|
Bwe twali tukyasoma twekolamu obukundi,nti kano kagenda mu Northcote ate kali ka livingstone,ate akalala nga Lumumba..mubisrea ebyo zezo kuzimu hostels zetwawuliranga eza manyi..naye era eyo satuukayo..nekanga ndi Kulubya temple..ekisula kyesalowoza nti ndikitukamu....
Eyo nga nvudeyo negomba nti nange bwendiba maze emisomo gyange ndi labikangako ku TV kumkolo gya gavumenti,oba okubere omu ku ba social celebrities bomu kampala..neyo nayo satukayo..omulimu ogwasoka nagufuna Nakasongola mu LOHNRO COTTON..bwentyo ensi bwentambuza ,nzuyo Lira,Moroto,Mbarara,Kisoro,kabale ate oluvanyuma enyo nenzira e Nakasongola mu "Project".
Naye eno yona ngenze njigayo enimi empya....wabula kyekinyambye mu kwekulabanti ate enjawukana zafe mumawanga temuli nsonga wabula ,abatukulembera bebatuzanyira kubwongo.
Sakoma awo nenumba ensi ezomirirwano,eyo e Congo natuukayo,sudan,mpozi nasubwa okutukako e kigali...osanga temwandizemu kumpuliza..anti bangamba nti ebijujulu byeyo bigaba omukwano nawe nosiima.
nakomawo ewa ssebaana..nensinzira ne numba omu german era olu deutsch ne tulwogera,numbye omu Swiss ne mwogerera olufaransa ne lu girimani naye nankakasa ,eyo salwayo anti buli lwenayiganga olulima nga bangamba nti kati engeri gyoyize olulimu Police ekwetaaga ebeeko byekubuuza...ate awo nenetegula....
Salwawo nga nalumbye dda amuwarabu mu misiri naye ate abo bali bayaye ,nga sibasobola nenzira ewabobwo,mbandi awo nga ngwa ku kyana kiwala ekya mpaaza nekintwala mukibuuga Saulo,netuda eyo netulya emisota,nagyo negituwulira....
Nafuna omukisa ne numba Hongkong naye obulamu tebwagenda bulungi..naye mukasera kano nfunye omukiisa okulambula ensi endala gamba nga Monaco,Russia,Belgium.
Waliwo akakazi bakayitanga Frau Screiber kangamba "Du es ist eine chance zu leben im Deutscland,warum wollen sie nicht kommer bei unserem fest,und sehen Deutschnen meschen fruehen sich"..mpozi simanyi nsimeka akakazi kano zekatambude???
singa Airline zimanyi zandimpade ekirabo kubanga singa mbalamu sente enkozeseza..mpitirivu era sejusa lwaki mpangade okutuuka wano....
kati nina enimi endala biri zensoma..kansubire bwenaziyiga ate Police tebeko byempita kunebuuzako.....
Byenali negomba ate ndaba nga temuli,ndimusanyufu era nsubira kati yesawa okukakana ntandike okulya kubulamu..
sejusa yona gyempitide anti kinyambye okubera nabantu abengeri zona..njize nti langu yomuntu sigemazi,ate era sibwebulungi..njize okuwuliriza abalala..njize okugaba okutaliko bukwakulizo....njze okufunanga akaseera nenkaabako..kubanga bwotakaaba tomanya makulu gakusanyuka.
mpozi kyesija kwelabira kwekwebaaza mukama kututondera bana bawala abadugavu..yona gyempitide sinalaba abenkana...
sirina bwenyinza kwevuma nsi..siri giyita kisi..
Mukama abankumire
nze mukulu wamwe
Paulo Ezra
|