CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Bakimukoze yalabi (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Bakimukoze yalabi
#9625
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 951
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Bakimukoze yalabi 5 Months, 1 Week ago  
Bamusazeeko obusajja



Mugarura ng’ali mu nnaku. Wakati obusajja obwasaliddwako. Ku ddyo ye Kyomugisha



Bya A. Ssengendo ne T. Kwatagye



OMUKAZI atasiba zikweya akutte akaso n’asalako omusajja akasolo gw’asangirizza ng’asobya ku muwalawe ow’emyaka 10.



Muky. Angelina Kyomugisha, nnyina w’omwana eyasobezeddwaako, yabadde alima mu lusuku n’awulira muwalawe ng’alaajana nti ‘maama bankwata’ kwe kudduukirira enduulu ataase.



Yeetooloodde emmanju mu kisiko ekiriraanye ennyumba ye gye yasanze muwalawe ng’alaajana era gye yakubye amaaso ng’essajja, Geoffrey Mugarura, 48, lifutubbadde ku muwalawe.



“Nnawunze kyokka ne nfuna obuvumu kwe kweyambisa akaso ke nnavudde nako mu lusuku ne nnumba Mugarura eyabadde aggyemu empale ne mbaka obusajja bwe ne mbunyweza mu busungu ne mbusalako,” Kyomugisha bwe yateezezza.



Kyomugisha yagambye nti akasolo ke yasaze ku Mugarura yakanyugunyizza mu kisiko.



Abadduukirize baatuuse mangu okulaba ebiguddewo bwe baawulidde Mugarura ng’atema amiranga olw’obulumi.



Abatuuze baanoonyezza akasolo ka Mugarura eyabadde atwalibwa mu ddwaaliro, wabula ne kababula. Oluvannyuma baaleese embwa y’omu ku batuuze eyakazudde.



Wabula waabaddewo katemba ate embwa eyazudde akasolo bwe yatebense nako emisinde ng’eraba efunye ekyokulya ne bakagisuuza busuuza.



Mugarura eyabadde takyasobola kwogera bulungi baamuyoddeyodde ne bamutwala mu ddwaaliro e Mbarara ng’akasolo bakazinze mu kigoye ng’abatuuze balowooza nti abasawo bayinza okukola kye basobola ne bakamuzzaako.



Wabula akulira eddwaliro ly’e Mbarara, Dr. Placid Mihayo bwe yeekebezze akasolo kano n’ategeeza nti kaabadde koonoonese nnyo ng’obusimo bufudde era nga tekakyasobola kuzzibwa ku nnyiniko.



Dr. Mihayo yagambye nti Mugarura takyaddamu kwegatta na mukazi n’afuna ssanyu lya mukwano obulamu bwe bwonna kubanga akatundu k’akasolo ke yasigazza tekalina kye kayinza kukola yadde okufuna obusimo okuggyako okumuyamba okufuka omusulo gwokka.



Gye buvuddeko munnyabyabufuzi ateerya ntama Miria Matembe yaleeta ekirowoozo ekyokulaawa abasajja abasobya ku baana n’abo abakwata abakazi ku mpaka.







AKAFANANYI KALEMEDEYO NAYE BAMBI MULISA MANYI OKUTWALIZA AWAMU YABADDE AWELAMU GULEVI.KUBA BWEWETEGELEZA ENTUNDU KIKAAA.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9702
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 951
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Bakimukoze yalabi 5 Months ago  
Kayihura, waakiri okutambuza ebigere nga sirinnye mmotoka yo



JJANGU NKUTWALEKO: Kayihura ng’aguliddewo Nambooze oluggi amutwaleko.



OMUDUUMIZI wa Poliisi, Maj. Gen. Kale Kayihura yafulumye n’omwogezi wa DP, Betty Nambooze. Baabadde bava mu lukiiko abanene ba DP lwe beevumbye ne minisita ow’ensonga ez’omunda, Dr. Ruhakana Rugunda wamu ne Afande Kayihura.



Nambooze yagenze okutuuka wabweru nga mmotoka ye teriiwo mbu Erias Lukwago yabadde agitutte. Kayihura yalabye Betty asobeddwa kwe kumuyita n’amugamba nti, ‘Betty jjangu nkutwaleko’ era mu bwangu n’amuggulirawo oluggi.



Bino Nambooze yabigaanyi n’agamba nti waakiri okulinnya takisi oba okutambuza ebigere.



Published on: Friday, 4th July, 2008



Betty yasoma ebitabo bye engombo azimanyi bulungi nadala eno nti "KEEP YOUR FRENDS CLOSE BUT YOUR ENEMIES CLOSER" nolwekyo teyesembeleza
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement