Omusumba Mukwaya naye afudde
Omusumba Mukwaya
Bya Henry Ssennyondo, Luke Kagiri ne Juliet Lukwago
OMUSUMBA w’Essaza lya Kiyinda-Mityana eyawummula, Joseph Mukwaya naye afudde. Mukwaya 80, yafiiridde mu ddwaaliro e Nsambya ku ssaawa 5:40 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo (Lwakutaano) oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa kookolo w’amagumba okumala ebbanga eddene.
Yafiiridde mu kasenge nnamba (21A), mu waadi y’abakungu. Omusumba Mukwaya, yasooka okuweebwa ekitanda mu April w’omwaka guno n’alongoosebwa n’adda bulungi engulu. Nga wayise emyezi ebiri yasiibulwa n’adda e Kiyinda-Mityana wabula ku nkomerero y’omwezi oguwedde, obulwadde bwazzeemu okumulumba n’atwalibwa mu ddwaaliro ayongere okujjanjabwa.
Mukwaya eyatandika okuweereza mu ssaza lya Kiyinda Mityana mu 1988, yawummuzibwa mu 2004 olw’obulwadde okumugonza.
Ye musumba owokubiri okuweereza mu Ssaza lino nga yaddira Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyasooka okubeera omusumba waayo. Mu kiseera kino, Bp. Anthony Joseph Zziwa ye Musumba w’e Mityana.
Avunaanyizibwa ku byamawulire mu Ssaza lya Kiyinda Mityana, Rev. Fr. Pontian Wamponya yagambye nti enteekateeka z’okuziika omugenzi zikolebwako. Wabula yagambye nti bayinza okuziika ku Mmande.
Ne Cansala w’essaza ly’e Kiyinda-Mityana, Fr. Emmanuel Tamale yategeezezza nti omusumba Anthony Zziwa, Kalidinaali Wamala n’omubeezi wa Ssaabasumba wa Kampala, Christopher Kakooza yagambye nti baasisinkanye bakole ku nteekateeka z’okuziika.
Kkampuni ya Uganda Funeral Services yapangisiddwa okukola ku nteekateeka z’okuziika.
Omusumba Mukwaya yazaalibwa September 28, 1928 n’afuna Obusaserodooti mu 1960. Obusumba yabufuna mu 1982.
Aweerezza mu bifo ebitali bimu omuli Amerika ne ku Lutikko e Lubaga ng’omubeezi wa Ssaabasumba mu ssaza lya Kampala.
KITALO NYOO EKYA FAAZA MUKWAYA.