CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Zibasanze abatasigga nsiggo,balinde amakungula. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Zibasanze abatasigga nsiggo,balinde amakungula.
#11057
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 998
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Zibasanze abatasigga nsiggo,balinde amakungula. 1 Month, 3 Weeks ago  
‘Abakaayanira ebyobugagga bya baze bibalemye olw’akalippo ke yabatega’


OMUGENZI Francis Muwonge olwafa ne wabalukawo okusika omuguwa ku byobugagga bye wakati w’abooluganda ne Nnamwandu Sarah Nkonge. Kkooti ye yasazeewo eggoye era Nnamwandu Sarah attottoledde MadIinah sebyala by’ayiseemu n’engeri bba gye yatebuka abooluganda n’abatega akalippo!

Nali simanyi nti abantu bakwagala ofudde, era abafumbo mulina okwenyweza kuba omufu alina ke yeekoledde wadde alaamye oba talaamye bw’afa aleka ekika kyeyawuddemu olw’omululu gw’ebyobugagga by’alese nga babikaayanira.

Baze bwe yafa abantu abamu ku ludda lwe baagufuula mugano kuba bwe yali yaakafa amaziga baagassa ku bbali ne batandikirawo okunjogerera amafuukuule. Olaba baatuuka n’okugamba nti baze afudde siri mu maka ate nga ne mu kumujjanjaba nze namutwala e South Afrika, wabula Mukama n’agaana n’atawona .

Baze yali akyali mu ddiiro ne bayiiya obukodyo bw’okuntwalako ebyobugagga, n’okwagala okuwamba omwana wange omuggalanda.

Kino kyampa obuvumu era bwe namala okuziika nafungiza ne nnindirira buli ekijja. Amangu ddala baagenda mu kkooti n’esalawo okunnyimiriza okuddukanya ebyobugagga bya baze nga beekwasa nti ekiraamo kye yakola ekyasembayo tekyali kituufu kuba kyali kikontana n’ekikadde kye yawaako balooya ab’enjawulo.

Kino kyansaanuula nange kwe kutandikirawo okwerwanako ng’omukazi omubangufu kyokka nga ndowooza gye tuvudde n’omwami wange emyaka egisoba mu 20 ng’ebintu byonna by’agula tubissa mu mannya gaffe ffembi. Ekiseera kkooti we yassiza envumbo ku byobugagga mbadde ndowooza ku kufa kwa baze ate n’ebyobugaga bye tukoleredde ebbanga ne baze nga kwe batadde n’okunjigganya! Lumu banzibako emmotoka yange nga balowooza nti mwe ntereka ebiwandiiko kwe twagulira ebyobugagga byaffe. Eky’omukisa tebalina kiwandiiko kye baasangamu era kwe kugikomyawo.

Okussa envumbo ku byobugagga nange kwe nasinziira okugenda nneewozeeko mu kkooti. Kyokka okumanya ndi mazzi mawanvu ate nga mmanyi okugawugiramu, nagula balooya ba Bbuule and Mayiga Co. Advocates ne bawoza omusango era okukkakkana nga nguwuuse buva.

Kino kyaliwo kuba omwami wange yalengerera wala anti ebyobugagga byaffe byonna yaleka abiwandiisizza mu kkampuni eya ‘Kampala Secondary School Ltd’ era ng’azze okuwaaba asooka kumogolako by’akaayanira, ekintu ekitasoboka kubanga toyinza kwawula na kuggya kintu kyonna mu kkampuni emaze okwewandiisa.

Mu byobugagga bya kkampuni eno mulimu essomero lya Kampala Secondary ku luguudo lwa Mwanga, Kampala Modern, n’ebizimbe ebirala bibiri ebyetoolodde ku luguudo lwa Nasser nga kati bipangisibwa, ennyumba z’abapangisa 2 ku luguudo lwa Old Kampala kati omusula aba UPDF.

Kuliko n’amasomero omuli St Francis College Buloba erikyazimbibwa nga lyakutandika mwaka gujja (balibbuddemu omugenzi Muwonge nga liri ku yiika z’ettaka 8), erya Modern e Jinja ku yiika 4 , Masaka Green Hill ku yiika 2, ne Mbiriizi Modern ku yiika 5.

Mulimu ebizimbe ebirala bisatu e Jinja ku Main Street, Oboja ne Catch Road nga mulimu abapangisa ba bizineesi ez’enjawulo. Waliwo ennyumba e Makindye eri ku ttaka lya kitundu kya yiika, ettaka mu Ndeeba lya yiika emu , e Mukono waliyo yiika 4, yiika 7 z’ekibanja e Nanganda Gaba, yiika emu n’ekitundu e Kajjansi ssaako ebyapa by’ettaka e Mityana, Luweero, Ntinda, Nansana, Busunju, n’ebitundu ebirala ebiweza ebyapa 50.

Baze yalengera wala bino byonna n’abiwandiisa mu kkampuni mu mannya gaffe ffembi ng’akyali mulamu. Buli kye twagula nga nze nkanya kutereka lisiiti era zonna nzirina ne mu kkooti abalamuzi lisiiti ze zimu ku bye beesigamyeko nga basala omusango. Mu kiraamo baze yalaga nti alese abaana musanvu, abange mukaaga omulenzi omu n’abawala 5 n’omulala omulenzi gwe yali yandaga era bonna balina okufuna ku migabo gy’omu kkampuni era nga nze nnamwandu omutuufu era omukyala ow’empeta. Abatayogeddwaako mu kiraamo banuune ku vvu.

Olumbe lwayabizibwa era omusika ye Hampfrey Muwonge. Naluyisa mu mitendera okuviira ddala ku mukulu w’ekika Nsamba ne Katikkiro we era bonna baaliwo mu lumbe. Wabula ng’etteeka ly’obusika bwe ligamba nti nnamwandu ateekeddwa okuddukanya ebintu bya bba nga bw’alabirira n’abantu omugenzi be yali alabirira, nange kino ng’enda kukitwala mu maaso ndabirire abantu baze b’abadde ayamba.







Published on: Saturday, 15th November, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement