CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Munno muwaneko
#4234
luutu26 (User)
Expert Forum Member
Posts: 483
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male KAZIBWE2 www.celebafrica.net
Munno muwaneko 1 Year, 1 Month ago  
Laavu okukunyumira gisseemu obugambo obuwoomu



LAAVU okubanyumira yeetaagamu obugambo obuwoomu, ng’owaana munno.



Munno mugambeko nti; ddaali buli lwe nkulabako omubiri gunsusukirira. Kino kitegeeza nti buli lw’olaba omwagalawo obanga akubiddwa amasannyalaze.



Oyinza okumugamba nti swiiti onsula ku mutima nga lufuba. Ekitegeeza nti buli w’obeera oba olowooza ye.



Muwaaneko nti mukwano oli kasonsomolera ng’eriggwa ly’ettovu, ekitegeeza nti omukwano guntuuka ku busomyo!



Oli nnantalabikalabika ng’ekimuli ky’endagu. Wano oba omugamba nti wa njawulo nnyo ku balala era by’akola abalina yekka.



Musuuteeko nti laavu, nkukutuka butimpa butadda mu ssasa. Ekitegeegezza nti weemalidde ku ye obulamu bwo bwonna.

Munno muwembejje nga bwe yakula obulungi. Amaaso ge ga bwe galigita mu kiwanga.



Oli kisiikirize kyange, buli we mbeera mba nkulaba. Muyiteko Kabirinnange wo. Omugambe nti buli lwabulawo n’emmere tekugendera oba tekuwoomera.



Oba mugambe nti nkwagala ng’awava erinnyo kubanga buli kiseera olulimi we lubeera.



Obugambo nga buno bw’obukozesa nga munyunya akaboozi, nako kagenda bukwakku.



Mwefeeko kubanga laavu yeetaagamu ebisoko okubanyumira n’olwekyo muve mu kwekwatakwata.



Ate abasajja muleke kulekerera bakazi bokka naye nammwe muwaaneeko bannammwe.



Bw’ova ku byange genda ku wa ngatto.

Mu bugambo obulala mulimu onsula mitwetwe nga mutwalo, oba nkwagala bisoko n’ebirala.



Wabula abaagalana mwegendereze nnyo. Abamu bakozesa obugambo buno nga tebabuggya ku ntobo ya mitima gyabwe naye nga balina kye baagala okukubbako, bambi bw’obuwulira n’osula ng’okukunadde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4242
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Munno muwaneko 1 Year, 1 Month ago  
Ekisembyeyo kyekyandisoose. Yogeera ebintu ebiri ku mutima gwo. Tofuuka mulimba , mbu nantalabikalabika, era ku ggwe kwensibidde, sirya mmeere, enkya nebakukwata nomulala. Manya oleteera omuntu ono okujja obwesige mu mukwano ne mu bantu. Byotoyogedde tebajja kubikukwatira musango. Nze mmamnyi abantu bangi abatayagala kwatula kigambo nti nkwagala. Era edda E Kyadondo bwekyaali, vva ku guno omulembe gu twejje emize. Nga okugamba muzadde wo nti nkwagala nnyo, obanga agambye nti eggulu lya bululu, era nga bayinza nokulowooza nti ogudde eddalu. Nga abakwagala bakulaga bulazi. Naye lwabanga olwo omulenzi nakyatula, kale nga kiba kya muwendo, era nga kijjira mu emotional charge yamaanyi. Awo wewalabiranga nomusajja nga akaaba. Nze ngamba nti temudiibuda bigambo, mwogere ebyo byokka ebibali ku mutima, biryoke bibeere nga birina amakulu. Luliba olwo nga nebineene mubyetaaze, bwemuti mugenda kubisanga nga bigasa.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement