|
Olinayo akantu k'omanyi tukayite akalondo akaleetera okusamba akapiira nga ba Ronaldo?? Ye kanyumiza owa Bukedde wa leero agamba bino wammanga.
Bya Kanyumiza
Bantu bange kiri kitya? Abakungu ba Bbaffe mukulikeeyo nnyo. Tusabe Katonda embeera efaanana bw’eti ekome wano naye tuswala!
Naye abange, eky’okwokya amasomero nga kikyalemedde mu ddiiro! Naye ddala kiki kyo? Ensonga eno yeetaaga kulingizibwa n’amagezi mangi oba ssi ekyo abaana ba bantu bajja kubonaabona nnyo; ekirungi nti ennaku zino tebakyayokya bisulo ng’abaana mwe bali; babyokya bali mu bibiina oba nga balya; naye bagundi mmwe mwandivudde ku muzannyo ogwo kubanga alikwatibwa mu kituli nga akoleeza alikigwaako.
Basajja bannange muli mutya? Ebinywa byammwe byabaleegukako, oba bikyali bigumu? Anti bwe biba byaleegulukuka akapiira kaba kajja kubalema okucanga. Ng’oggyeeko abo abeddira Emmamba, mwali mukimanyi nti Emmamba egumya ekinywa? Mmwe abawakana muli balalu; oba mwagala okukikakasa muyiseeko olubu lw’ekigere mu loogi za Nakafeero.
Ennaku zino loogi za Nakafeero zeeyongedde okulinnya ebbeeyi ssi lwa kintu kirala wabula lwa mmamba! Sitegeeza zino emmamba z’abajaasi wabula ntegeeza kyannyanja kye bayita emmamba.
Bannabuddu be basinga okuwoomerwa ennyo ekyennyanja kino era nga nnazikuno nga kiriibwa basajja bokka. Kati ennaku zino ngenze ntegeera ensonga lwaki basajja bokka be baalyanga emmamba; anti nga kivve omukazi okugirya.
Kye nzigye ntegeere nti omukazi ne bweyandigiridde yandibadde terina ky’emugasa. Naye nno ate ennaku zino n’abakazi nabo bagyesokomera; naye ndaba ako kabeera kajanja kubanga tebagirinaako mugaso. Mpozzi okugifunamu omugaso nga bagifumbidde basajja baabwe ne bagibagabula omugaso ne gubbulukukira mu bbo.
Ekituusizza loogi za Nakafeero okweyongera ebbeeyi gwe mugaso gwe yazudde mu kyennyanja kye bayita emmamba. Kati bw’ogenda okwegulira ku bijuujulu bya Nakafeero, mu za bulijjo oyongeramu enkumi ssatu oba lukumi mu bitaano okusinziira ku ky’ogenda okukozesa.
Ku nkumi essatu ezeeyongeramu oba ogenda kulya ssowaani y’e mmamba owuute ne ssupu, olwo olyoke ogende weeroboze ekijuujulu ky’onotebenta nakyo emisinde; ate ku lukumi mu ebitaano olweyongeramu oba ojja kusooka kwesokomera bifi bya mmamba nga bisatu awo nno naawe olyoke ogende weeroboze ekijuujulu bubeefuke nga ekinywa kyo kigumu nga lunyago lwa ffumu.
Nakafeero okutuuka ku nkola eno, yamaze kuwulira basajja b’e Buddu nga batenda emmamba okugolola ekinywa, olwo omusajja n’asamba akapiira nga ekinywa tekiragayizza; olwo nno ne gw’asamba naye n’amutenda nti wamma ggwe okugulu kwo kwaguma ekinywa, era kya ddala.
Kati okunoonyereza Kanyumiza kwe nkoze, n’abasajja ababa batagenda kulamuza bijuujulu bya Nakafeero nabo beeyunira nnyo bbaala ze okuli loogi ze, ne bamala okuwuuta ku ssupu w’emmamba oba okuvuunyuula agafi gaayo olwo ne balyoka bagenda mu baninkini baabwe ne beeriisa enkuuli.
Kati nno ggwe ssebo musajja munnange alabika nti waleegulukuka ekinywa, tolaba we basiika emmamba n’oyitawo buyisi; simba busimbi layini omale okuvuunyuula ku bifi by’emmamba nga biibyo olyoke otambule nga weekaaliiisa, nga olwo sikaati eneekusala mu maaso eneekulojja!
Okumanya omugaso gw’emmamba guno guyingidde obusomyo bw’abantu, mwattu ne Bamubiru nabo bamanyi okugigula ne bagiriira eyo mu bisegguusi batere baleege ebinywa byabwe.
Published on: Friday, 8th August, 2008
Email this article to a friend.
© Copyright The New Vision, 2000-2008. All rights reserved.
|