Akubye mukazi we amasasi 26
Saidat bw’abadde afaanana
Bya Robert Mutebi
YASOOSE kutegeeza mikwano gye nga bw’agenda okutta mukazi we n’oluvanyuma n’awandiika ekiraamo mwe yalambikidde ensonga ze zonna.Oluvannyuma yakutte emmundu n’agireega mu mukyala we n’amukuba amasasi 26 agaamusse olwo naye ne yeekuba essasi n’afa.
Sulaiti Wambede ne Saidat Nuwagaba babadde n’abaana kyokka bwe baafuna obutakaanya mu maka gaabwe ne baawukana. Bombi babadde bapoliisi era olw’okwagala okukomya endooliito wakati waabwe, bakama baabwe baabaawula omusajja n’atwalibwa e Moroto kyokka eno gye yavudde n’ajja mu Kampala n’akuba mukyala we amasasi 26.
Ettemu lino lyabaddewo ku ssaawa 6:00 ez’ekiro mu nkambi ya Poliisi e Naguru mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga era nga ye yabadde entikko y’obutakkaanya wakati w’abafumbo bano bombi.
Muganda w’omugenzi Aisha Mulanuzi yategeezezza nga Wambedde bw’aludde ng’ategeeza nga bw’agenda okutta muganda waabwe era nti w’amuttidde abadde ategeka kugenda mu baabuyinza kubayitiramu ku nsonga zino.
“Omusajja nze gwe yasoose okukubira essimu n’antiisa nga bw’agenda okunzita bwe simubuulira musajja ayagala Saidat nze ne mmugamba nti amulekere eddembe kubanga baayawukana dda”Mulanuzi bwe yategeezezza.
Wambede bwe yatuuse mu Kampala ne yeegatta ku baserikale mu nkambi e Naguru ne banywamu omwenge kyokka nti bwe zaaweze ssaawa 5:00 n’agenda.
“Twalowoozezza nti akooye azeeyo waka kwebaka”John Okiror omu ku mikwano gye bwe yategeezezza.
Ye muganda wa Saidat gw’abadde asula naye mu nnyumba Lukia Nakafeero yagambye nti Wambede yazze ekiro n’amenya eddirisa n’abuuza mukyala we w’ali olwo n’asumulula amasasi.
“Taata Sharat yazze ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro n’amenya eddirisa n’ayita nti…Hajati…Hajati…weebase n’ani?,ko nze nti ali yekka talina gw’ali naye.Yatandise okukuba amasasi ag’okumukumu nagenze okuwulira nga muganda wange ang’amba nneekweeke wala”.Nakafeero bw’alojja.
Agattako nti yawulidde muganda we ng’alaajana nti…”Omwana wange mmulese,omusajja andesezza omwana nfudde.Nagenze okumutuukako nga bamukubye amasasi amagulu gonna n’ekifuba.
Saidat nga tannafa yakubidde muganda we Mulanuzi essimu ku ssaawa 7:16 n’amugamba nti..”Omwana wange nfudde naye mmukulekedde mweraba….”.
“Bwe yamaze okukuba Saidat n’ampita n’ang’amba nti leeta omwana wange,yansabye essimu n’abaako b’akubira era bwe yamaze n’angamba nti omwana tomutwala mu kyalo kyammwe n’ebintu byonna temubitwalayo” Nakafeero bw’anyumya.
Olwo kwe kutambula n’agenda aweesudde akabanga okuva ewa Saidat naye ne yeekuba essasi mu bulago.
Kitaawe wa Saidat,Muzeeyi Muhammed Zole owe Mbale yategeezezza nti “ Yajja n’angamba nti omusajja baakyawagana n’afuna n’omukazi omulala kyokka amulemeddeko.Nze namugumya nga mmanyi tewali kya maanyi kiyinza kubeerawo” Zole eyabadde mu maziga bwe yategeezezza.
Ekiraamo Wambede kyeyalese kigamba:
“Kino ky’ekiraamo kyange era singa wabaawo ekiguddewo nkikoze ntegeera era nga sikakiddwa.Nnina abaana babiri,Ashraf ne Shillat Nabinge.Ebintu byange bye nkoledde emyaka 6 omukazi yabitwala mu ssaawa emu n’andeka mu bwavu obuyitirivu.Tekigasa kumanya oba nze musajja eyamusookerako noolwekyo nze ne b’abadde yafuna ffenna tumufiiriddwa. Poloti zaffe ebbiri, ey’e Kirinya ne Mukono ab’oludda lwange n’olw’omukazi bazigabane. Mbadde sisobola kugumiikiriza mbeera eno naye nze banzaala Mbale ate omukazi bamuzaala Ssembabule.
Published on: Saturday, 9th August, 2008
Email this article to a friend.
KANKUTTE FFENA TUKUFIRWE,LINNO BUBBA OBA NAKYO KIKKA KYA BULWADDE????