[img size=150][/img]
Gavt. ya Buganda
Olukiiko lwa Buganda nga lutudde gye buvuddeko.
Bya Muwandiisi waffe
Kyokka akatabo Obulamu bwa SSekabaka Daudi Chwa11 kalaga ng’enkyukakyuka mu bufuzi bwa Buganda zitandikira ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa so si gwa Kabaka Muwenda Mutebi II.
Mu ssuula egamba nti Ebyobufuzi mu Buganda omuwandiisi agamba bwati:
Ku mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa, enfuga y’omu Bwakabaka bwa Buganda mwe yakyusizibwa okuva ku magezi n’enkola y’obujjajjja obw’edda okuva ku Kabaka Kintu n’okudda ku mutindo omuggya gw’eriko nga nsaleesale eyayawula wakati w’enfuga ey’edda n’empya ye yali Endagaano ya 1900.
Eno y’entegeka ey’edda ey’Obwakabaka bw’e Buganda eyasangibwawo :
Enfuga eno teyamenyebwawo, Obwakabaka bwa Bungereza bwe bwakola endagaano mu 1900 n’Obwakabaka bwa Buganda wabula bwaginyweza bunyweza, Sir Harry Johnston bwe yamala okugyekkaanya n’agisiima.
Omutongole: Mayiro bwe zaagabibwa mu bakungu abeereere, oluvannyuma abamu baazitundako era n’endala ne zijja nga zisikirwa nga bwe zigabibwa okubuna mu bantu, kale nga buli muntu alina ettaka ye mutongole kubanga alina obuyinza ku basenze be. Ng’okugaba mayiro tekunnabaawo, Kabaka yalinanga ebisanja oba ebitongole by’abasajja be abaamukoleranga emirimu egy’enjawulo, ebweru ne mu Lubiri, kale abantu abaakulemberanga ebitongole ebyo nga be batongole.
Owoomuluka: Ono ye mwami atandikirwako wansi alabirira abantu abali mu byalo ebiri mu muluka gwe.
Oweggobolola: Ono mwami mukulu, aba n’olukiiko lwe ku ggombolola era ayinza okutanza n’okusiba abantu mu kkomera kyokka obuyinza bwe bwa kigero.
Owessaza: Ono y’alabirira abaamagombolola mu kitundu kye.
Abakulu abasatu:
Edda waaliwo Katikkiro yekka naye Ssekabaka Daudi Chwa bwe yalaba embeera y’ensi nga bw’eri kwe kuteekawo abalala ababiri, omuwanika n’omulamuzi.
Katikkiro: Ono ye mwami omukulu akomererayo mu bukulu obuyinza okutuukibwako mu Bwakabaka bwa Buganda. Afuna 16,000/- omwaka ne mayiro 16 ez’Obwakatikkiro.
Omuwanika: Y’aggukirwako omulimu gwe omukulu kwe kukuuma ensimbi z’obwakabaka. Afuna empeera ya 16,000/- omwaka era ne mayiro z’aggyamu obusuulu ez’obwami.
Omulamuzi: Y’addako, y’asala emisango emikulu era okuva mu 1929 waateekebwawo abalamuzi abato 3 okuyambanga omulamuzi mu lukiiko lwe.
Era waliwo ebitongole bino ebikulu n’abakulu baabyo:
Omukulu w’oluwalo afuna 4,750/- omwaka, omukulu wa mayiro (leero ye minisita w’ebyettaka) afuna 6,000/- omwaka, omukulu w’ebyokulima (Ssekabaka Daudi Chwa ye yalwana okussaawo ekitongole kino) afuna 4,750/- omwaka (ono leero y’ayitibwa minisita w’ebyobulimi). Omusawo w’ebyobulamu (leero y’ayitibwa minisita w’ebyobulamu) afuna 1,800/- omwaka.
Omusigire wa Katikkiro afuna 7,200/- omwaka
Ababeezi b’omulamuzi abasatu omukulu afuna 6,000/- n’abaddirira 4,800/- buli omu omwaka.
Omubeezi w’omuwanika afuna 5,400/- omwaka.
Olukiiko: Kabaka afugira mu Lukiiko n’abantu be. Olukiiko olujjuvu bwe lutuula lubaamu Kabaka ku Nnamulondo, abakulu abasatu (Katikkiro, omuwanika n’omulamuzi), abaamasaza n’abeemiruka basatu okuva mu buli ssaza, n’abaami ba Kabaka omukaaga, bw’ogatta awamu lubaamu abantu 90. Waliwo n’omuwandiisi w’Olukiiko afuna 4,080 omwaka.
(Bisimbuddwa mu Obulamu bwa Ssekabaka Daudi Chwa II).
Noolwekyo ebyo waggulu biraga nti Ssekabaka Daudi Chwa ye yatandikawo enkola y’obufuzi bwa baminisita mu Buganda bwe yalonda Omuwanika, omulamuzi, omukulu wa mayiro, omukulu w’ebyokulima, omusawo w’ebyobulamu n’ababeezi baabwe.
Kabaka Mutebi ky’akoze kwe kugaziya ku bukulembeze buno obwatandikibwa jjajjaawe Daudi Chwa nga leero Olukiiko lutuuza abantu abasoba mu 90 ekyalulimu ku mirembe gya Ssekabaka Daudi Chwa.
Published on: Saturday, 1st March, 2008
.
Published on: Saturday, 1st March, 2008
