Ebisaanyizo by’omusajja buli mukazi gw’ayagala 11 Months, 3 Weeks ago
Ebisaanyizo by’omusajja buli mukazi gw’ayagala
BULI mukazi yandyagadde okubeera n’omusajja amanyi okulaga omukwano era afaayo.
Naye abamu basanga ‘biwaani’ era bwe babeera ne bakazi bannabwe bamanyi okwogera nti Mukama yabagerera bubi.
Abakazi abamu bagamba nti omusajja akola bino wammanga gwe bettanira era oyo gwe baloota okubeera naye mu bulamu.
Afaayo: Omusajja abeera afa ku mwagalwa we tayinza kumala lunaku nga tawulizza ku munne. Waakiri amuweerezaayo ku bubaka ku ssimu okumubuuza embeera gy’alimu.
Wabula abasajja abamu baagufuula muze okusisinkananga bakazi baabwe awaka . Tayinza kuttayo kaseera wakati mu lunaku n’abuuza ku munne embeera gy’alimu.
Agaanira mukazi we: Omuntu ne bw’ayogera ebikankana omusajja alina omukwano tasobola kuva mu mukyala we nga tannawuliriza ludda lwe.
Amugaanira nti tasobola kukola kikyamu wadde ekisasamaza. Kyokka abasajja abamu yeetaaga n’ab’omuliraano oba baganda be ne batandika okwogerera omukazi amafuukuule nga waali oba nga taliiwo.
Ow’engeri eno abakazi baagala kumusanga ng’ayise. Omusajja amanyi omukwano tamala gagendera ku bigambo bya bantu. Era ne bw’azuula nti bituufu, tamala gamwasanguza mu bantu kumuswaza.
Amukulembeza mu buli kimu: Mu bulungi ne mu bubi, omusajja alina omukwano akulembeza mukyala we. Takola kintu wadde okusalawo nga tasoose kwebuuza ku mukyala we.
Mu nsonga ez’enjawulo naddala ezibagatta bombi abeera ajuliza mukyala we. Abamu kino bayinza okuliyita eddogo naye nga mu butuufu gubeera mukwano.
Wabula kino kiba tekitegeeza nti omusajja tateekeddwa kubako ky’agamba, nedda. Omusajja ensonga agireeta mu ddiiro, n’abuuza munne ky’alowooza olwo ne batuuka ku kukkiriziganya.
Amuwagira mu byakola: Enteekateeka n’emirimu gy’omukazi abiwagira n’ensimbi ssaako ebirowoozo. Tamulekerera era takoowa kumuyamba. Omusajja atamanyi mukwano omukazi amuyambako lumu taddamu. Abamu batandika kuwoza nti omukazi bw’omuwa ssente azoonoona bwonoonyi.
Ab’oludda lw’omukazi abawa ekitiibwa: Si muto si mukulu, omusajja ayagala mukazi we assaamu abantu b’ewaabwe ekitiibwa.
Abeerawo mu bulungi ne mu bubi: Munne tamulekerera ne bw’abeera afunye ekizibu kuba kibakwatako bombi.
Re:Ebisaanyizo by’omusajja buli mukazi gw’ayagala 2 Months ago
‘Omusajja omuka mulabira ku birevu’
Olivia ng’attottola ebika by’abasajja.
ABAKAZI baagala abasajja abamalako mu kisaawe era obawulira nga bagamba nti baakoowa bansindikanjake n’abo abatamanyi kubasumulula na kubategekera bulungi kigwo.
Mu mbeera eno, omukazi yenna kati afuba okulaba nga yeetegereza omusajja amukwana naddala enkula ye kye bagamba nti kibayamba obutejjusa nga batuuse okumeggana mu kiggwo ky’abakulu. Olivia Namukosa ow’e Mbuya agamba nti yr alina obubonero kw’alabira omusajja anyumisa ekigwo n’oyo akola amajaani era olwaleero ayagadde abuweeko ne bakazi banne basobole okuwona okutandika omukwano n’abasajja abatamanyi kucanga kapiira. Buno bwe bumu ku bwo:
Ebyooya ku mubiri naddala mu kifuba. Bino
Olivia abirinamu ekyama era agamba nti bw’ogwa ku musajja eyabibaza obulungi, tojula naddala mu budde bw’empewo kubanga bivaamu akabugumu akanyuvu. Agamba nti omusajja afuba okumwetegereza ekifuba ng’akyamudeddereza akakase oba abirina oba nedda.
Ebyooya ebyo naddala nga si bisaakaativu nnyo, bibeera biweweera era omukyala bw’asisinkanya ebisambi bye neby’omusajja alina ebyooya ku mubiri gwonna, talema kuzuukusa busimu. Neby’omu kifuba bw’abiyisaako omukono kiyitirira.