Buli musajja anjagalako takomawo
Shamim Nansubuga
EBBANGA lye mmaze mu nsonga z’omukwano, abasajja nsigadde mbanyeenyeza mutwe kubanga tebamanyi kye baagala. Nze Shamim Nansubuga, mbeera Nansana.
Ku ntandikwa y’omwaka guno waliwo omukyala eyajja ewaffe e Kiboga n’ansaba mu bakadde bange ng’ende naye e Kampala tutandike okukola era nabo ne bakkiriza.
Twaggukira Nansana ne ntandika okuweereza mu bbaala emu. Emirimu ngikola era mukama wange ebbanga lye mmaze naye asiima. Nga wayise akabanga, abasajja naddala bakasitoma baffe baatandika okumbeeba omukwano.
Olw’okuba nali sirina kyakukola, waliwo be nakkiriza ne twagalana nga ndowooza nti banampa ku ssanyu naye bandekedde biwundu bya mukwano ku mutima ne nneetamwa.
Abasajja bwe baba tebannakufuna bakusuubiza ensi n’eggulu ne bakuteekamu ne kaasi ne weeyagala. Naye olumala okuloza ku sukaali wo enfunda eziwera, ng’olwo batandika okwebulankanya.
Eyasooka okumpisa bw’ati namwesonyiwa ne nzira ku byange nga ndowooza nti y’alina ebizibu bye ebirala. Naye kati abalala basatu be baakankinkola era we bituuse mbakooye kubanga nkizuddde nga bagenderera kulaba bwe nakula.
Naye nsuubira nti wayinza okubaayo omusajja omuntumulamu ayinza okunnaazako amaziga ge nzize nkaaba bukya nnyingirira nsiike ya mukwano. Ekizibu mu mbeera gye ndimu siyinza kubeera bw’omu.
Kale bambi buli muntu aba nebizibu bye...kyokka ensi eno