NZIKIRIZZA nti ddala nvuyizza mu bintu by’omukwano. Okuva lwe nnaganza omwana ne nnyina, nsazeewo omukwano okusooka nguwummule.
Nze Samuel Ssemwanga mbeera Wakiso. Omulimu gwe nkola gwa kuvuga mmotoka era ngumazeemu ebbanga.
Lumu mba nva ku lugendo, ne nsisinkana omukyala eyannyimiriza n’ansaba mmutwaleko e Kampala, nange ne nzikiriza.
Bwe twatuuka mu kibuga olw’okuba ng’obudde bwali bugenze, yanneegayirira mmutuuse ewuwe e Nateete. Yafuba nnyo okunsikiriza okuyingira mu nnyumba era n’ampa obugenyi obwangungu.
Yasigaza n’ennamba y’essimu yange era yageranga n’ankubirako okumbuuzaako. Eno y’eyali entandikwa y’omukwano gwaffe ogwali omuzito.
Nnamukyaliranga mu biseera byange ebyeddembe naddala ku wiikendi ne ndya ku byassava.
Wabula olumu bwe nnagenda okumulabako, nnasangawo omuwala era nnagenda okumwekkaanya nga ye maama w’omwana wange omubereberye.
Yamunnyanjulira mangu nga muwala we, omwana wa mukulu we. Nnafa ekitiibwa kubanga omwana waffe yali akuze era nga nze mbeera naye.
Ku ssaawa eyo nnasiibulirawo wadde nga nnali nteekeddwa okusula ewuwe.
Ye omukyala teyamanya kyali kintuusizza mu mbeera eno era yankubira essimu ng’ampita kyokka nga buli kiseera nfuna kye nneekwasa era omukwano gwakoma awo nga ntya okwemuka n’okulwala obuko.