CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake...
#10989
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 2 Months ago  
Check this out -

Yeewuunya Gavt okusosonkereza Mmengo gy’eyagala okutabagana nayo

Sseggona (ku kkono) ne Nambooze mu kkooti

Mu maka ga Pulezidenti yavuddeyo amaloboozi agakukkuluma nga gagamba nti kirabika Kabaka Ronald Mutebi yeediimye kubanga bwe bamukubira amasimu takyagakwata yeesirikidde.

Bagamba nti kuviira ddala mu July w’omwaka guno Kabaka abasobedde takyabanyega.

Kale olabye ekyejo kye kikola abantu?

Omala okusesema mu mwenge ate ne weekangabiriza nti alinnyimba ndimutta? Lwaki musesema mu mwenge ne mwonoona eddembe ate ne muva awo ne mwekangabiriza nti wuuno Kabaka munyiivu era takyatunyega?

Emirundi mingi Mzee Zedde alaajanye ng’asaba Pulezidenti Museveni eby’okusosonkereza Kabaka bidibizibwe mbagirawo tufune ku mirembe naye kyakusaalirwa kino tekikoleddwa.

Wabula ekikoleddwa kibadde kwongera bwongezi kusosonkereza. Kabaka okumukwatako abakungu be abasatu Peter Mayiga, Lubega Sseggona ne Betty Nambooze okwo kwali kusosonkereza.

Ate n’okusuulirwa emisanvu mu kkubo Kabaka n’agaanibwa okugenda okulambula essaza lye ery’e Buluuli okwo nakwo kwali kusosonkereza era n’okuweebuula Kabaka mu nsi ye.

Kaakati essanyu yaalibadde aliggya wa eryogera n’aba State House ku masimu.

Amawulire gaagambye nti Museveni yamaze dda n’okulonda akakiiko akagenda okuddamu okuteesa ne Mmengo ku nsonga za Buganda ng’era munywanyi we Eriya Kategaya gw’atadde mu mitambo gy’enteeseganya ezo.

Naye nno lwa kulonda kakiiko ka kategaya kateese ne Buganda kyokka ab’omu State House amagezi gabeesibye. Bagamba nti Kabaka abalabikira tali mu mbeera ya kuteesa.

Ng’oggyeeko eky’okuba nti Kabaka ye Kabaka kyokka ate era Kabaka naye muntu era bw’atyo naye anyiiga.

Nga Kabaka amaze okukolebwa ebimujolonga era ebimunyiiza ate wa gy’omusuubira okufuna ‘muudu’ eteeseganya ne bakategaya?

Ye akakiiko ka Kategaya kalondeddwa mu mwoyo ki? Kalondeddwa lwa kwongera kweggya ku Buganda, oba kalondeddwa lwa kunoonya ntabagana na mirembe?

Bwe kaba kalondeddwa lwa kuzzaawo ntabagana, akakiiko ka Kategeya kateekwa okukulemberwa n’ebikolwa ebiraga nti waliwo okumenyeka n’okudda obuggya sso si bikolwa ebisosonkereza ebikolebwa ennaku zino.

Ne bwe kuba kunywa taaba kimanye nti taaba omulungire ku bisiriiza akoloza. Anaanywa taaba n’amuwoomera asooke kugogola mmindi mw’anaamulunga n’agiggyamu ebisiriiza n’ebifeffette. Leka Gavumenti esooke okugogola emmindi yaayo mw’efuuweetera taaba wa Buganda olwo ebinaddirira lwe binaavaamu omuganyulo.

Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku! Kale omuntu gw’okyetaaga ate lwaki omukola ebimunyiiza? Kampala ne Mmengo buli omu yeetaaga munne. Kale ate lwaki ebikolwa eby’okusosonkereza n’okwonoona enkolagana bikyagenda bugenzi mu maaso?

Nedda bagundi mulimba muleme kweyisa nga abatalaba nsi bw’ekyuse. Oba nga ne Amerika ekyuse nga kati efugibwa Muddugavu Pulezidenti Obama ate omujaluwo w’e Kenya oyinza otya okulowooza nti olumu na wano ewaffe ensi terikyuka Kampala n’awulira nga yeetaaga nnyo Mmengo? Owakanye? hm, hm,hm
Published on: Friday, 7th November, 2008






---
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#11099
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 1 Month, 2 Weeks ago  
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#11223
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 3 Weeks, 2 Days ago  
ABATUUZE b’e Wakiso bagambye nti tebawagira kya Kabaka kuteesaganya na Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda kuba yandibakakaatikako ebintu ebiyinza okumukyayisa.

“Guba gutya nga Kabaka aliko by’agambye Obuganda oluvannyuma lw’akafubo kano ate enkya ne tuwulira birala ng’ebiriwo mu kiseera kino? Olwo Ssabasajja anaav-aayo ne yeetondera abantu be?” abatuuze n’oweggombolola ya Musaale Wakiso, Dissan Kato bwe beebuuzizza.

Katikkiro wa Buganda, JB. Walusimbi yabasabye okukwata ensonga zino mpola kubanga nabo basala magezi okulaba ekituufu ekinaakolebwa Buganda okusobola okutuuka okuddizibwa ebyayo
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#11226
kamikatono (User)
Junior Forum Member
Posts: 73
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 3 Weeks, 2 Days ago  
Ono omusajja mbu atambula n'obutwa mungalo ze.


Abafuzi ab’ensikirano mukolagane - Museveni


Museveni (ku ddyo) ng’abuuza Nabagereka ku mukolo. Wakati ye Namasole wa Tooro, Best Kemigisha.

Bya Kayiira

PULEZIDENTI Museveni asabye abakulembeze ab’ensikirano okussa essira ku bibagatta okusinga okutunuulira ebibaawula n’agamba nti kino kijja kubayamba okwegatta bakolaganire wamu okukulaakulanya eggwanga.

Museveni yazzeemu okuggumiza nti amawanga ag’obukiikakkono bwa Uganda ng’Abajaluwo galina akakwate kanene n’amawanga nga Buganda, Bunyoro, Busoga, Ankole ne Tooro n’awa eky’okulabirako ky’ebigambo nga Wankaaki ekitegeeza ‘omulyango’ mu Lujaluwo.

Yabadde ku mukolo ogwategekeddwa Abasu-mba Jessica ne Robert Kayanja aba Miracle Centre Cathedral e Lubaga ogwa ‘Girl Power’ oguko-lebwa buli mwaka okutumbula ebitone by’aba-kyala n’ekikula kyabwe.

Omukolo gwabaddeko okwolesa enfumba, enzimba, ennyambala, ebivuga n’emirimu gy’eby’obuwangwa.

Museveni yalabudde abakulembeze ab’ensikirano nti bwe banaatunuulira ebibaawula ne bateegatta, bajja kuba balyazaamanyizza eggwanga n’okukotoggera enkulaakulana yaalyo kubanga teyinza kubeerawo ng’abantu beeyawuddeyawudde.

Nnaabagereka naye omukolo yagubaddeko n’asaba wassibwewo enteekateeka esomesa abayizi eby’obuwangwa mu masomero era n’awa amagezi nti eky’okusomesa abayizi mu nnimi ennansi kissibwemu nnyo amaanyi, Olungereza lusomebwe ng’olulimi olw’o-kubiri, ng’omuyizi amaze okukaza olulimi lwe.

Jessica ne Robert Kayanja beebazizza Museveni olw’okuzzaawo obukulembeze obw’ensikirano obukoze ekinene mu kuzuukusa eby’obuwangwa ebitakontana na Bayibuli.



Published on: Monday, 15th December, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#11241
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 265
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 3 Weeks, 1 Day ago  
I guess Nabagereka for the sake and FUTURE of BUGANDA should keep away from this man .
We know how he has broken many families including Zzizinga, Kyambade, Toro Kingdom, Wandera Kazibwe,
Ssempala and having fathered children with all of them.
Please Nabagereka stay away from this man !!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#11252
chamu (User)
Junior Forum Member
Posts: 95
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Ssabasajja Kabaka should not meet with a Snake... 2 Weeks, 5 Days ago  


Ono m7 bweyamukwata mungalo, wayita mbale bambi 'nakasuula'. Wetegereze engeri muwabutwa jakunukiriza omukono gwa 'victim' we.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement