|
Ensonga 12 lwaki weetaaga ekigwo ky’abakulu
ABANTU abasinga bwe boogera ku ky’okukuuma omubiri nga mulamu bulungi, kye basooka okulowoozaako kwe kugenda mu jjiimu okwokya amasavu oba okukola dduyiro.
Kye batamanyi nti emirimu gy’omu kitanda naddala ng’oginyiikiridde bulungi gukukuuma ng’oli ffiiti n’otojulirira.
Mu butuufu omuntu anyumizza akaboozi n’akakkuta bulungi afuna kinene okusinga adduse emisinde oba agenze mu jjiimu.
Okunoonyereza okukoleddwa bannassaayansi ab’enjawulo kukakasizza nti singa omuntu anyumya akaboozi ne munne gw’ayagalira ddala okuva ku ntobo y’omutima gwe kirina engeri gye kimukuuma nga mulamu bulungi mu mubiri ne mu birowoozo.
Akaboozi kayamba omuntu okusala amasavu kubanga buli lw’okanyumya n’otuuyana kiraga nti n’amasavu gakendedde.
Bw’obaako w’olumizibwa mu kifo ky’okumira panado, weekwate kaboozi kubanga kalina engeri gye kagololamu ebinywa obulumi ne buggwaawo.
Kakkakkanya ebirowoozo era omuntu bw’aba alina ekimweraliikiriza n’akanyumya ebirowoozo bidda mu nteeko.
Kakukuuma omubiri obutalumbibwa ndwadde nga sennyiga n’ebifuba kubanga omubiri buli lwe gucamuka gwongera gufuna ekirungo ekirwanyisa endwadde.
Kakendeeza ku mikisa gy’omuntu okufuna endwadde z’omutima, kubanga omuntu bwe yeegatta omubiri gwonna gukkakkana n’akomya okweraliikirira ekiyinza okumulwaza omutima n’entunnunsi.
Kayamba omuntu okukomya okwetya n’ayiga n’okulaga omukwano. Bino biyamba omuntu okubeera nga yeeyagala mu mubiri ne mu mwoyo.
Akaboozi kaleeta otulo, ekiyamba okukendeeza omukisa gw’omuntu okufuna endwadde ezikwatagana n’omutwe.
Akanyumizza obulungi kamuyamba obutakaddiwa. Bw’aba mukyala, akaboozi kamuyamba okulongoosa enviiri ne zifaanana bulungi, ssaako n’okuzikuza, amaaso geeruka era yenna n’adda buto.
Kamalawo ekiyongobero kyonna omuntu n’abeera mu ‘muudu’ buli kiseera.
Kayamba omuntu okuwangaala naddala mu basajja. Omusajja amalamu akagoba emirundi ebiri mu wiiki baba n’omukisa munene okuwangaala.
Kakendeeza emikisa gy’omukazi okufuna kkansa w’amabeere, ate mu basajja kakendeeza emikisa gy’okufuna kkansa w’obusajja.
|