Re:Ofuuka Otya Nnakinku Mu Kunyumya Akaboozi? 1 Year ago
Otyo, kati awo olaba Kaliba nti yye Walukagga ayagala obuddo nga butototo, ayagala busonda bwokka, ayagala kupacca, nolwekyo alabika muzannyi wa nguuvu, ate yekakasa mu busobozi bwokutereza munne.
Ate yye Mumbejja tayogera bingi, tayagala kyeejo, takolagana nabantu batazza mukwano, era agamba nti lya nange ndya ye mboozi egenda.
Kyetuyiga kiruwa? Buli muntu alina engeri ze. Nabayimbi, nabawandiisi, oba bakubi ba bifaananyi, yadde abasawo neba engineers buli omu alina style ye. Okuyiga enkola yamunno kyekiyinza okubayamba okukolera awamu obulungi. Oluusi omuntu ajja kusanga munne nga style zaabwe zigendana. Ensonga ssi yakwenkana, oba kuba baamu, yakutuukana. Abalala mukwano gwa mulimu gwaabwe, oba ogwa munnaabwe ono bwebakola naye, gwegujja omukulembera mu kulaba webakwataganira. Kale abantu baleme kweetya nti oba ono omuwanvu oba ono mumpi, oba ono munene oba ono mutono nakibi ebyo, buli omu waliwo amugenderako, bwebatuukana, naddala nga omukwano weguli okubalaga ekkubo.