Abalamuzi bwe banaaba aba NRM abavuganya Gavt. banaddukira wa?
Bya Godfrey Sekisonge
SIPIIDI omugoba wa bbaasi ya NRM gy’avugamu kirabika eyitiridde, era kati kyetaagisa abali mu bbaasi eno bagambe ku mugoba waayo sikulwa ng’agitomeza abasaabaze bonna ne batokomokeramu!
Gye buvuddeko, omugoba ono yategeeza kabaka wa buganda amuggyeko akamanyiiro, nti era alekere awo okumenya amateeka nga yeeyingiza mu byobufuzi.
Bannaddiini bwe baalabye ng’omugoba wa bbaasi eno ate agivuga agyolekeza Beene kwe kusalawo okumugambako, wabula ate omugoba bye yabazzeemu nabyo byawuniikirizza eggwanga.
Bw’otunuulira engeri omugoba wa bbaasi gy’azze agivuga endiima nga tagambwako tolema kwewuunya lwaki kati buli amugambako ate ye amuggulako lutalo. Yasookera mu Poliisi n’agiyingizaamu abajaasi. Kati olwaleero poliisi ejjuddemu bajaasi era tekyewuunyisa lwaki abantu abattibwa poliisi beeyongedde.
Abapoliisi abamu kati nabo basazeewo kweyisa nga bajaasi, mukama waabwe asobole okubawaana n’okubakuza. Okugeza owapoliisi Rashid Angero eyasonga mu Pulezidenti wa DP emmundu era jjuuzi ye yaduumidde abaserikale abaakubye omubaka Erias Lukwago emiggo.
Ekiri mu magye kinakuwaza. Abajaasi bonna ab’amaanyi beenyigidde mu busuubuzi n’okubba ettaka ly’abantu. Abajaasi ab’amaanyi bonna bali mu kibiina kya NRM era buli biseera by’okulonda lwe bituuka awo n’olaba eryanyi abajaasi lye bakozesa nga batigomya abavuganya gavumenti.
Mu kakiiko k’ebyokulonda ekiri eyo kiyitirivu.Okuva ku ssentebe okutuuka ku bakaminsona bonna bali mu NRM. Kati waliwo omuntu asobola okwewuunya lwaki buli kulonda okutegekebwa kuwangulwa muntu omu?
Bulijjo Bannayuganda bwe bawulira nga banyigiriziddwa oba ng’eddembe lyabwe lityoboolwa, baddukira mu mbuga z’amateeka. Era emirundi egimu kkooti egusalira aba NRM. Wabula omugoba wa bbaasi ya NRM taswala kuvuma na kuvvoola kitongole kiramuzi era mu mwoyo ogwo, aba NRM gye buvuddeko baakunga abayaaye mu kibuga ne bagenda beekalakaasiza ku kkooti nga bwe bavuma abalamuzi. Ku olwo omugoba wa bbaasi yeekamwana nnyo era n’asuubiza okulonda ‘abalamuzi abategeera amateeka’.
Kati ku lukalala lw’abantu abaalondebwa okubeera abalamuzi bw’olwekkaanya abamu bakaada ba NRM ate abalala newankubade nga banamateeka kyoka tebalina bumanyirivu buweza myaka 15 ssemateeka gy’alagira.
Obusambattuko obuli e Kenya bw’azze lwakuba oluuyi oluvuganya terulina bwesigwa mu kitongole kiramuzi, kuba abalamuzi bonna bawagizi ba Gavumenti. Kati na wano ewaffe kirabika ekitongole ekiramuzi kigenda kujjulamu bawagizi ba NRM. Kino tekirina njawulo ne Obote kye yakola mu gy’ekinaana bwe yaddira Masika omuwagizi wa UPC n’amufuula Ssaabalamuzi.
Ebitongole bya gavumenti byonna birimu bawagizi ba NRM. N’olwekyo okyasobola okwewuunya lwaki oli yagamba nti ye yayigga ensolo ye n’olwekyo tajja kugigabana na muntu mulala yenna?
Naye Bannayuganda basaanye okugamba ku mugoba wa bbaasi nti sipiidi ye nnene. Ababaka ba Palamenti nabo basaanye okugaana okuyisa abalamuzi abamanyiddwa nti bakaada ba NRM.
Godfrey sekisonge ye Ssaabawandiisi wa DP mu Bungereza.
This e-mail address is being protected from spam bots, you need JavaScript enabled to view it
Published on: Sunday, 24th February, 2008