CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA?????
#9013
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1414
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 3 Weeks ago  
http://www.youtube.com/watch?v=mpyqN7vp0k4



Waliwo ekintu ndowooza bakiyita economy, ekyakozesebwanga edda olwo kwaaza abantu, nga abasajja babeera nabakazi bangi, buli kakisa kokuzaala nekakozesebwa. Naye ne mundagaano enkadde yenyini emirundi egiwera Mukama yakyuusa ebintu nebiragiro bye eri abantu be. Mu kuzaalibwa abaana abalenzi bebasinga okuzaliwa abangi, naye bebasinga okufa nga bato. Mu nsi ezirabirira abantu baazo obulungi, abaana tebakyafa nnyo, era osanga nga omuwendo gwa bawala nabalenzi mu bitundu ebimu gwegumu. Nga ojjeeko ekyo, mu ndagaano empya kyafuluma bulungi nti omusajja omu, omukazi omu. Kati ebyokudda emabega kubeera kusinga Mukama kuteesa. Abantu abali ababiri bwebagalana, omuyeeye ssi bwegukkunganira awamu nebagala omuntu omu, awo muba mutuuseku buli omu kunoonya wo ssowaani ya mmeere. Ayagala okwagalibwa ayagala omu omu. Ayagala olwokaano okola farm nga Abdu Mulaasi, oba ogenda notwala eyiye nnawulira yagiddukamu! Anti yakizuula nti kkumi terikyaawa omu era kizibu lyonna okumwagala.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#9018
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 3 Weeks ago  
Wama Rambuka oteseza,ebintu obitegela,bwekiba kyetagisa ate lwaki nedda.Akanya kuguma masajja nga kyo kitinta.Abakazi bo nga baguma ate nga omusayi fena tulina mumyufu?Tekantandanga nenkiziga nti kyetagisa.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9059
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 259
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 3 Weeks ago  
robster wrote:

QUOTE:
HHHHHHHHHH Tonto bwoba nga okiriliza mu ddini mwenzikiliriza njagala obulire bino,mukulowoozakwo abawandiika baibuli lwaki batulaga nga emisingi gyabantu kwetwesigamiza okukiliza kwafe balina abakazi abasuka mwomu? okujako nga omutonzi naye yakiliza enkyukakyuka! ibrahim, nekassekabaka bonna abali mu ndagano enkadde ndayo eyalina omukyala omu!!!!

mpozi yozefu naye gendako nemumpya olabe! awo wenkubuliza bwoba wesigama kumutonzi mba sikutegedde, nga nvedde kwebyo era omutonzi yomu yatonda naye lwaki atondanyo ekika kyabantu ekimu( ABAKYALA) nebasinga kubami nakyo kinonyereze olabe.

naye neyanziza ekwatayo eyebintu.




Abakyala okulabika nga bangi okusinga abasajja ndowooza kiri kityo olwokuba abasajja bebasinga okufa okusinga abakyala, mu accidents, mu ntalo, era nemubulamu obwabulijjo. Bwogendako mu bakadde jebabakuumira, ojja kusanga nga abasinga obungi (9 ku 10) bakazi.



Mu Bible tosangamu verse, ekugamba nti wasa abakazi abasukka mwomu, okujjako nga gwobadde naye amaze kufa. In fact, bwofuna omukazi naddala nga mwembi muli bakristayo, omukazi oyo aba akumalira buli kimu obutajulira, era aba akkukkiririzaamu mubuli kyomugamba. (Soma Genesis 31:4-17).



Abantu abali mu Bible tewali njawulo nawe oba nange. Ffenna ffe bamu. Bible egamba nti "tewali mulongofu". Ffenna tusobya. Enjawuli eriwo eri nti abantu ba Christ bwebasobya, Jesus abasonyiwa. Abatali ba Christ bwebasobya, ebibi byebasobya bibetuumako. Tebafuna kusonyiyibwa, kuba ekyo tebakikkiriza nti kisoboka. Kyebava tebakkiriza Jesus Christ.



Omuntu bwamenya enju nabbamu ebintu, ekyo tekitegeeza nti okubba ssi bumenyi bwamateeka. Oba bwotta omuntu tekitegeeza nti obutemu ssi bumenyi bwamateeka. Mungeri yeemu, eriyo abatakkiriza nti Katonda jaali, nti ne Jesus Christ omwana we, yatusonyiwa ebibi. Naye obutakiriza bwabwe tekijjaawo Katonda ne Jesus Christ kubeerawo.



Abantu abali mu Bible olwokuwasa abakazi abasukka mwomu tekijjaawo tteeka lya Katonda lyakuwasa mukazi omu.



Bwomenya amateeka ga Katonda ofuna ekizibu. Lwali lumu Bathsheba muka Uriah yali anaaba ng'ali buswa, Kabaka David namulengera, era namwegomba. Yamutumya era neyebaka naye. Ebyaddirira bisome mu 2 Samuel 11:2-27



Ate obuzibu Kabaka David bweyafuna olwokwagala muk'omusajja, n'okutta Uriah bba wa Bathsheba, busome mu 2 Samuel 12:1-19



Bible etulaga abantu mu "real life", engeri jetweyisaamu. Bible eraga ekyokulabirako mu bantu nga ffe fenyini. Ate Bible netulaga nti bwetusobya netwenenya, Jesus Christ waali okutusonyiwa ffe abakkiriza.



Nolwekyo tugobere ebirungi abantu abali mu Bible byebaakola, era tuleke ensobi zebaakola. Oyinza okusoma story ya Jonah ekyenyanja gwekyamira olwokujemera Katonda nga amutumye e Nineveh. Era ojja kulaba nga bweyenenya, Katonda yamusomuwa amangu ago, ekyenyanja nekimusesema kulukalu (Jonah chapters 1 ne 2).



Abraham teyawasa bakazi basukka mu omu. Yalina omukazi omu yekka Sarai (Sarah). Bafumbiriganwa nga Abraham alina emyaka 40, ate Sarai yalina 25. Abantu bano batulaga ekifananyi ekituufu abafumbo nga bwebandibadde. Tekitegeeza nti Ibrahim teyasobya. Ffena tusobya. Bwe baweza emyaka 90 (Abraham) ne Sarah 75 nebalyooka bafuna omwana wabwe omubereberye - Isaac. Ekyo kitulaga okwagalana nga bwekuwangula ebizibu byonna, omuli n'obutazaala. (Wabula Abrahim yafuna Ishmael - naye eyo nayo story ndala). Kunkomerero yabyonna, bulijjo Katonda teyerabira bantube.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9088
robster (User)
Expert Forum Member
Posts: 393
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 2 Weeks ago  
mukwano waliwo wenzikiliziganyiza nawe naye ate awamu twawukana mundoowoza, bwongamba ntu mu bibuli tugyemu byamugaso byokka ebilala tubibuuse amaso!!!hhhhhhhhhh olwo lwaki babiwandika! soma basekabaka ekisoka ne kyokubiri olabe!

naye nga tuvudde mudini ngatuli mubulamu obwabuligyo nze siyinza kuwasa mukyala asukka mwomu naye nga bwoba olabye waliwo benzikiliza bakikole, omusayi omugagga ,omugezi, omuvumbuzi, nemirala gye tabule!akayimba simanyi oba wali okawulideko akagamba mbu ABASAJJA BAZALEKO EBWERU! kanonye owulire omukyala oyo bweyasengeka ensongaze.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9091
kapakiti (User)
Baby Forum Member
Posts: 25
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 2 Weeks ago  
Mwenna mwogerera ddala ngabali mu west era ensonga zammwe nzitegeera. Singa mwabeerako ku kyalo ewaffe mwandikitegedde nti omusajja okugattika kisinziira ku mbeera. Ewaffe klu kyalo kwaliko omwami omugagga naye yalina abakazi bataano ate era nga buli muzadde gw'ayagaliza omwana we kuba yali abalabirira bulungi songa abo abaalinanga omu ng'oluusi basula amaliba. Ebulaaya tewetaaga bakyala baasukka mu omu kuba buli omu asobola okwefaako. Wadde love kabulangana love naye love eyekyaavu ekatuuka nga kyayi okutali sukaali kyenva ngamba nti omwami alina abasukka mu omu nga basanyufu asinga owoomu omuyongobevu kaabe ne love eyekmimemmette. Ebya bible sibitegeera kuba Solomon yalina abasukka mu lukumi. Yo koran egamba tosussa mu bana naye abana batene???
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9153
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:NAYE OMUSAJJA YETAAGA OKUGATTA????? 8 Months, 1 Week ago  
Baze yagenda ku kyeyo sikyamuwuliza



Nakitende.



OMUSAJJA yagenda ku kyeyo n’anneerabira. Nnali simanyi nti ndituuka mu mbeera y’abaana okumbuuza kitaabwe nga simanyi kya kubaddamu. Nze Asha Nakitende, mbeera Makindye.



Nnali wa mukisakubanga nafuna mangu munnange ne tutandika amaka. Yali musuubuzi era gwe mulimu omwavanga ssente ezaatulabiriranga.Wabula wakati w’omwaka oguwedde yang’amba nga bw’apanze n’afuna ebiwandiiko ebimukkiriza okugenda e Bulaaya okukuba ekyeyo. Kino kyansanyusa bya nsusso kubanga nnali ndaba nga ssente z’anaafuna zijja kuba zeegasa tusobole okwezimba.



Mu August 2007, yasitula n’agenda n’andeka mu muzigo n’abaana baffe babiri, kyokka ng’asuubizza okumpeereza ssente mu bwangu . Yasooka n’ankubirako mu wiiki eyasooka nga yaakagenda n’antegeeza nga bwe yali atuuse obulungi kyokka nga tannafuna mulimu.



Wabula mu bbanga ttono poliisi yajja ewaffe ng’emumbuuza. Kuno kwegattibwako mikwano gye be yakolanga nabo nga bagamba nti yababbako ebintu byabwe.



Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga yaddamu n’ankubira ng’antegeeza ng’emirimu bwe giri emizibu ennyo nti y’ensonga lwaki abadde tankubirako wadde okumpeereza ssnete.



Landiroodi yasooka n’ang’umiikiriza kubanga yali akitegeddeko nti munnange yagenda kunoonya nsimbi.Wabula bwe gyawera emyezi omukaaga nga simusasudde n’angoba mu nnyumba.



Nnabirowooza ne binnemerera kubanga mu butuufu nga ntandikira wa n’abaana ababiri abalamba! Bwe ntyo nnasalawo okudda ewa maama anti nga bwe nnoonya ekyokukola.







EBIZIBU BINGI NYOO MUNSI MUNNO,OBA BAMBI MUSAJJA WATTU BAMUSIBA???
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement