CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 7
TOPIC: Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE
#8115
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
ebyobuwangwa byaffe tetubisulirira 9 Months, 3 Weeks ago  
Nze naye ssirowooza nti olugero olugamba nti ekijja omanyi kinyaga bitono mpozzi bandigambye nti osala amagezi newewoma, kuba ddala nebamala bakugamba nti baabo bajja, oyinza okwesanga nga emiggo gyobadde obategekadde okubawuttula ogyabulidde kagenderere nosaako kakokola tondeka mabega ate nga nenkonyogo zikuwerekera, naddala mu biseera bino byetulina abakeera okkola ogwa kanyama nga tebalina nagenda kwetaaga service yabwe, kale neeba ngaweeri esobola okozesebwa mukaseera konna akaba kazeewo .

Kuba nga tewali kyebalina kyaabwe kiryaawo kyebatya kuyononebwa oba ekyetagisa okukuuma , abo tulina bangi era oyinza okwebuuza bonna gyebavudde nga kaseera akatuufu katuuse, Ekirala bwolaba ebiri ewa muliranwaawo naddala ngolengerayo abekasukira omuliro omanya ekyokkola newetunulira newekebera olabe oba naawe amafuta ogakumidde awo kumpi nogongerayo ewala, nosala nessanja lyonna ekkalu wamu nomuddo omukalu oguba gukwetolodde .Kati ebiba bisigalidde kulyaamu kyolidde oba newesiwa amagengere go nozikira notoyagala kumanya muwendo gwabantu bakukyaawa nabasabirira kasaawa kali akokwambala lugabire kibaliga mpozzi nga bwezitaliiko left ne right
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8116
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
ebyobuwangwa byaffe tetubisulirira 9 Months, 3 Weeks ago  
Naye bannamge Shaggy gwe olwareelo wazze kkola mini mini my mo omutwe gwange wawambye gwaaki nototandika wo gugwo kuba ddala bino bikwataganaki nebyobuwangwa byaffe tetubisulirila
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8549
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
EBYOBUWANGWA BYAFFE 9 Months, 1 Week ago  
Omwana atannayogera tomuwa gonja



Gonja mmere nkulu eri abasajja.




Bya Edward Kalumba ne Keefa Ssentoogo



EKITOOKE kya gonja tekyabulanga mu nsuku z’Abaganda olw’emigaso enfaafa egikiriko. Ekitooke kino ddagala, mmere ate nga kigoba n’ebisiraani.



Gonja alimu ebika nga Manjaaya ng’ono abeera n’omunwe munene ddala ate nga muwanvu, mmamba, nnakattansase,ne nnakakongo akula ng’eminwe gye gyewanise.



Ab’e Mawokota be baasinganga okulima gonja kyokka oluvannyuma olw’obuwoomi bwe n’ebitundu ebirala byatandika okumulima. Kuno kwe kwava n’oluyimba nti. ‘Ewaffe e Mawokota gonja ayengera...’



Gonja ky’ekimu ku bitooke ebitwala ebbanga eddene okukula. Bwe kireeta eng’o kitwala ebbanga lya myezi mwenda okutuuka okuliibwa.



Wabula gonja okuva ku kitooke kyennyini, empummumpu, ebyayi n’omunwe gwa gonja biriko eddagala eritali limu. Omuntu gwe basibye omulundi ogusooka ebisiraani by’ekkomera obutamulondoola, abyeyambululira ku kitooke kya gonja. Oluva mu kkomera ayisibwa wakati w’ebitooke bya gonja nga bw’alaamiriza nti ‘ebisiraani by’ekkomera mbirese wano mu kitooke kya gonja’.



Emirandira gya gonja gyongera ku bungi bw’ebisa eri omukazi agenda okuzaala. Gino gigattibwa n’emirandira gy’akakumirizi, omulandira gw’ejjobyo wamu n’ogw’omusambya. Biyisibwa ku muliro omukazi n’agaaya.



Kyo ekyayi kivumula ettalo. Kino kisibibwa waggulu ne wansi olwo ettalo ne lisigala wakati okutuusa lwe lyengera. Wabula ate yo empummumpu ddagala lya binnyo mu baana. Bagagambulako ebintu 4 bye bafumba. Bwe biggya omwana n’alyoka anywangako mu bipimo bitono ddala okutuusa lw’atereera.



Obukalakate bwa gonja buziba enkundi y’omwana egaanyi okuzibikira. Ono aba mwokye gwe bakalakata n’oluvannyuma obukalakate ne babumamirira mu nkundi y’omwana.



Amasanda ga gonja gayamba omwana addukana okulekera awo. Ofuna obusanda okuva ku munwe gwa gonja ogukyali omuto n’okamulira ku kagiiko omwana n’anywa.



Mu basajja abafumbo ng’oggyeeko emmere eng’anda, gonja ayamba okubazzaamu endasi. Ono ayinza okuba omufumbe oba omwokye.



Wabula newankubadde ebyo byonna biri bityo, kiwanuuzibwa nti gonja wa kisiraani singa omukozesa obubi. Singa omulya ng’obadde tonnalya kintu kirala kyonna n’obaako emirimu gy’ogendako, gidobonkana. Ng’onoomulya waakiri munda sookayo emmere endala.



Gonja omubisi kiwanuuzibwa nti wa kisiraani okumutambuza. Kigambibwa nti singa otambuza gonja omubisi, gy’olaze ebintu tebitambula bulungi. Ky’okola okutangira ebisiraani bino, oggyako omunwe gumu emmotoka n’egulinnya oba ggwe wennyini okugirinnyisa ekigere n’ogubebentula.



Gonja taweebwa mwana atannayogera
. Okufaananako n’endaggu, singa omwana atannayogera amulya, kigambibwa nti ayinza okulemwa okwogera.



Ekitooke kino tekisimbibwa wakati mu lusuku. Kisibimbwa ku nkingizzi nga kigambibwa nti singa asimbibwa wakati mu nnimiro, olusuku lunyiiga era luyinza n’okusenguka.



Tasalwako mpummumpu so nga n’endagala tezifumba. Mu kuyunja,omugogo tegutemwa gwonna nga bw’oyunja ettooke wabula guno gukutamizibwa bukutamizibwa n’olyoka otemako gonja.Singa emizizo gino gisobezebwa, ggwe akikoze oyinza okufuna obuzibu.



Oyo ye gonja kawoomera!



Published on: Saturday, 1st March, 2008[img size=150][/img]
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8555
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE 9 Months ago  
Pulaani ya katikkiro okukulaakulanya Olubiri yagyebuuza ku b’ani?



Bya Maria Ssettimba



KAMALABYONNA Ying. John Baptist Walusimbi, okulangirira nti agenda kusala mu lubiri lw’e Mmengo poloti alukulaakulanye, nti era asale ne mu masiro g’e Kasubi agalekerewo yiika 20 zokka, kiwaawaaza amatu.



Kino kinzijukiza olukwe lw’okutunda ku masiro g’e Kasubi wazimbwewo essundiro ly’amafuta. Kino twakoma okuleebuukana nakyo mu 1998. Mu ngeri y’emu eby’okusala poloti mu lubiri bwe byatandiikiriza, eyali Katikkiro Daniel Muliika yabiwakanya, era n’awagirwa abataka n’olukiiko. Ate kati nneewuuunya okuwulira ng’amuddidde mu bigere ayagala kukomyawo ekintu kye kimu.



Buganda tegaana nkyukakyuka kasita ziba nga tezizze kuggyawo nnono naye nga zigenda kuzitereeza, kuzikuuma na kuzinyweza. Naye era enkyukakyuka ng’ezo tezigwa bugwi. Walina okubeerawo okwebuuza ku Baganda nga bayita mu bika byabwe 56 ne mu masaza gaabwe 18 okutuukira ddala wansi ku byalo. Okwo kw’ossa abataka abakulu b’ebika okulung’amya. Ebyo byonna nga bimaze okukolebwa Olukiiko lwa Buganda ne lulyoka lusalawo eky’enkomerero.



Nze nnawa dda amagezi nti mu kifo ky’olubiri n’amasiro okusalwamu poloti zitundibwe, buli kika kiweebweko ekibanja kikikulaakulanye. Kisobola okuzimbawo ekintu kyonna ekiyingiza ensimbi kasita kiba nga tekyesittaza Kabaka na kukoonagana na nnono.



Labira ku kitebe ky’obusiraamu e Kampalamukadde, ettaka eryo terisaliddwaamu poloti ne zitundwa wabula olukiiko lw’Obusiraamu lunoonyezza ensimbi ne luzimbako amaduuka ge lugenda okupangisa abasuubuzi kasita baba nga tebagenda kussaawo birabo bya mwenge, loogi n’emidaala gy’embizzi.



Obwakabaka bwaffe okusangulwawo mu 1966 okutuusa lwe bwaddawo mu 1993, waliwo ebintu bingi ebyasoba era y’ensonga lwaki tubonaabona. Abantu bangi abakyamu abali mu bifo omuli n’abataka abaalya ensowole.



Bano tebakoma ku butamanya bye bakola, naye tebabaako kulung’amizibwa kwa bifo ebyo. Labira ku ‘Namulondo’ ey’omulandira Kabaka Kintu kwe yattira Kabaka Bemba e Naggalabi era okutuuzibwa Kabaka ng’atikkirwa. Gwakala, ekiragula akabi akali mu Buganda kyokka wadde nnakunga Abaganda fenna tugende e Naggalabi kino tukisalire amagezi, naye teri Muganda yafaayo.



Mu byafaayo bya Buganda, omulandira ogwo tegukalangako.



Kisaana kimanyibwe nti ekimu ku byayuuza obwakabaka mu kyasa kya 20 be baminsani okutulemesa okukola emikolo gyonna egy’amatikkira ku Kabaka Daudi Chwa ll mu 1914 ne Sir Edward Muteesa ll mu 1939.



N’olwekyo, Kabaka bw’aba aliko emikolo gy’atakolanga, asaana agikole sikulwa ng’omulandira okukala Obuganda bunyiivu.



Nsaba bajjajjaffe abataka n’ababaka b’Olukiiko lwa Buganda bawakanye enteekateeka ya Katikkiro ey’okusala mu lubiri n’amasiro poloti ziguzibwe bannaggagga. Olwo tunaaba na njawulo ki ne Pulezidenti Museveni gwe tugamba nti atunze ensi yaffe?
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8556
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:EBYOBUWANGWA BYAFFE 9 Months ago  
The consultant continues, “Nkoyooyo claims that the original plans for Lubiri cannot be stopped And by original plans, he seems to mean the construction of shops, hotel, restaurants and other facilities based on the original proposals by Anatoli Kamugisha and blessed by Museveni, Salim Saleh and other Banyankore/Banyarwanda”. The fund raiser on September 21, 2007 seems to support the consultant’s information. First, Sekanyola been reliably informed that promotion of this event on local radios was financed by Apollo Nsibambi, not Mmengo. Then, curiously, Bishop Baharagate, who presided over the illegal allocation of Butabika Hospital land to Museveni cronies, was present. As were Indian representatives of Museveni’s BIDCO LTD, which, through its Ssese operations, has done the most extensive environmental damage in Buganda’s history.



In 1999 Yoweri Museveni pledged Shs 900 Million for the completion of Twekobe (Kabaka’s main house in Lubiri). He has not honored that pledge. Furthermore, Museveni’s government already owes Buganda billions of Shillings in unpaid rental bills. Without regard to the previous false promises Museveni’s Apollo Nsibambi went ahead and, with a straight face, announced that Museveni had pledged Shs 50,000. And with an even straighter face, Nkoyooyo clapped hard and profusely thanked Museveni. from ssekanyolya
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement