CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:POPPING THE QUESTION (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:POPPING THE QUESTION
#8274
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Idea ki zolina kungeri ye bikolwa oba ebigambo ngooli asaba munne obufumbo obutukuvu?.



Kati kino okusinga abaami bebanasinga okukyanukula naye osanga eriyo nabakyaala abalina ebirowoozo kungeri ki omwaami gyalina okusaba oba okukola. Nze kulwange ebikolwa byebiteekwa okuba nga bikwatagana nebigambo oli sikugamba kirala ate nomusanga nga kola kirala.

Ekikulu ekisooka mulina kusooka kweewa bbanga limala nemumala okwetegerangana nemumanyigana buli omu akaze nemusalawo okugenda ku level yokusaba okuba abafumbo.

Wano toyagala bya bampane kuyingiramu kuba kasita bakolerako bampaane banamala okuvaayo ngekifananyi kye kyaali nga kivaayo ngobuyisayisa obuvundu bwonna butandika okweyoleka nga webuuza nekyewalaba kumuntu oyo, kale omuntu bwooba omaze okumusoma munda newabweeru buli kigwaawo oba okimanyiiko ,oba wakirinda dda kasita takugamba kutegeka ssowaani kiro naye nga mu ffumbiro teri kanyooka nga lina kufulumako wabweeru aleeta eteri nnamule. Kale wegendereze gwogenda okufumbirwa oba okuwasa oyinza okwesanga nga temuliridde maluma. Embulirire tefa yonna
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8282
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1415
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Nze ndowooza kirungi omuntu okubeera creative olunaku luno nalwo neluyimiriira nga lwa njawulo mu bulamu bwo, munno lweyakugamba nti muve mu byokubeera abomukwano kati mufuuke ba luganda. Katugambe munno oyinza okumuwa akarabo, oyinza okugulayo champagne, ne mbizzi ku mudaala gwa wesonga katugambe, nosiika, oba nenyama endala. Notegeka dinner eriko candles ne bimuli, nolyoka munno omukuba ekibuuzo mu atmosphere ennungi ddala, ate awo nolaba. Bwooba answer ye togyekakasa, mulinde asooke atamire mu katono.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#8288
Omussese (User)
Baby Forum Member
Posts: 12
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Nze sijja kwekwaata musobooza, How about a simple “Your place or mine and then see where it leads to”
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#8333
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Mussese njagala okulowooza nti tukyaali kumulamwa gwegumu ogwokusuulawo akabuuzo kali mu ddiiro ,kati kyesitegedde oba gwe kyoyogerako oba oyagala kusooka kuloza ku byamaguzi byotonasasula,
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#8334
Omussese (User)
Baby Forum Member
Posts: 12
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Ssebo Omumbejja,

Ennaku zino buli kimu bakigula mu Supermarket, how else would you be sure that its God’s own handiwork?



Okwekengera si buti!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#8337
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:POPPING THE QUESTION 10 Months, 3 Weeks ago  
Naye nze njagala nnyo okubeera romantic, era bwemba nga ndaba munnange akabuuzo takaleetawo, ssonoona bisera nga nze nkaletawo. Naye ndowooza okufukamira kuli clinche, nokwetegeka ennyo sikuwagidde. Naye mbeera nakyo muli munda ppaka enkuba lwelitukwata nga tuli ffenna, kale awo nga etandise tudduka okweggama, wemmusikira omukono nga nnyimiridde, nemmugamba nti yye owange, okkiriziganya nange, tusalenga amakubo ffembi bulijjo ne mumyaka 80 egijja?
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement