CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA.............. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA..............
#9108
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA................. 8 Months, 2 Weeks ago  
MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA BAKUMIRA BWEREERE



Omuliro mu Kampala



Bya Semei Wessaali ne ibrahim kisuule

Amasundiro g’amafuta,omugotteko gw’emmotoka n’obutamanya bw’abantu bigenda kwokya ekibuga OMAZE bbanga ki ng’okolerera emmotoka yo eyo ennungi, ennyumba yo oba bizinensi yo etandise okukuwa essanyu n’okukuliisa ku birungi? Obadde okimanyi nti y’egenda okuddako okuggya omuliro?



Wali okirowoozezzaako nti takisi eyo gy’olinnye olwaleero oyinza obutagivaamu, ng’eyidde omuliro naawe n’ogenderamu? Omuliro ogwasse abaana 20 aba Budo Junior wiiki ewedde tegukuli wala.



Era ekibuga Kampala kyonna nakyo kyangu okwaka ne kisirikka. Amasundiro g’amafuta, obulippagano bw’emmotoka, omugotteko gw’amayumba n’obulagajjavu bw’abantu byonna lumu bijja kwegatta bitukole ogwa walugali.



Amasundiro g’amafuta gasaasaanye wonna mu Kampala. Ku luguudo lwa Kampala Road, kuliko mukaaga, Johnston limu, Market Street, limu, Ben Kiwanuka nga tannaba kwegatta ku William, kuliko asatu.



Ku lwa Namirembe, limu, Kyaggwe kuliko abiri, William nga tannayunga ku Bombo, kuliko abiri, William, abiri ne Nakivubo Channel kuliko limu. Omugatte, mu kibuga wakati waliwo amasundiro 20 nga tobaze nguudo nga Namuwongo n’ekibangirizi ky’amakolero eri ddipo.



Ku bbomu y’amasundiro gano erinda okutegulwa, gattako eky’ebizimbe ebisituddwa mu Kampala nga temuli yadde akuuma akataakiriza ku muliro ssaako n’ekibuga ekitali ku ppulaani kuba we twogerera ng’emidumu omwandiyise amazzi ssinga wabaawo akabenje gyazibikira dda.



Mu mbeera ey’obwerende bw’eti, wandisuubidde nti Poliisi eri bulindaala era erindirira ffirimbi yokka okujja okutaasa. Guno nno si bwe guli, poliisi yazinga dda emikono ku nsonga eno era erindirira kimu abantu bamale okufa, eyoole evvu, etandike okubuuliriza!.



Mw. Lawrence Adima , akulira ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku muliro agamba nti ebbula ly’ensimbi eribalemesezza okugula ebyetaagisa, lye libafaananya ng’abatalumirirwa naye nga bakwatibwako kyenkanyi; Ku kitebe, tulinawo ebimotoka ebizikiza omuliro bisatu byokka, eby’amazzi bibiri, tetulina bimotoka bizikiza muliro mu bizimbe ebiwanvu.



Ekyaliwo kyakoma okukola mu 1983 kati kyafa dda. Mu kiseera kino, ku disitulikiti 81 ze tulina, mukaaga zokka ze zirina ekimotoka ekiyambako. Mu zino mulimu; Jinja, Mbale, Masaka, Tororo, Mbarara ne Hoima.



Ate na bino bireme kubeeyibaaza kuba ebiseera ebisinga temuba mafuta. Eyo y’embeera ya Poliisi. Olwo omuntu kiki ekinaamutaasa? Amakubo gali abiri.



Erisooka lya yinsuwalensi ate eddala lya Fire Masters. Mw. Peter Johnson, akulira ekitongole ky’obwannyini ekya Fire Masters ekisangibwa e Kibuli ye, mwetegefu okukuyamba naye olina kuba ng’akasimbi okaweza; Tusobola okukola emirimu egya buli kika naye olina kusooka waffe ne tukumanya era ne tukulambula n’osasula olwo ne tulinda ekiddako.



Tulina ebimotoka ebisobola okuzingako ekibuga kyonna era mu, Chogm batweyambisa nnyo anti buli kkubo twalissaako ekimotoka. Obuzibu obuli mu Kampala nti emikutu omuyita amazzi gyazibikira dda era n’ebizimbe bwe bityo ate ebimu tekuli ddala.



Twagenda okuzikiza omuliro ku Garden City twagenda okutuuka nga emidumu gyonna gyakala dda”. Peter Johnson bw’annyonnyola. Agamba nti ku nsonga y’obulippagano nayo baagisalira dda amagezi kuba, kasitooma bw’ajja, basooka ne balambula amaka ge oba ekifo w’akolera.



Abakenje bwe kagwa, basindika emmotoka ssatu omulundu gumu nga ziyita mu makubo ag’enjawulo okwewala obulippagano.



Annyonnyola nti balina n’obuuma ssaako obuwunga bwe basobola okuguza amasomero okusobola okuyambako. Kyokka obuzibu babusanze mu tteeka. Mu kiseera kino tebalina lukusa lubakkiriza kumala gatabaala n’okumenya ebizimbe by’abantu ssaako n’okuziba ekkubo nga bazikiriza omuliro.



Olukusa poliisi y’erulina kyokka ebikola tebirina! Enkola endala yandibadde ya Yinsuwa, eyinza okutaasa ng’abakenje kagudde. Naye abantu yo bagitegeera? Ate amakulu gaayo bagamanyi?



Baabano boogera; Stephen Makumbi wa bodaboda mu Kiyembe; Aba Yinsuwa bye boogera ate ssi bye bakola. Pikipiki bw’efuna obuzibu n’ogendayo bakutambuza myezi nga tebannakusasula.



Swahaba Tamale atunda sipeeya aba Yinsuwa abalumiriza kukandaaliriza. Hajjat Mariam Nakku musuubuzi mu Avemar; Ssente ze tukozesa ziba nneewole era okuggyako emisoso gyonna ng’eza Yinsuwa tokyaziraba ekivaamu kubivaako n’olinda kijja. Ate bw’osasula okwerinda okubbibwa, emmotoka bw’ekwata omuliro tebakusasula.



Badir Kimera dereeva wa loole ku GoodShade e Nakasero amanyi omugaso gwayo era agyagaliza buli muntu ali mu bizinensi. Kyokka bannayinsuwa batangaaza nti obutamanya nkola ya zi yinsuwa kye kitawaanya abantu.



Josephine Zhane Omunyidde amyuka akulira kampuni ya National Insurance Corporation Limited, annyonnyola nti; omuntu asobola okusasulira okuva ku bulamu bwe oba obw’abantu be, ebyobugagga naye nga tusinziira ku muwendo gwa kiki kyatukwasa era asobola okusasula mu kibanja mpola.



Omuliro bwe gukwata enyumba ,edduuka, emmotoka,oba eby’amaguzi ebirala tubisasula byonna. Okutwegattako tusooka kulambula w’okolera ne tukuwa amagezi ku ki ky’olina okukola.



Kyokka ssinga tuzuula ng’ebintu bye twamugaana bye bivuddeko omuliro tetumusasula. Abantu abalina ennyumba z’essubi n’abazimba wansi wa waya z’amasannyalaze tetubasasula.



Mw. Dennis Etonu owa Nici Insurance Limited agamba nti mu Uganda abasinga okwettanira Yinsuwa beebasomyeko, Yagambye nti ebintu omuli obutale obutunda eby’okulya gamba nga Nakasero, Owino, Bugoloobi n’obulala tebabutunulamu.Noolwekyo weerinze otya embeera eno?



Published on: Wednesday, 23rd April, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#9109
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA.............. 8 Months, 2 Weeks ago  
Webazaanga nga mukama akuwadde amagezi amazaale nebwooba nga togenze mussomero nomanya ekyo kukola, Kuba ku ago amagezi amazaale bajjajja ffe kwebasinziiranga nebakola ebintu byaabwe era nebyewunyisa nabazungu abasooka okujja , abaali tebasubira muddugavu kumanya nakukola byebamusanga nabyo .

Naye ngo muntu tanatandika kwezibikira sente zamuwi wamusolo tasooka kutuula nalowooza ?

nti ddala lwaaki ensi yeyongedde okuvunda mu buli kitongole kyotuukamu.? gano magezi mazaale

TEGEKA , ZIMBA OLABIRIRE Tosobola kukama nte ngatogiriisa
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#9168
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 259
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA.............. 8 Months, 1 Week ago  
Ntambudde mu bibuga bingi, naye ssinalabayo kibuga kirina traffic jam nga Kampala!! Ate mu traffic eyo yonna, kwogatta ebinya munguudo!! Yadde ne Zimbabwe (omuchungwa gumu gugula 2m/-) enguudo zaayo nnungi okusinga eza Kampala.



Kati nno nolyoka owulira aba City Council ku CBS bwebagamba nti bakola nnyo.



Ekibuga Kampala Katonda yakikuuma. Namala akivaamu bwati oyinza okulaba ttabbu.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9171
kapakiti (User)
Baby Forum Member
Posts: 25
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA................. 8 Months, 1 Week ago  
Bulijjo mbadde nebuuza lwaki ebibuga ebiri ku plan amatundiro gaabyo aga mafuta gali bbali wa kibuga nga simanyi nti lwa nsonga ya kwerinda era leero nkakasizza Kampala tali ku plan. Buli omu agisabire mu ddiini ye naye kiri bubi.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9191
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA.............. 8 Months ago  
Ekibuga ekyaffe teli gyokisanga olaba nekiraalo bakimaala nobusa bwente nekiba kiyonjo mungeri yaakyo naye ewaffe abantu abavunanyizibwa obawulira enkya neggulo basaba ssente oluzibawa nga bagenda nga bakunganya tipa yenfuufu nga bajjuza ebinnya nga basigawo nebukolasi nga kisale beriira enkeera mwe mwebuuza nti oluguudo olutanaweza week ebidiba ebinene bivudde wa nga batunula mpwangali nge embwa esudde ekyuuma kati nga nabavuzi baabwe ababakolera taxi nga batandika okusalawo oba emmotoka ya mukamaawe agiggunde mukidiba oba akoonemu muntu atambulira ebbali kuba yo ekyaliyo wayinza okwenyigiriza era bwamala okumukoona atekako kakokola tondeka mabega , Nga nenkeera addayo ngakola ngalinda mulala wakutomera ,police temukuteeko era telina nakyenonyerezaako kukibaddewo .

ABANTU BAFFE MUKAMA YABAKUUMA
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#9208
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 259
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA.............. 8 Months ago  
Sebo omumbejja oli mutuufu.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement