Balungi banange mwena akyakuuma?Kansubiile nti mwena mukyali Best.Nafe eno Lugaba abadde akayakuma
mpozi wabaddewo ensonga ekyanemye okutegera era nga mbadde nsaba buyambi kuva gyemuli.
Ensonga eri nti,Muby'obuwangwa bya Buganda Kizibwe wo tokilizibwa kumukwata KISEEKE bwaba nga mukazi
nga gwe oli musajja era no mukazi naye bwatyo.
Era bwenzijukilaamu edda bwetwabanga mu nyimbe nga abatusingako tebakiliiza tulinanaganye nsisira.Nasigala nebuuza era naguuno gwaaka nkyakyebuza lwaki mu Baganda kiziila.
Wano we mbadde nkubiila omulanga guno amanyi ensonga anyambe anyinyonyoole kuba mbuliddwa antangaza .Nasanyuuka nnyo bwewanabaawo omuzila kiisa anabaako kyantangaza ku nsonga eno.
Re:AKIMANYI ANYAMBE!!!!!!!!! 5 Months, 3 Weeks ago
Sifangayo kubuuza kintu ekyo wabula nateebereza buteebereza nange ne nkitwalira awo. Bw'ogenda okwekkeneenya ennyo ojja kwesanga nga kizibwe wo ye muntu akulinako akakwate akatono. Era nga abeera wa kika kirara olwokuba temweddira muziro gumu. wano nsuubira nti kyandikubeeredde kyangu okumuggyamu ekyeso awatali kwekeka nti wa lulyo lwo. Oluusi wesanga nga era tewatera kubaawo age gap yamanyi kuba mwana wa sengaawo. Abaganda okwewala okugezaako mmwe okwenyonyogera singa musisinkana mu kafunda kwe kugamba nti kizira okumukwata mu kiseke kuba baakimanya nti mukiseke mulimu engeri yobusimu obuyinza okuzaala akabasa singa okikwatamu.
Re:AKIMANYI ANYAMBE!!!!!!!!! 5 Months, 3 Weeks ago
Kapakati nze ndowooza oli mutuufu nnyo!
Mpozi omuntu yenna ayinza okubuuza nti kizibwe y'ani? Kizibwe ye 'kkazini' oba 'cousin' Kituufu mu mawanga amala, ba 'kkazini' bewasa, naye si mu Buganda.
[i]Many of life\'s circumstances are created by three basic choices: the disciplines you choose to keep, the people you choose to be with; and, the laws you choose to obey]
The administrator has disabled public write access.