|
Abalongo abasajja babamanyi enkozesa?
‘Kanteekeko wano ku kugulu bambi’. Bano baabadde Munyonyo nga banyumirwa empaka z’embuzi.
ABALONGO kye kimu ku bitundu abasajja bye basinga okwettanira ku bakyala be bagenda okumeggana nabo. Era ng’oyagala okumanya obwagazi bwabwe gye bukoma ku “bazaalibwa ababiri” bano, babeera bamalirivu okukola buli ekiri wansi w’enjuba okutuuka ku mukyala eyabeekuliza obulungi.
Eky’ennaku, bangi gye bakoma okubaagala ate n’obutamanya kubakozesa! Ng’oggyeeko okuba ng’abamu tebabamanyi, yadde we basangibwa, ate n’abo abagezaako ebiseera ebisinga babimala mu kubatunuulira!
Abakyala bayita mu bingi okwewunda n’olwekyo, kimalamu amaanyi munno okumutuukako ate bye yamala ebiseera ng’akuteekeratekera n’obiyitako ng’atabirabye!
Obwagazi bwe mulina eri abalongo temubukomya mu kuboogerako n’okubalingiza, wabula mu busse ne mu kuyiga engeri gye babakozesaamu.
Mu nnyinyonyola ennyangu, abalongo bakola ng’enzigi ebbiri eziggala ekkubo eriyingira mu nnyumba omuli ebibala olw’emigaso enfaafa. Bw’ojja ng’oyagala okuyingira,sooka okonkone. Munno ayinza obutakubuulira naye abalongo balina olususu olugonvu ennyo nti bw’otabeera mwegendereza, engeri yonna gy’obakwatako oyinza okumulumya. N’olwekyo, bw’oba obakwatako, tovumbagira bavumbagire ng’abanadduka wabula, okubanjuluza obulungi ate n’ejjonjebwa ng’akwata ekyatika. Jjukira nti ekyo ky’okwatako ssi ggumba wabula emisuwa n’olwekyo, bw’owulira ng’engalo zo si mpeweevu, oyinza okukozesa olulimi (munno alina okuba omuyonjo), oba ssemusajja yennyini.Ssemusajja ono nga wamutuuzizza bulungi ku balongo, asobola okubeggulira ate mu ngeri ne munno gy’ajja okunyumirwa naawe weewuunye kuba ennyonyoogeze n’okunyumirwa ebinaava mu mbeera eyo ojja kubirabira ku g’emugga g’anaafukumula. Jjukira nti ku balongo bano kw’olabira oba omukyala akwetegekedde, atali mu muudu n’akooye by’okola era fuba okubekkaanya.
|