwanga agambibwa nti abadde mukujjukujju ate nga wamutawaana nnyo era muzannyi wa mupiira ng’agukubira mu ttiimu ya Glovers mu kibuga kibuga London, era gye buvuddeko yagiteebedde ggoolo ng’esamba ne Bristol City.
Lwanga eyafuna obutuuze mu Bungereza yasimbiddwa mu kkooti y’e Wood Green n’obulenzi 4 bwe baamukutte nabwo ne bavunaanibwa okubba ssente ezisukka Pawunda 100,000 (eza Uganda obukadde 310).
Bambega baaleese obujulizi obulaga nti ku mu-limu gw’okusamba omu-piira, Lwanga abadde ya-gattako ogw’okupangisa abaana abali wakati w’emyaka 13 ne 16 b’atendekera ku kirabo ky’emmere akya McDonald mu kabuga Canning mu buvanjuba bwa London.
Obwana buno buba-dde bukuguse mu kubba ssente ku mmotoka ezizitwala mu bbanka ku mudumu gw’emmundu n’ebiso.
Bwakkirizza nti Lwan-ga abukozesa, naye bwe butwala omunyago abu-waako busammambiro.
Akulira bambega ba Flying Squad, Gary Donnison agambye nti balondodde Lwanga okuva nga January 18, omwaka guno.
Published on: Tuesday, 22nd July, 2008
Email this article to a friend.
WABULA BANA-U NAFFE TETUGWAYO.
