Leeta obuwumbi 2 olye embuzi yange’
Fico
ONO omuwala muka! Asabye omusajja ayagala okulya embuzi ye amuwe ssente za Euro 700,000 (eza wano 2,900,000,000).
Raffaele Fico 20, y’omu ku baali mu nju ya Big Brother mu Yitale. “Ennaku zino bawala bameka ab’emyaka gyange boyinza okusanga nga balina embuzi? Nange guno gwe mukisa gwe nfunye.
Bino yabyogedde yeekubisa ebifaananyi eby’okwolesa mu butabo bwa Yitale.
Agamba nti ssinga afuna ssente zino zijja kumuyamba okugulako ennyumba n’okweyongera okusoma.
“Nze simanyi kaboozi bwe kawooma. Wabula omusajja amala kwekakasa, bwe namutunulira nga tankuba nja kumulekawo nneenywere kawayini kange,” Fico bwe yagasseeko.
Mwannyina w’omuwala ono yagambye nti akakasa nti mwannyina tanyumyanga ku kaboozi kubanga Mukatoliki mukuukuutivu era buli ku makya akeera kusoma ssaala.
Wabula Fico si yasoose okukola ekintu kino. Omwaka guno, omuwala Omumerika ow’emyaka 18, Ntalie Dylan eyali asoma mu San Diego yasaba pawundi 1,000,000 eri omusajja anaalya embuzi ye.
Ne Carys Copestake omuyizi mu Manchester yunivasite yakikola.
Mhhhhh wonders never cease to happen,nze singa eyange yali tekutudde nange nandigitadeko obukwakulizo nga bunno naye maama "engo" zaginsona..ohhh that goattttttttttttttt
