‘Bwe musiba omwami wange ani anaambikka?’
MUSITAFA Luswata ow’e Kajjansi Zooni A alula. Bamukutte abba enkoko za Abby Kisaakye ow’omu Lumuli Zooni ku ssaawa mwenda ez’ekiro ne bamukwata ne bamukuba emiggo katono kumumiza musu.
Baabadde baleeta amafuta bamwokye poliisi ennawunyi we yatuukidde n’emutaasa. Yatwaliddwa ku poliisi y’e Kajjansi n’aggulwako ogw’obubbi ku fayiro SD: 11/14/10/2008 ng’eno mukazi we bw’akuba emiranga nti ‘mutwala omwami wange okumusiba ani anaambikka?’
ELA KYENKANA ABADDE TALINA AMUBIKKA;GWE SAWA MWENDA OGWEKIRO NGA OLI ALI MUBUBBI