CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema.
#10686
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 951
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Kyokka batabani ba Kisikirize muzze kulema. 2 Months ago  
‘Nnakwagala kwesanyusa si kufuna lubuto’


Nze Hadijah Nakintu.  Nneewuunya omuvubuka eyanfunyisizza olubuto okunneefuulira. Muganzi wange ono, John Baguma, mbadde nsula naye mu muzigo gw’apangisa e Nabweru okumala wiiki bbiri.

Omuvubuka ono omuvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Kamalimali Zooni e Bwaise. Mukwano gwange nfanfe ye yansendera omuvubuka ono. Nnasooka ne ng’aana bwe yang’amba nti omulimu gwe gwa bodaboda, kubanga nkimanyi bakwana nnyo. Naye bwe yansuubiza okumpasa ne mmukkiriza.

Wabula nkyambuuseeko bwe nnamugambye nti ndi lubuto lwa mwezi gumu n’angoba mu nju. Ebintu byange yabisibyeko n’abiteeka ewa landiroodi kyokka nga n’ewa mmange gye nnava sikyasobola kuddayo nga ndi lubuto.

Baguma yampadde 40,000/- nduggyemu, nze kye nnagaanyi kwe kusalawo ne mmuggulako omusango ku poliisi ampe obuyambi.

Olw’okuba ndi musuubuzi, omuvubuka ono yali amanyi nti nnina ssente nnyingi. Kirabika ekigendererwa kye kyali kya kuzinzibako kubanga mu kaseera ke mmaze naye abadde ampeeka ssente, ng’angamba nti tukole ekibiina eky’ababiri mwe tuba tussa ssente buli mwezi oluvannyuma tuggulewo akawunti mu bbanka.

Nnagaana okukikola era ne mmutegeeza nti sirina ssente okuva olwo n’atandika okukyuka.

Yatandika okugenda mu bidongo ng’akomawo bukya ng’atamidde n’asesemera ennyumba yonna, ekyannyiizizza ne muviira olw’obusungu ne ng’enda ewaffe. Kyokka nnagenze okudda nga ku luggi ataddeko kkufulu endala n’ebintu byange ng’ abiterese ewa landiroodi.

“Nze omukazi ono nnali sigenderera kumuwasa, wabula nnali nneesanyusaamu era twegatta naye olunaku lumu lwe nnamukwana lwennyini nga kirabika lwe yafuna olubuto. Wabula yanneesibako n’ayagala okulemera mu maka gange. Nnamutegeerezaawo nti sigenda kumuwasa ekyandeetedde okumugoba,” Baguma bwe yategeezezza poliisi mu busungu obungi.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement