Kw’omanyira akukwana nti musajja mufumbo
OLI muwala anoonya omusajja ow’okufumbirwa? Waliwo obubonero kw’oyinza okulabira omusajja akukwana oba alinayo omukyala omulala mu maka ng’ate tayagala bufumbo bwe kufa.
Tekimwetaagisa kukubuulira kino wabula soma obubonero buno:
Bw’omulaba ng’ayagala musisinkane misana kwokka ate mu nnaku za kukola ng’omanya eka alina abatamukkiriza kuddayo nga bukunidde.
Omusajja omufumbo ow’obuvunaanyizibwa bw’omusaba okusisinkana akawungeezi, oba ku wiikendi kizibu okukikkiriza era awo ateekawo ebyekwaaso bingi. Omusajja akwagala nga si mufumbo yeewaayo okukulaba buli w’omwetaagira.
Ne bwe kuba kukukubira ssimu akikola misana wakati w’essaawa bbiri ez’oku makya okutuuka ku 11 ez’olweggulo nga tannannyuka. Ate takozesa ssimu ye. Naawe takukkiriza kumukubira, ayagala y’aba akukubira si kulwa ng’omutabulira amaka.
Ekirala, omusajja omufumbo bw’omusaba okukyalako ewuwo akawungeezi takkiriza kuba oyinza okumulwisa, n’adda eka nga bamuli bubi.
Mu ngeri y’emu takukkiriza kukyala wuwe.
Bw’olaba ng’abuguutana mu by’okunyumya akaboozi ng’omanya yandiba omufumbo. Ayagala ebintu mubirye mu bwangu adde mangu eka. Omuntu ng’ali ne gw’ayagala, era nga tewali buzibu bwonna, munne amuwa obudde.
Ekirala, omusajja omufumbo bwe mumala okunyumya akaboozi ky’asooka okukubuuza nga musiibulagana, “tukaddamu ddi?” Ekitegeeza nti ggwe akwagalako bisoobooza naye omukwano alina gy’agutwala.
Bw’omusaba okukula mikwano gye oba abeng’anda, assaawo obusongasonga. Kino akikola kuba atya muyinza okuvaamu ategeeza mukyala we. Bw’oba onoonya bufumbo, ono muleke baamwekwata dda!
mhhhhhhh Kyokka L...I....F...E