Dr.Samson Kisekka yali musajja mekeete..Ebimu ku bigambo bye ebitagenda kwerabirwa
l Nze sirina budde bulwala,ebiseera ebisinga mbimala nkola” ku kitanda e Mulago nga tebannamutwala Bungereza okumujjanjaba.
l Kale mmwe abaavu, abatasobola na kwegulira kyakulya, ate muwe nze alina ente.Yiiyo n’obulwadde ndwadde, ejja kulwaza ezange, mugizzeeyo”; Yali agamba abalimi b’e Luweero abaamutonera ente ng’abakyalidde mu biseera ng’akyali Katikkiro.
l Simanyi lwaki omukulembeze yandibadde yeeremeza mu buyinza ng’abantu bamukooye! Yandibadde afugako katono n’agenda. Ku bafuzi abeeremeza mu buyinza.
l Abantu abamu abamu okumanya muli bagayaavu, n’ekkovu libasinga kuba lyo buli we litambulira lirekawo omukululo naye mmwe mu nsi mujja kuyitamu mutyo nga tewali abategedde nti mwaliyo. Yali nga ku pulogulaamu ye Ebifa mu woofisi ya Katikkiro ku Radio Uganda g’abuulirira abavubuka okukola.
l Kye nsabirira kiri kimu baleme kunnongooseza wano e Mulago kuba tewali bikozesebwa bimala kukola mulimu ogwo. Njagala ku ntwala Bungereza” ku kitanda e Mulago ng’alumizibwa.
l Abawakanya Museveni mulabika okuba n’ekikyamu ku mutwe. Omusajja eyabaddiza Obwakabaka ate munoonya ki? E Kololo mu kampeyini za Pulezidenti eza 1996.
Akokubiiri kanyumidde nyoo omukulu yalinaokudula okwali "classic".