Ono omusajja mbu atambula n'obutwa mungalo ze.
Abafuzi ab’ensikirano mukolagane - Museveni

Museveni (ku ddyo) ng’abuuza Nabagereka ku mukolo. Wakati ye Namasole wa Tooro, Best Kemigisha.
Bya Kayiira
PULEZIDENTI Museveni asabye abakulembeze ab’ensikirano okussa essira ku bibagatta okusinga okutunuulira ebibaawula n’agamba nti kino kijja kubayamba okwegatta bakolaganire wamu okukulaakulanya eggwanga.
Museveni yazzeemu okuggumiza nti amawanga ag’obukiikakkono bwa Uganda ng’Abajaluwo galina akakwate kanene n’amawanga nga Buganda, Bunyoro, Busoga, Ankole ne Tooro n’awa eky’okulabirako ky’ebigambo nga Wankaaki ekitegeeza ‘omulyango’ mu Lujaluwo.
Yabadde ku mukolo ogwategekeddwa Abasu-mba Jessica ne Robert Kayanja aba Miracle Centre Cathedral e Lubaga ogwa ‘Girl Power’ oguko-lebwa buli mwaka okutumbula ebitone by’aba-kyala n’ekikula kyabwe.
Omukolo gwabaddeko okwolesa enfumba, enzimba, ennyambala, ebivuga n’emirimu gy’eby’obuwangwa.
Museveni yalabudde abakulembeze ab’ensikirano nti bwe banaatunuulira ebibaawula ne bateegatta, bajja kuba balyazaamanyizza eggwanga n’okukotoggera enkulaakulana yaalyo kubanga teyinza kubeerawo ng’abantu beeyawuddeyawudde.
Nnaabagereka naye omukolo yagubaddeko n’asaba wassibwewo enteekateeka esomesa abayizi eby’obuwangwa mu masomero era n’awa amagezi nti eky’okusomesa abayizi mu nnimi ennansi kissibwemu nnyo amaanyi, Olungereza lusomebwe ng’olulimi olw’o-kubiri, ng’omuyizi amaze okukaza olulimi lwe.
Jessica ne Robert Kayanja beebazizza Museveni olw’okuzzaawo obukulembeze obw’ensikirano obukoze ekinene mu kuzuukusa eby’obuwangwa ebitakontana na Bayibuli.
Published on: Monday, 15th December, 2008